< איכה 3 >

אני הגבר ראה עני בשבט עברתו 1
Nze muntu eyakangavvulwa n’omuggo ogw’obusungu bwe.
אותי נהג וילך חשך ולא אור 2
Angobye mu maaso ge n’antambuliza mu kizikiza, awatali kitangaala;
אך בי ישב יהפך ידו כל היום 3
ddala, omukono gwe gunnwanyisizza emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
בלה בשרי ועורי שבר עצמותי 4
Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange era amenye n’amagumba gange.
בנה עלי ויקף ראש ותלאה 5
Antaayizza n’anzijuza obulumi n’okubonaabona.
במחשכים הושיבני כמתי עולם 6
Antadde mu kizikiza ng’abafu abaafa edda.
גדר בעדי ולא אצא הכביד נחשתי 7
Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka, ansibye enjegere ezizitowa.
גם כי אזעק ואשוע שתם תפלתי 8
Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, okusaba kwange akuggalira bweru.
גדר דרכי בגזית נתיבתי עוה 9
Anteeredde amayinja mu kkubo lyange era akyamizza amakubo gange.
דב ארב הוא לי אריה (ארי) במסתרים 10
Ng’eddubu bwe liteega, n’empologoma bwe yeekweka
דרכי סורר ויפשחני שמני שמם 11
yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula n’andeka awo nga sirina anyamba.
דרך קשתו ויציבני כמטרא לחץ 12
Yanaanuula omutego gwe, n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.
הביא בכליתי בני אשפתו 13
Yafumita omutima gwange n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
הייתי שחק לכל עמי נגינתם כל היום 14
Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
השביעני במרורים הרוני לענה 15
Anzijuzza ebikaawa era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.
ויגרס בחצץ שני הכפישני באפר 16
Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; anninnyiridde mu nfuufu.
ותזנח משלום נפשי נשיתי טובה 17
Emmeeme yange terina mirembe, n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
ואמר אבד נצחי ותוחלתי מיהוה 18
Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”
זכר עניי ומרודי לענה וראש 19
Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange, n’obulumi n’obubalagaze.
זכור תזכור ותשיח (ותשוח) עלי נפשי 20
Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
זאת אשיב אל לבי על כן אוחיל 21
Ebyo byonna mbijjukira, kyenvudde mbeera n’essuubi.
חסדי יהוה כי לא תמנו כי לא כלו רחמיו 22
Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
חדשים לבקרים רבה אמונתך 23
Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
חלקי יהוה אמרה נפשי על כן אוחיל לו 24
Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
טוב יהוה לקוו לנפש תדרשנו 25
Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya.
טוב ויחיל ודומם לתשועת יהוה 26
Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
טוב לגבר כי ישא על בנעוריו 27
Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye mu buvubuka bwe.
ישב בדד וידם כי נטל עליו 28
Atuulenga yekka mu kasirise kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
יתן בעפר פיהו אולי יש תקוה 29
Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
יתן למכהו לחי ישבע בחרפה 30
Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, era amalibwe n’okuvumibwa.
כי לא יזנח לעולם אדני 31
Kubanga Mukama taligobera bantu bweru ebbanga lyonna.
כי אם הוגה ורחם כרב חסדיו 32
Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
כי לא ענה מלבו ויגה בני איש 33
Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.
לדכא תחת רגליו כל אסירי ארץ 34
Mukama akkiriziganya n’okulinnyirira abasibe,
להטות משפט גבר נגד פני עליון 35
n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
לעות אדם בריבו אדני לא ראה 36
oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
מי זה אמר ותהי אדני לא צוה 37
Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?
מפי עליון לא תצא הרעות והטוב 38
Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo, si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
מה יתאונן אדם חי גבר על חטאו 39
Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?
נחפשה דרכינו ונחקרה ונשובה עד יהוה 40
Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama.
נשא לבבנו אל כפים אל אל בשמים 41
Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
נחנו פשענו ומרינו אתה לא סלחת 42
“Twayonoona ne tujeema, tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
סכותה באף ותרדפנו הרגת לא חמלת 43
“Ojjudde obusungu n’otugobaganya, n’otutta awatali kutusaasira.
סכותה בענן לך מעבור תפלה 44
Weebisseeko ekire, waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
סחי ומאוס תשימנו בקרב העמים 45
Otufudde obusa n’ebisasiro mu mawanga.
פצו עלינו פיהם כל איבינו 46
“Abalabe baffe bonna batwogerako ebigambo ebibi.
פחד ופחת היה לנו השאת והשבר 47
Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
פלגי מים תרד עיני על שבר בת עמי 48
Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga olw’okuzikirira kw’abantu bange.
עיני נגרה ולא תדמה מאין הפגות 49
Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga awatali kusirika,
עד ישקיף וירא יהוה משמים 50
okutuusa Mukama lw’alisinzira mu ggulu n’alaba.
עיני עוללה לנפשי מכל בנות עירי 51
Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
צוד צדוני כצפור איבי חנם 52
Abalabe bange banjigganya olutata ne baba ng’abayigga ennyonyi.
צמתו בבור חיי וידו אבן בי 53
Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, ne bankasuukirira amayinja;
צפו מים על ראשי אמרתי נגזרתי 54
amazzi gaabikka omutwe gwange, ne ndowooza nti, nsanyeewo.
קראתי שמך יהוה מבור תחתיות 55
“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama, nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
קולי שמעת אל תעלם אזנך לרוחתי לשועתי 56
wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go eri okukaaba kwange.”
קרבת ביום אקראך אמרת אל תירא 57
Bwe nakukoowoola wansemberera n’oyogera nti, “Totya!”
רבת אדני ריבי נפשי גאלת חיי 58
Mukama watunula mu nsonga yange, era n’onunula obulamu bwange.
ראיתה יהוה עותתי שפטה משפטי 59
Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola, obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
ראיתה כל נקמתם--כל מחשבתם לי 60
Walaba bwe bampalana, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.
שמעת חרפתם יהוה כל מחשבתם עלי 61
Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
שפתי קמי והגיונם עלי כל היום 62
obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange bye bantesaako obudde okuziba.
שבתם וקימתם הביטה אני מנגינתם 63
Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; bannyooma nga bwe bannyimbirira.
תשיב להם גמול יהוה כמעשה ידיהם 64
Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda, olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
תתן להם מגנת לב תאלתך להם 65
Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, n’ekikolimo kyo kibabeereko.
תרדף באף ותשמידם מתחת שמי יהוה 66
Obayigganye mu busungu bwo obazikirize ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.

< איכה 3 >