< מִשְׁלֵי 13 >

בן חכם מוסר אב ולץ לא-שמע גערה 1
Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
מפרי פי-איש יאכל טוב ונפש בגדים חמס 2
Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke, naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
נצר פיו שמר נפשו פשק שפתיו מחתה-לו 3
Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.
מתאוה ואין נפשו עצל ונפש חרצים תדשן 4
Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
דבר-שקר ישנא צדיק ורשע יבאיש ויחפיר 5
Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba, naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.
צדקה תצר תם-דרך ורשעה תסלף חטאת 6
Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu, naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
יש מתעשר ואין כל מתרושש והון רב 7
Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
כפר נפש-איש עשרו ורש לא-שמע גערה 8
Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina ky’atya.
אור-צדיקים ישמח ונר רשעים ידעך 9
Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
רק-בזדון יתן מצה ואת-נועצים חכמה 10
Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
הון מהבל ימעט וקבץ על-יד ירבה 11
Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
תוחלת ממשכה מחלה-לב ועץ חיים תאוה באה 12
Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
בז לדבר יחבל לו וירא מצוה הוא ישלם 13
Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana, naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
תורת חכם מקור חיים-- לסור ממקשי מות 14
Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu, era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
שכל-טוב יתן-חן ודרך בגדים איתן 15
Okutegeera okulungi kuleeta okuganja, naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.
כל-ערום יעשה בדעת וכסיל יפרש אולת 16
Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza, naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
מלאך רשע יפל ברע וציר אמונים מרפא 17
Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana, naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
ריש וקלון פורע מוסר ושמר תוכחת יכבד 18
Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
תאוה נהיה תערב לנפש ותועבת כסילים סור מרע 19
Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
הלוך (הולך) את-חכמים וחכם (יחכם) ורעה כסילים ירוע 20
Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala, naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.
חטאים תרדף רעה ואת-צדיקים ישלם-טוב 21
Emitawaana gigoberera aboonoonyi, naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.
טוב--ינחיל בני-בנים וצפון לצדיק חיל חוטא 22
Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
רב-אכל ניר ראשים ויש נספה בלא משפט 23
Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
חושך שבטו שונא בנו ואהבו שחרו מוסר 24
Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
צדיק--אכל לשבע נפשו ובטן רשעים תחסר 25
Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta, naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.

< מִשְׁלֵי 13 >