< מיכה 5 >
עתה תתגדדי בת גדוד מצור שם עלינו בשבט יכו על הלחי את שפט ישראל | 1 |
Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, kubanga tulumbiddwa. Omukulembeze wa Isirayiri balimukuba omuggo ku luba.
ואתה בית לחם אפרתה צעיר להיות באלפי יהודה--ממך לי יצא להיות מושל בישראל ומוצאתיו מקדם מימי עולם | 2 |
“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda n’edda, ng’ensi tennabaawo.”
לכן יתנם עד עת יולדה ילדה ויתר אחיו ישובון על בני ישראל | 3 |
Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo eri bannaabwe mu Isirayiri.
ועמד ורעה בעז יהוה--בגאון שם יהוה אלהיו וישבו כי עתה יגדל עד אפסי ארץ | 4 |
Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero y’ensi.
והיה זה שלום אשור כי יבוא בארצנו וכי ידרך בארמנותינו והקמנו עליו שבעה רעים ושמנה נסיכי אדם | 5 |
Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe. Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe n’abuna ebigo byaffe, tulimuyimbulira abasumba musanvu, n’abakulembeze munaana.
ורעו את ארץ אשור בחרב ואת ארץ נמרד בפתחיה והציל מאשור--כי יבוא בארצנו וכי ידרך בגבולנו | 6 |
Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. Naye alitulokola eri Omwasuli bw’alitulumba mu nsi yaffe era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
והיה שארית יעקב בקרב עמים רבים כטל מאת יהוה כרביבים עלי עשב--אשר לא יקוה לאיש ולא ייחל לבני אדם | 7 |
Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera wakati mu mawanga agabeetoolodde, babe ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo obutalindirira muntu oba abaana b’abantu.
והיה שארית יעקב בגוים בקרב עמים רבים כאריה בבהמות יער ככפיר בעדרי צאן--אשר אם עבר ורמס וטרף ואין מציל | 8 |
Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko, abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde; ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga, bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula ne wataba n’omu aziwonya.
תרם ידך על צריך וכל איביך יכרתו | 9 |
Omukono gwo guliwangula abalabe bo, ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
והיה ביום ההוא נאם יהוה והכרתי סוסיך מקרבך והאבדתי מרכבתיך | 10 |
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndizikiriza embalaasi zo ne nsanyaawo n’amagaali go.
והכרתי ערי ארצך והרסתי כל מבצריך | 11 |
Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
והכרתי כשפים מידך ומעוננים לא יהיו לך | 12 |
Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate.
והכרתי פסיליך ומצבותיך מקרבך ולא תשתחוה עוד למעשה ידיך | 13 |
N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza. Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga; temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda be mwekoledde n’emikono gyammwe.
ונתשתי אשיריך מקרבך והשמדתי עריך | 14 |
Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, ebibuga byammwe n’embizikiriza.
ועשיתי באף ובחמה נקם--את הגוים אשר לא שמעו | 15 |
Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde n’obusungu n’ekiruyi.”