< מִשְׁלֵי 2 >
בני אם-תקח אמרי ומצותי תצפן אתך | 1 |
Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange, n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
להקשיב לחכמה אזנך תטה לבך לתבונה | 2 |
era n’ossaayo omwoyo eri amagezi, era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
כי אם לבינה תקרא לתבונה תתן קולך | 3 |
ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
אם-תבקשנה ככסף וכמטמונים תחפשנה | 4 |
bw’onooganoonyanga nga ffeeza, era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
אז--תבין יראת יהוה ודעת אלהים תמצא | 5 |
awo w’olitegeerera okutya Mukama, era n’ovumbula okumanya Katonda.
כי-יהוה יתן חכמה מפיו דעת ותבונה | 6 |
Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
וצפן (יצפן) לישרים תושיה מגן להלכי תם | 7 |
Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi, era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
לנצר ארחות משפט ודרך חסידו ישמר | 8 |
Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya, era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
אז--תבין צדק ומשפט ומישרים כל-מעגל-טוב | 9 |
Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya; weewaawo buli kkubo eddungi.
כי-תבוא חכמה בלבך ודעת לנפשך ינעם | 10 |
Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo, n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
מזמה תשמר עליך תבונה תנצרכה | 11 |
Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga n’okutegeera kunaakukuumanga:
להצילך מדרך רע מאיש מדבר תהפכות | 12 |
Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
העזבים ארחות ישר-- ללכת בדרכי-חשך | 13 |
abaleka amakubo ag’obutuukirivu ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
השמחים לעשות רע יגילו בתהפכות רע | 14 |
abasanyukira okukola ebikolwa ebibi, abanyumirwa eby’obusirusiru,
אשר ארחתיהם עקשים ונלוזים במעגלותם | 15 |
abantu abo be b’amakubo amakyamu, era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
להצילך מאשה זרה מנכריה אמריה החליקה | 16 |
Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi, n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
העזבת אלוף נעוריה ואת-ברית אלהיה שכחה | 17 |
eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
כי שחה אל-מות ביתה ואל-רפאים מעגלתיה | 18 |
Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa, n’amakubo ge galaga eri abafu.
כל-באיה לא ישובון ולא-ישיגו ארחות חיים | 19 |
Tewali n’omu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
למען--תלך בדרך טובים וארחות צדיקים תשמר | 20 |
Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
כי-ישרים ישכנו-ארץ ותמימים יותרו בה | 21 |
Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi, era abo abagolokofu baligisigalamu.
ורשעים מארץ יכרתו ובוגדים יסחו ממנה | 22 |
Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi, n’abatali beesigwa balizikirizibwa.