< במדבר 10 >
Mukama n’agamba Musa nti,
עשה לך שתי חצוצרת כסף--מקשה תעשה אתם והיו לך למקרא העדה ולמסע את המחנות | 2 |
“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe.
ותקעו בהן--ונועדו אליך כל העדה אל פתח אהל מועד | 3 |
Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
ואם באחת יתקעו--ונועדו אליך הנשיאים ראשי אלפי ישראל | 4 |
Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli.
ותקעתם תרועה--ונסעו המחנות החנים קדמה | 5 |
Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula.
ותקעתם תרועה שנית--ונסעו המחנות החנים תימנה תרועה יתקעו למסעיהם | 6 |
Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule.
ובהקהיל את הקהל--תתקעו ולא תריעו | 7 |
Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.
ובני אהרן הכהנים יתקעו בחצצרות והיו לכם לחקת עולם לדרתיכם | 8 |
“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja.
וכי תבאו מלחמה בארצכם על הצר הצרר אתכם--והרעתם בחצצרת ונזכרתם לפני יהוה אלהיכם ונושעתם מאיביכם | 9 |
Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe.
וביום שמחתכם ובמועדיכם ובראשי חדשיכם--ותקעתם בחצצרת על עלתיכם ועל זבחי שלמיכם והיו לכם לזכרון לפני אלהיכם אני יהוה אלהיכם | 10 |
Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
ויהי בשנה השנית בחדש השני--בעשרים בחדש נעלה הענן מעל משכן העדת | 11 |
Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ey’Endagaano.
ויסעו בני ישראל למסעיהם ממדבר סיני וישכן הענן במדבר פארן | 12 |
Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani.
ויסעו בראשנה על פי יהוה ביד משה | 13 |
Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
ויסע דגל מחנה בני יהודה בראשנה--לצבאתם ועל צבאו--נחשון בן עמינדב | 14 |
Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe.
ועל צבא--מטה בני יששכר נתנאל בן צוער | 15 |
Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali,
ועל צבא--מטה בני זבולן אליאב בן חלן | 16 |
ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni.
והורד המשכן ונסעו בני גרשון ובני מררי נשאי המשכן | 17 |
Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
ונסע דגל מחנה ראובן--לצבאתם ועל צבאו--אליצור בן שדיאור | 18 |
Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
ועל צבא--מטה בני שמעון שלמיאל בן צורישדי | 19 |
Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni,
ועל צבא מטה בני גד אליסף בן דעואל | 20 |
ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi.
ונסעו הקהתים נשאי המקדש והקימו את המשכן עד באם | 21 |
Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
ונסע דגל מחנה בני אפרים--לצבאתם ועל צבאו--אלישמע בן עמיהוד | 22 |
Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo.
ועל צבא--מטה בני מנשה גמליאל בן פדהצור | 23 |
Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase;
ועל צבא--מטה בני בנימן אבידן בן גדעוני | 24 |
ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
ונסע דגל מחנה בני דן--מאסף לכל המחנת לצבאתם ועל צבאו--אחיעזר בן עמישדי | 25 |
Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo.
ועל צבא--מטה בני אשר פגעיאל בן עכרן | 26 |
Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri;
ועל צבא--מטה בני נפתלי אחירע בן עינן | 27 |
ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali.
אלה מסעי בני ישראל לצבאתם ויסעו | 28 |
Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
ויאמר משה לחבב בן רעואל המדיני חתן משה נסעים אנחנו אל המקום אשר אמר יהוה אתו אתן לכם לכה אתנו והטבנו לך כי יהוה דבר טוב על ישראל | 29 |
Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
ויאמר אליו לא אלך כי אם אל ארצי ואל מולדתי אלך | 30 |
Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
ויאמר אל נא תעזב אתנו כי על כן ידעת חנתנו במדבר והיית לנו לעינים | 31 |
Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe.
והיה כי תלך עמנו והיה הטוב ההוא אשר ייטיב יהוה עמנו--והטבנו לך | 32 |
Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
ויסעו מהר יהוה דרך שלשת ימים וארון ברית יהוה נסע לפניהם דרך שלשת ימים לתור להם מנוחה | 33 |
Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu.
וענן יהוה עליהם יומם בנסעם מן המחנה ] | 34 |
Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
ויהי בנסע הארן ויאמר משה קומה יהוה ויפצו איביך וינסו משנאיך מפניך | 35 |
Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti, “Golokoka, Ayi Mukama! Abalabe bo basaasaane; amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
ובנחה יאמר שובה יהוה רבבות אלפי ישראל ] | 36 |
Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti, “Komawo, Ayi Mukama, eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”