< מיכה 4 >
והיה באחרית הימים יהיה הר בית יהוה נכון בראש ההרים ונשא הוא מגבעות ונהרו עליו עמים | 1 |
Mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
והלכו גוים רבים ואמרו לכו ונעלה אל הר יהוה ואל בית אלהי יעקב ויורנו מדרכיו ונלכה בארחתיו כי מציון תצא תורה ודבר יהוה מירושלם | 2 |
Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza by’ayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
ושפט בין עמים רבים והוכיח לגוים עצמים עד רחוק וכתתו חרבתיהם לאתים וחניתתיהם למזמרות--לא ישאו גוי אל גוי חרב ולא ילמדון עוד מלחמה | 3 |
Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
וישבו איש תחת גפנו ותחת תאנתו--ואין מחריד כי פי יהוה צבאות דבר | 4 |
Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe ne mu mutiini gwe. Tewalibaawo abatiisa kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
כי כל העמים ילכו איש בשם אלהיו ואנחנו נלך בשם יהוה אלהינו--לעולם ועד | 5 |
Newaakubadde nga amawanga gonna galigoberera bakatonda baago, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.
ביום ההוא נאם יהוה אספה הצלעה והנדחה אקבצה ואשר הרעתי | 6 |
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndikuŋŋaanya abalema, n’abo abaawaŋŋangusibwa n’abo abali mu nnaku.
ושמתי את הצלעה לשארית והנהלאה לגוי עצום ומלך יהוה עליהם בהר ציון מעתה ועד עולם | 7 |
Abalema ndibafuula abalonde, n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi. Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
ואתה מגדל עדר עפל בת ציון--עדיך תאתה ובאה הממשלה הראשנה ממלכת לבת ירושלם | 8 |
Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga, ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni, ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira, n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
עתה למה תריעי רע המלך אין בך אם יועצך אבד--כי החזיקך חיל כיולדה | 9 |
Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo? Temulina kabaka abakulembera? Omuwi w’amagezi wammwe yafa, ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
חולי וגחי בת ציון כיולדה כי עתה תצאי מקריה ושכנת בשדה ובאת עד בבל שם תנצלי--שם יגאלך יהוה מכף איביך | 10 |
Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni ng’omukazi alumwa okuzaala. Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga ogende obeere ku ttale. Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, era eyo gye ndibalokolera. Ndibanunulira eyo okuva mu mukono gw’omulabe.
ועתה נאספו עליך גוים רבים--האמרים תחנף ותחז בציון עינינו | 11 |
Kyokka kaakano amawanga mangi gakuŋŋaanye okubalwanyisa. Boogera nti, Ayonoonebwe, n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
והמה לא ידעו מחשבות יהוה ולא הבינו עצתו כי קבצם כעמיר גרנה | 12 |
Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; tebategeera kuteesa kwe; oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
קומי ודושי בת ציון כי קרנך אשים ברזל ופרסתיך אשים נחושה והדקות עמים רבים והחרמתי ליהוה בצעם וחילם לאדון כל הארץ | 13 |
“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni, kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma; ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo era olibetenta amawanga mangi.” Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama, n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.