< מיכה 2 >
הוי חשבי און ופעלי רע על משכבותם באור הבקר יעשוה כי יש לאל ידם | 1 |
Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
וחמדו שדות וגזלו ובתים ונשאו ועשקו גבר וביתו ואיש ונחלתו | 2 |
Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.
לכן כה אמר יהוה הנני חשב על המשפחה הזאת רעה אשר לא תמישו משם צוארתיכם ולא תלכו רומה--כי עת רעה היא | 3 |
Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera n’amalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
ביום ההוא ישא עליכם משל ונהה נהי נהיה אמר שדוד נשדנו--חלק עמי ימיר איך ימיש לי לשובב שדינו יחלק | 4 |
Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’”
לכן לא יהיה לך משליך חבל בגורל בקהל יהוה | 5 |
Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama, aligabanyaamu ettaka ku bululu.
אל תטפו יטיפון לא יטפו לאלה לא יסג כלמות | 6 |
Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; tewali kabi kagenda kututuukako.”
האמור בית יעקב הקצר רוח יהוה--אם אלה מעלליו הלוא דברי ייטיבו עם הישר הלך | 7 |
Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
ואתמול עמי לאויב יקומם ממול שלמה אדר תפשטון מעברים בטח שובי מלחמה | 8 |
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ng’omulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
נשי עמי תגרשון מבית תענגיה מעל עלליה תקחו הדרי לעולם | 9 |
Bakazi b’abantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.
קומו ולכו כי לא זאת המנוחה בעבור טמאה תחבל וחבל נמרץ | 10 |
Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
לו איש הלך רוח ושקר כזב אטף לך ליין ולשכר והיה מטיף העם הזה | 11 |
Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
אסף אאסף יעקב כלך קבץ אקבץ שארית ישראל--יחד אשימנו כצאן בצרה כעדר בתוך הדברו תהימנה מאדם | 12 |
“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.
עלה הפרץ לפניהם--פרצו ויעברו שער ויצאו בו ויעבר מלכם לפניהם ויהוה בראשם | 13 |
Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”