< ויקרא 8 >

וידבר יהוה אל משה לאמר 1
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
קח את אהרן ואת בניו אתו ואת הבגדים ואת שמן המשחה ואת פר החטאת ואת שני האילים ואת סל המצות 2
“Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse;
ואת כל העדה הקהל אל פתח אהל מועד 3
okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.”
ויעש משה כאשר צוה יהוה אתו ותקהל העדה אל פתח אהל מועד 4
Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
ויאמר משה אל העדה זה הדבר אשר צוה יהוה לעשות 5
Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.”
ויקרב משה את אהרן ואת בניו וירחץ אתם במים 6
Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi.
ויתן עליו את הכתנת ויחגר אתו באבנט וילבש אתו את המעיל ויתן עליו את האפד ויחגר אתו בחשב האפד ויאפד לו בו 7
N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza.
וישם עליו את החשן ויתן אל החשן את האורים ואת התמים 8
N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu.
וישם את המצנפת על ראשו וישם על המצנפת אל מול פניו את ציץ הזהב נזר הקדש כאשר צוה יהוה את משה 9
N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויקח משה את שמן המשחה וימשח את המשכן ואת כל אשר בו ויקדש אתם 10
Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula.
ויז ממנו על המזבח שבע פעמים וימשח את המזבח ואת כל כליו ואת הכיר ואת כנו--לקדשם 11
N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza.
ויצק משמן המשחה על ראש אהרן וימשח אתו לקדשו 12
N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza.
ויקרב משה את בני אהרן וילבשם כתנת ויחגר אתם אבנט ויחבש להם מגבעות--כאשר צוה יהוה את משה 13
Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויגש את פר החטאת ויסמך אהרן ובניו את ידיהם על ראש פר החטאת 14
Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
וישחט ויקח משה את הדם ויתן על קרנות המזבח סביב באצבעו ויחטא את המזבח ואת הדם יצק אל יסוד המזבח ויקדשהו לכפר עליו 15
Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra.
ויקח את כל החלב אשר על הקרב ואת יתרת הכבד ואת שתי הכלית ואת חלבהן ויקטר משה המזבחה 16
Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto.
ואת הפר ואת ערו ואת בשרו ואת פרשו--שרף באש מחוץ למחנה כאשר צוה יהוה את משה 17
Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa.
ויקרב את איל העלה ויסמכו אהרן ובניו את ידיהם--על ראש האיל 18
Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
וישחט ויזרק משה את הדם על המזבח סביב 19
Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto.
ואת האיל--נתח לנתחיו ויקטר משה את הראש ואת הנתחים ואת הפדר 20
Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu.
ואת הקרב ואת הכרעים רחץ במים ויקטר משה את כל האיל המזבחה עלה הוא לריח ניחח אשה הוא ליהוה כאשר צוה יהוה את משה 21
Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויקרב את האיל השני איל המלאים ויסמכו אהרן ובניו את ידיהם--על ראש האיל 22
Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo.
וישחט--ויקח משה מדמו ויתן על תנוך אזן אהרן הימנית ועל בהן ידו הימנית ועל בהן רגלו הימנית 23
Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo.
ויקרב את בני אהרן ויתן משה מן הדם על תנוך אזנם הימנית ועל בהן ידם הימנית ועל בהן רגלם הימנית ויזרק משה את הדם על המזבח סביב 24
Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula.
ויקח את החלב ואת האליה ואת כל החלב אשר על הקרב ואת יתרת הכבד ואת שתי הכלית ואת חלבהן ואת שוק הימין 25
N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo;
ומסל המצות אשר לפני יהוה לקח חלת מצה אחת וחלת לחם שמן אחת--ורקיק אחד וישם על החלבים ועל שוק הימין 26
n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo;
ויתן את הכל--על כפי אהרן ועל כפי בניו וינף אתם תנופה לפני יהוה 27
ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
ויקח משה אתם מעל כפיהם ויקטר המזבחה על העלה מלאים הם לריח ניחח אשה הוא ליהוה 28
Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
ויקח משה את החזה ויניפהו תנופה לפני יהוה מאיל המלאים למשה היה למנה כאשר צוה יהוה את משה 29
Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויקח משה משמן המשחה ומן הדם אשר על המזבח ויז על אהרן על בגדיו ועל בניו ועל בגדי בניו אתו ויקדש את אהרן את בגדיו ואת בניו ואת בגדי בניו אתו 30
Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.
ויאמר משה אל אהרן ואל בניו בשלו את הבשר פתח אהל מועד ושם תאכלו אתו ואת הלחם אשר בסל המלאים כאשר צויתי לאמר אהרן ובניו יאכלהו 31
Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’
והנותר בבשר ובלחם--באש תשרפו 32
Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro.
ומפתח אהל מועד לא תצאו שבעת ימים--עד יום מלאת ימי מלאיכם כי שבעת ימים ימלא את ידכם 33
Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu.
כאשר עשה ביום הזה--צוה יהוה לעשת לכפר עליכם 34
Mukama alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra.
ופתח אהל מועד תשבו יומם ולילה שבעת ימים ושמרתם את משמרת יהוה ולא תמותו כי כן צויתי 35
Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.”
ויעש אהרן ובניו--את כל הדברים אשר צוה יהוה ביד משה 36
Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.

< ויקרא 8 >