< יהושע 10 >

ויהי כשמע אדני צדק מלך ירושלם כי לכד יהושע את העי ויחרימה--כאשר עשה ליריחו ולמלכה כן עשה לעי ולמלכה וכי השלימו ישבי גבעון את ישראל ויהיו בקרבם 1
Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo,
וייראו מאד--כי עיר גדולה גבעון כאחת ערי הממלכה וכי היא גדולה מן העי וכל אנשיה גברים 2
Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi.
וישלח אדני צדק מלך ירושלם אל הוהם מלך חברון ואל פראם מלך ירמות ואל יפיע מלך לכיש ואל דביר מלך עגלון--לאמר 3
Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti,
עלו אלי ועזרני ונכה את גבעון כי השלימה את יהושע ואת בני ישראל 4
“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”
ויאספו ויעלו חמשת מלכי האמרי מלך ירושלם מלך חברון מלך ירמות מלך לכיש מלך עגלון--הם וכל מחניהם ויחנו על גבעון וילחמו עליה 5
Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.
וישלחו אנשי גבעון אל יהושע אל המחנה הגלגלה לאמר אל תרף ידיך מעבדיך עלה אלינו מהרה והושיעה לנו ועזרנו--כי נקבצו אלינו כל מלכי האמרי ישבי ההר 6
Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”
ויעל יהושע מן הגלגל הוא וכל עם המלחמה עמו וכל גבורי החיל 7
Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige.
ויאמר יהוה אל יהושע אל תירא מהם כי בידך נתתים לא יעמד איש מהם בפניך 8
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”
ויבא אליהם יהושע פתאם כל הלילה עלה מן הגלגל 9
Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu.
ויהמם יהוה לפני ישראל ויכם מכה גדולה בגבעון וירדפם דרך מעלה בית חורן ויכם עד עזקה ועד מקדה 10
Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda.
ויהי בנסם מפני ישראל הם במורד בית חורן ויהוה השליך עליהם אבנים גדלות מן השמים עד עזקה--וימתו רבים אשר מתו באבני הברד מאשר הרגו בני ישראל בחרב 11
Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.
אז ידבר יהושע ליהוה ביום תת יהוה את האמרי לפני בני ישראל ויאמר לעיני ישראל שמש בגבעון דום וירח בעמק אילון 12
Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti, “Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni, naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”
וידם השמש וירח עמד עד יקם גוי איביו--הלא היא כתובה על ספר הישר ויעמד השמש בחצי השמים ולא אץ לבוא כיום תמים 13
Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe. Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba.
ולא היה כיום ההוא לפניו ואחריו לשמע יהוה בקול איש כי יהוה נלחם לישראל 14
Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.
וישב יהושע וכל ישראל עמו אל המחנה הגלגלה 15
Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.
וינסו חמשת המלכים האלה ויחבאו במערה במקדה 16
Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda.
ויגד ליהושע לאמר נמצאו חמשת המלכים נחבאים במערה במקדה 17
Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.”
ויאמר יהושע גלו אבנים גדלות אל פי המערה והפקידו עליה אנשים לשמרם 18
Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume;
ואתם אל תעמדו--רדפו אחרי איביכם וזנבתם אותם אל תתנום לבוא אל עריהם כי נתנם יהוה אלהיכם בידכם 19
naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”
ויהי ככלות יהושע ובני ישראל להכותם מכה גדולה מאד--עד תמם והשרידים שרדו מהם ויבאו אל ערי המבצר 20
Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo,
וישבו כל העם אל המחנה אל יהושע מקדה בשלום לא חרץ לבני ישראל לאיש--את לשנו 21
olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.
ויאמר יהושע פתחו את פי המערה והוציאו אלי את חמשת המלכים האלה--מן המערה 22
Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.”
ויעשו כן--ויציאו אליו את חמשת המלכים האלה מן המערה את מלך ירושלם את מלך חברון את מלך ירמות את מלך לכיש את מלך עגלון 23
Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni.
ויהי כהוציאם את המלכים האלה אל יהושע ויקרא יהושע אל כל איש ישראל ויאמר אל קציני אנשי המלחמה ההלכוא אתו קרבו שימו את רגליכם על צוארי המלכים האלה ויקרבו וישימו את רגליהם על צואריהם 24
Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.
ויאמר אליהם יהושע אל תיראו ואל תחתו חזקו ואמצו--כי ככה יעשה יהוה לכל איביכם אשר אתם נלחמים אותם 25
Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.”
ויכם יהושע אחרי כן וימיתם ויתלם על חמשה עצים ויהיו תלוים על העצים עד הערב 26
Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.
ויהי לעת בוא השמש צוה יהושע וירידום מעל העצים וישלכם אל המערה אשר נחבאו שם וישמו אבנים גדלות על פי המערה עד עצם היום הזה 27
Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
ואת מקדה לכד יהושע ביום ההוא ויכה לפי חרב ואת מלכה--החרם אותם ואת כל הנפש אשר בה לא השאיר שריד ויעש למלך מקדה כאשר עשה למלך יריחו 28
Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.
ויעבר יהושע וכל ישראל עמו ממקדה--לבנה וילחם עם לבנה 29
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda,
ויתן יהוה גם אותה ביד ישראל ואת מלכה ויכה לפי חרב ואת כל הנפש אשר בה לא השאיר בה שריד ויעש למלכה כאשר עשה למלך יריחו 30
era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.
ויעבר יהושע וכל ישראל עמו מלבנה--לכישה ויחן עליה וילחם בה 31
Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba.
ויתן יהוה את לכיש ביד ישראל וילכדה ביום השני ויכה לפי חרב ואת כל הנפש אשר בה--ככל אשר עשה ללבנה 32
Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna.
אז עלה הרם מלך גזר לעזר את לכיש ויכהו יהושע ואת עמו עד בלתי השאיר לו שריד 33
Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.
ויעבר יהושע וכל ישראל עמו מלכיש--עגלנה ויחנו עליה וילחמו עליה 34
Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba.
וילכדוה ביום ההוא ויכוה לפי חרב--ואת כל הנפש אשר בה ביום ההוא החרים ככל אשר עשה ללכיש 35
Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.
ויעל יהושע וכל ישראל עמו מעגלונה--חברונה וילחמו עליה 36
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni,
וילכדוה ויכוה לפי חרב ואת מלכה ואת כל עריה ואת כל הנפש אשר בה לא השאיר שריד ככל אשר עשה לעגלון ויחרם אותה ואת כל הנפש אשר בה 37
ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.
וישב יהושע וכל ישראל עמו דברה וילחם עליה 38
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba.
וילכדה ואת מלכה ואת כל עריה ויכום לפי חרב ויחרימו את כל נפש אשר בה לא השאיר שריד כאשר עשה לחברון כן עשה לדברה ולמלכה וכאשר עשה ללבנה ולמלכה 39
Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.
ויכה יהושע את כל הארץ ההר והנגב והשפלה והאשדות ואת כל מלכיהם--לא השאיר שריד ואת כל הנשמה החרים כאשר צוה יהוה אלהי ישראל 40
Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
ויכם יהושע מקדש ברנע ועד עזה ואת כל ארץ גשן ועד גבעון 41
Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni okutuukira ddala e Gibyoni.
ואת כל המלכים האלה ואת ארצם לכד יהושע פעם אחת כי יהוה אלהי ישראל נלחם לישראל 42
N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.
וישב יהושע וכל ישראל עמו אל המחנה הגלגלה 43
Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.

< יהושע 10 >