< איוב 9 >
Yobu n’alyoka addamu nti,
אמנם ידעתי כי-כן ומה-יצדק אנוש עם-אל | 2 |
“Ddala nkimanyi nga kino kituufu. Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
אם-יחפץ לריב עמו-- לא-יעננו אחת מני-אלף | 3 |
Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye, tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
חכם לבב ואמיץ כח-- מי-הקשה אליו וישלם | 4 |
Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo; ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
המעתיק הרים ולא ידעו-- אשר הפכם באפו | 5 |
Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde era n’azivuunika ng’asunguwadde.
המרגיז ארץ ממקומה ועמודיה יתפלצון | 6 |
Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo era n’akankanya empagi zaayo.
האמר לחרס ולא יזרח ובעד כוכבים יחתם | 7 |
Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
נטה שמים לבדו ודורך על-במתי ים | 8 |
Ye yekka abamba eggulu era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
עשה-עש כסיל וכימה וחדרי תמן | 9 |
Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
עשה גדלות עד-אין חקר ונפלאות עד-אין מספר | 10 |
Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
הן יעבר עלי ולא אראה ויחלף ולא-אבין לו | 11 |
Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba, bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
הן יחתף מי ישיבנו מי-יאמר אליו מה-תעשה | 12 |
Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
אלוה לא-ישיב אפו תחתו שחחו עזרי רהב | 13 |
Katonda taziyiza busungu bwe; n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
אף כי-אנכי אעננו אבחרה דברי עמו | 14 |
Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye? Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
אשר אם-צדקתי לא אענה למשפטי אתחנן | 15 |
Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu, mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
אם-קראתי ויענני-- לא-אאמין כי-יאזין קולי | 16 |
Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba, sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
אשר-בשערה ישופני והרבה פצעי חנם | 17 |
Yandimenyeemenye mu muyaga nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
לא-יתנני השב רוחי כי ישבעני ממררים | 18 |
Teyandindese kuddamu mukka naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
אם-לכח אמיץ הנה ואם-למשפט מי יועידני | 19 |
Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi. Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
אם-אצדק פי ירשיעני תם-אני ויעקשני | 20 |
Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde. Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
תם-אני לא-אדע נפשי אמאס חיי | 21 |
“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa, sikyefaako, obulamu bwange mbunyooma.
אחת היא על-כן אמרתי--תם ורשע הוא מכלה | 22 |
Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
אם-שוט ימית פתאם-- למסת נקים ילעג | 23 |
Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo, Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
ארץ נתנה ביד-רשע-- פני-שפטיה יכסה אם-לא אפוא מי-הוא | 24 |
Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi. Abikka ku maaso g’abagiramula. Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
וימי קלו מני-רץ ברחו לא-ראו טובה | 25 |
Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi, zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
חלפו עם-אניות אבה כנשר יטוש עלי-אכל | 26 |
Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo agadduka ennyo, ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
אם-אמרי אשכחה שיחי אעזבה פני ואבליגה | 27 |
Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange, oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
יגרתי כל-עצבתי ידעתי כי-לא תנקני | 28 |
ne neekokkola okubonaabona kwange, mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
אנכי ארשע למה-זה הבל איגע | 29 |
Omusango gunsinze, lwaki nteganira obwereere?
אם-התרחצתי במו- (במי-) שלג והזכותי בבר כפי | 30 |
Ne bwe nandinaabye sabbuuni n’engalo zange ne nzitukuza,
אז בשחת תטבלני ותעבוני שלמותי | 31 |
era wandinsudde mu kinnya, n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
כי-לא-איש כמוני אעננו נבוא יחדו במשפט | 32 |
Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu, era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
לא יש-בינינו מוכיח-- ישת ידו על-שנינו | 33 |
Tewali mutabaganya ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
יסר מעלי שבטו ואמתו אל-תבעתני | 34 |
eyandizigyeko omuggo gwa Katonda entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
אדברה ולא איראנו כי לא-כן אנכי עמדי | 35 |
Olwo nno nandyogedde nga simutya; naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”