< שופטים 9 >
וילך אבימלך בן ירבעל שכמה אל אחי אמו וידבר אליהם ואל כל משפחת בית אבי אמו לאמר | 1 |
Abimereki mutabani wa Yerubbaali n’agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n’eri ab’ekika bonna, ab’ennyumba ya kitaawe, n’ennyumba ya nnyina n’abagamba nti,
דברו נא באזני כל בעלי שכם מה טוב לכם--המשל בכם שבעים איש כל בני ירבעל אם משל בכם איש אחד וזכרתם כי עצמכם ובשרכם אני | 2 |
“Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
וידברו אחי אמו עליו באזני כל בעלי שכם את כל הדברים האלה ויט לבם אחרי אבימלך כי אמרו אחינו הוא | 3 |
Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze b’e Sekemu ebintu ebyo byonna. Ab’e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.”
ויתנו לו שבעים כסף מבית בעל ברית וישכר בהם אבימלך אנשים ריקים ופחזים וילכו אחריו | 4 |
Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera.
ויבא בית אביו עפרתה ויהרג את אחיו בני ירבעל שבעים איש על אבן אחת ויותר יותם בן ירבעל הקטן--כי נחבא | 5 |
N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka.
ויאספו כל בעלי שכם וכל בית מלוא וילכו וימליכו את אבימלך למלך--עם אלון מצב אשר בשכם | 6 |
Awo abatuuze bonna ab’e Sekemu n’e Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ng’ayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.
ויגדו ליותם וילך ויעמד בראש הר גרזים וישא קולו ויקרא ויאמר להם שמעו אלי בעלי שכם וישמע אליכם אלהים | 7 |
Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, n’alinnya ku ntikko y’olusozi Gerizimu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mumpulirize abatuuze b’e Sekemu, Katonda alyoke abawulirize.
הלוך הלכו העצים למשח עליהם מלך ויאמרו לזית מלוכה (מלכה) עלינו | 8 |
Emiti gy’agenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’
ויאמר להם הזית החדלתי את דשני אשר בי יכבדו אלהים ואנשים והלכתי לנוע על העצים | 9 |
Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
ויאמרו העצים לתאנה לכי את מלכי עלינו | 10 |
Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’
ותאמר להם התאנה החדלתי את מתקי ואת תנובתי הטובה והלכתי לנוע על העצים | 11 |
Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
ויאמרו העצים לגפן לכי את מלוכי (מלכי) עלינו | 12 |
Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’
ותאמר להם הגפן החדלתי את תירושי המשמח אלהים ואנשים והלכתי לנוע על העצים | 13 |
Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
ויאמרו כל העצים אל האטד לך אתה מלך עלינו | 14 |
Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’
ויאמר האטד אל העצים אם באמת אתם משחים אתי למלך עליכם באו חסו בצלי ואם אין--תצא אש מן האטד ותאכל את ארזי הלבנון | 15 |
Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’
ועתה אם באמת ובתמים עשיתם ותמליכו את אבימלך ואם טובה עשיתם עם ירבעל ועם ביתו ואם כגמול ידיו עשיתם לו | 16 |
“Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali n’ennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira,
אשר נלחם אבי עליכם וישלך את נפשו מנגד ויצל אתכם מיד מדין | 17 |
kubanga kitange yabalwanirira, n’awaayo obulamu bwe, n’abawonya mu mukono gwa Midiyaani,
ואתם קמתם על בית אבי היום ותהרגו את בניו שבעים איש על אבן אחת ותמליכו את אבימלך בן אמתו על בעלי שכם כי אחיכם הוא | 18 |
naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe,
ואם באמת ובתמים עשיתם עם ירבעל ועם ביתו היום הזה--שמחו באבימלך וישמח גם הוא בכם | 19 |
era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse.
ואם אין--תצא אש מאבימלך ותאכל את בעלי שכם ואת בית מלוא ותצא אש מבעלי שכם ומבית מלוא ותאכל את אבימלך | 20 |
Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
וינס יותם ויברח וילך בארה וישב שם מפני אבימלך אחיו | 21 |
Oluvannyuma lw’ebyo, Yosamu n’adduka n’alaga e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.
וישר אבימלך על ישראל שלש שנים | 22 |
Awo Abimereki n’afuga Isirayiri okumala emyaka esatu.
וישלח אלהים רוח רעה בין אבימלך ובין בעלי שכם ויבגדו בעלי שכם באבימלך | 23 |
Katonda n’akyawaganya Abimereki n’abatuuze b’omu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe,
לבוא חמס שבעים בני ירבעל ודמם לשום על אבימלך אחיהם אשר הרג אותם ועל בעלי שכם אשר חזקו את ידיו להרג את אחיו | 24 |
Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu.
וישימו לו בעלי שכם מארבים על ראשי ההרים ויגזלו את כל אשר יעבר עליהם בדרך ויגד לאבימלך | 25 |
Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.
ויבא געל בן עבד ואחיו ויעברו בשכם ויבטחו בו בעלי שכם | 26 |
Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze b’omu Sekemu, ne batanula okumwesiga.
ויצאו השדה ויבצרו את כרמיהם וידרכו ויעשו הלולים ויבאו בית אלהיהם ויאכלו וישתו ויקללו את אבימלך | 27 |
Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki.
