< יואל 1 >

דבר יהוה אשר היה אל יואל בן פתואל 1
Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
שמעו זאת הזקנים והאזינו כל יושבי הארץ ההיתה זאת בימיכם ואם בימי אבתיכם 2
Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri, buli ali mu nsi naye awulirize. Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe, oba mu biseera bya bakitammwe?
עליה לבניכם ספרו ובניכם לבניהם ובניהם לדור אחר 3
Mukibuulire abaana bammwe, nabo balikibuulira abaana baabwe, nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
יתר הגזם אכל הארבה ויתר הארבה אכל הילק ויתר הילק אכל החסיל 4
Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde, enzige eziddirira zibirumbye, ate ezo bye zireseewo, enzige ento bye ziridde, ate zino bye zireseewo, enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
הקיצו שכורים ובכו והיללו כל שתי יין על עסיס כי נכרת מפיכם 5
Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga; mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge, mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe katuuse okwerabira omwenge omusu.
כי גוי עלה על ארצי עצום ואין מספר שניו שני אריה ומתלעות לביא לו 6
Eggwanga lirumbye ensi yange, ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma, n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
שם גפני לשמה ותאנתי לקצפה חשף חשפה והשליך הלבינו שריגיה 7
Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange, ne limalawo emitiini gyange. Lisusumbudde ebikuta byagyo, byonna biri ku ttaka, amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
אלי כבתולה חגרת שק על בעל נעוריה 8
Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba, ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
הכרת מנחה ונסך מבית יהוה אבלו הכהנים משרתי יהוה 9
Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama. Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda bakungubaga.
שדד שדה אבלה אדמה כי שדד דגן הוביש תירוש אמלל יצהר 10
Ennimiro ziweddemu ebirime; ettaka likaze, Emmere ey’empeke eweddewo, omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
הבישו אכרים הילילו כרמים על חטה ועל שערה כי אבד קציר שדה 11
Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa, mmwe abalima emizabbibu mukaabe. Mukaabire eŋŋaano ne sayiri, kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
הגפן הובישה והתאנה אמללה רמון גם תמר ותפוח כל עצי השדה יבשו--כי הביש ששון מן בני אדם 12
Omuzabbibu gukaze n’omutiini guyongobedde. Omukomamawanga, n’olukindu ne apo n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose. Abantu tebakyalina ssanyu.
חגרו וספדו הכהנים הילילו משרתי מזבח--באו לינו בשקים משרתי אלהי כי נמנע מבית אלהיכם מנחה ונסך 13
Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage. Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto, mweyale wansi awali ekyoto, musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe, kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna, eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
קדשו צום קראו עצרה--אספו זקנים כל ישבי הארץ בית יהוה אלהיכם וזעקו אל יהוה 14
Mulangirire okusiiba okutukuvu n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze n’abantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
אהה ליום כי קרוב יום יהוה וכשד משדי יבוא 15
Zitusanze olw’olunaku luli! Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde. Lulijja, ng’okuzikiriza okuva eri Ayinzabyonna.
הלוא נגד עינינו אכל נכרת מבית אלהינו שמחה וגיל 16
Emmere tetuweddeeko nga tulaba? Essanyu n’okujaguza mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
עבשו פרדות תחת מגרפתיהם--נשמו אצרות נהרסו ממגרות כי הביש דגן 17
Ensigo ziwotokedde mu ttaka, amawanika makalu n’ebyagi by’emmere bikaze, kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
מה נאנחה בהמה נבכו עדרי בקר--כי אין מרעה להם גם עדרי הצאן נאשמו 18
Ensolo nga zisinda! Amagana gabuliddwa amagezi; kubanga tewali muddo, n’endiga nazo zidooba.
אליך יהוה אקרא כי אש אכלה נאות מדבר ולהבה להטה כל עצי השדה 19
Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira, kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira, n’emiti gyonna egy’omu nnimiro nagyo giyidde.
גם בהמות שדה תערוג אליך כי יבשו אפיקי מים ואש אכלה נאות המדבר 20
Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba, emigga gikalidde, ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.

< יואל 1 >