< איוב 8 >

ויען בלדד השוחי ויאמר 1
Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,
עד-אן תמלל-אלה ורוח כביר אמרי-פיך 2
“Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
האל יעות משפט ואם-שדי יעות-צדק 3
Katonda akyusakyusa mu nsala ye? Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
אם-בניך חטאו-לו וישלחם ביד-פשעם 4
Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama, n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
אם-אתה תשחר אל-אל ואל-שדי תתחנן 5
Kyokka bw’onoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
אם-זך וישר אתה כי-עתה יעיר עליך ושלם נות צדקך 6
bw’onooba omulongoofu era ow’amazima, ddala ddala anaakuddiramu n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
והיה ראשיתך מצער ואחריתך ישגה מאד 7
Wadde ng’entandikwa yo yali ntono, embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
כי-שאל-נא לדר רישון וכונן לחקר אבותם 8
Buuza ku mirembe egy’edda, era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
כי-תמול אנחנו ולא נדע כי צל ימינו עלי-ארץ 9
kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
הלא-הם יורוך יאמרו לך ומלבם יוצאו מלים 10
Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe oba by’okutegeera kwabwe?
היגאה-גמא בלא בצה ישגה-אחו בלי-מים 11
Ebitoogo biyinza okumera awatali bitosi?
עדנו באבו לא יקטף ולפני כל-חציר ייבש 12
Biba bikyakula nga tebinnasalibwa, bikala mangu okusinga omuddo.
כן--ארחות כל-שכחי אל ותקות חנף תאבד 13
Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda, essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
אשר-יקוט כסלו ובית עכביש מבטחו 14
Ebyo bye yeesiga byatika mangu, ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
ישען על-ביתו ולא יעמד יחזיק בו ולא יקום 15
Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
רטב הוא לפני-שמש ועל גנתו ינקתו תצא 16
Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana, nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
על-גל שרשיו יסבכו בית אבנים יחזה 17
emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja, nga ginoonya ekifo mu mayinja.
אם-יבלענו ממקמו וכחש בו לא ראיתיך 18
Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo, ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
הן-הוא משוש דרכו ומעפר אחר יצמחו 19
Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo, ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
הן-אל לא ימאס-תם ולא-יחזיק ביד-מרעים 20
Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango, era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
עד-ימלה שחוק פיך ושפתיך תרועה 21
Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko, n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
שנאיך ילבשו-בשת ואהל רשעים איננו 22
Abalabe bo balijjula obuswavu, era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”

< איוב 8 >