ויאמר געל בן עבד מי אבימלך ומי שכם כי נעבדנו--הלא בן ירבעל וזבל פקידו עבדו את אנשי חמור אבי שכם ומדוע נעבדנו אנחנו | 28 |
Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ayogera nti, “Abimereki ye ani? Ab’omu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki?
ומי יתן את העם הזה בידי ואסירה את אבימלך ויאמר לאבימלך רבה צבאך וצאה | 29 |
Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’”
וישמע זבל שר העיר את דברי געל בן עבד ויחר אפו | 30 |
Awo Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n’asunguwala nnyo.
וישלח מלאכים אל אבימלך בתרמה לאמר הנה געל בן עבד ואחיו באים שכמה והנם צרים את העיר עליך | 31 |
N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa.
ועתה קום לילה אתה והעם אשר אתך וארב בשדה | 32 |
Kaakano, ggwe jjangu mu kiro n’abasajja bo muteegere mu nnimiro.
והיה בבקר כזרח השמש תשכים ופשטת על העיר והנה הוא והעם אשר אתו יצאים אליך ועשית לו כאשר תמצא ידך | 33 |
Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
ויקם אבימלך וכל העם אשר עמו לילה ויארבו על שכם ארבעה ראשים | 34 |
Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu.
ויצא געל בן עבד ויעמד פתח שער העיר ויקם אבימלך והעם אשר אתו מן המארב | 35 |
Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
וירא געל את העם ויאמר אל זבל הנה עם יורד מראשי ההרים ויאמר אליו זבל את צל ההרים אתה ראה כאנשים | 36 |
Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.”
ויסף עוד געל לדבר ויאמר הנה עם יורדים מעם טבור הארץ וראש אחד בא מדרך אלון מעוננים | 37 |
Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”
ויאמר אליו זבל איה אפוא פיך אשר תאמר מי אבימלך כי נעבדנו הלא זה העם אשר מאסתה בו צא נא עתה והלחם בו | 38 |
Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.”
ויצא געל לפני בעלי שכם וילחם באבימלך | 39 |
Awo Gaali n’akulembera abatuuze b’omu Sekemu okulwanyisa Abimereki.
וירדפהו אבימלך וינס מפניו ויפלו חללים רבים עד פתח השער | 40 |
Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki.
וישב אבימלך בארומה ויגרש זבל את געל ואת אחיו משבת בשכם | 41 |
Abimereki n’abeera mu Aluma. Zebbuli n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.
ויהי ממחרת ויצא העם השדה ויגדו לאבימלך | 42 |
Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima.
ויקח את העם ויחצם לשלשה ראשים ויארב בשדה וירא והנה העם יצא מן העיר ויקם עליהם ויכם | 43 |
Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba.
ואבימלך והראשים אשר עמו פשטו ויעמדו פתח שער העיר ושני הראשים פשטו על כל אשר בשדה--ויכום | 44 |
Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo.
ואבימלך נלחם בעיר כל היום ההוא וילכד את העיר ואת העם אשר בה הרג ויתץ את העיר ויזרעה מלח | 45 |
Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.
וישמעו כל בעלי מגדל שכם ויבאו אל צריח בית אל ברית | 46 |
Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi.
ויגד לאבימלך כי התקבצו כל בעלי מגדל שכם | 47 |
Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze b’omu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu,
ויעל אבימלך הר צלמון הוא וכל העם אשר אתו ויקח אבימלך את הקרדמות בידו ויכרת שוכת עצים וישאה וישם על שכמו ויאמר אל העם אשר עמו מה ראיתם עשיתי--מהרו עשו כמוני | 48 |
ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.”
ויכרתו גם כל העם איש שוכה וילכו אחרי אבימלך וישימו על הצריח ויציתו עליהם את הצריח באש וימתו גם כל אנשי מגדל שכם כאלף--איש ואשה | 49 |
Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.
וילך אבימלך אל תבץ ויחן בתבץ וילכדה | 50 |
Awo Abimereki n’agenda e Sebezi, n’asiisira okwetooloola ekibuga ekyo era n’akiwamba.
ומגדל עז היה בתוך העיר וינסו שמה כל האנשים והנשים וכל בעלי העיר ויסגרו בעדם ויעלו על גג המגדל | 51 |
Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo.
ויבא אבימלך עד המגדל וילחם בו ויגש עד פתח המגדל לשרפו באש | 52 |
Abimereki n’alumba ekigo, naye bwe yali ng’akisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo,
ותשלך אשה אחת פלח רכב--על ראש אבימלך ותרץ את גלגלתו | 53 |
ne wabaawo omukazi omu eyakasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n’amwasa omutwe.
ויקרא מהרה אל הנער נשא כליו ויאמר לו שלף חרבך ומותתני--פן יאמרו לי אשה הרגתהו וידקרהו נערו וימת | 54 |
Amangwago Abimereki n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si kulwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we n’amufumita ekitala n’afa.
ויראו איש ישראל כי מת אבימלך וילכו איש למקמו | 55 |
Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
וישב אלהים את רעת אבימלך אשר עשה לאביו להרג את שבעים אחיו | 56 |
Katonda bw’atyo n’awalana eggwanga olw’obutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu.
ואת כל רעת אנשי שכם השיב אלהים בראשם ותבא אליהם קללת יותם בן ירבעל | 57 |
Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.