< איוב 5 >
קרא-נא היש עונך ואל-מי מקדשים תפנה | 1 |
“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
כי-לאויל יהרג-כעש ופתה תמית קנאה | 2 |
Obukyayi butta atalina magezi, n’obuggya butta omusirusiru.
אני-ראיתי אויל משריש ואקוב נוהו פתאם | 3 |
Ndabye abasirusiru nga banywevu, naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
ירחקו בניו מישע וידכאו בשער ואין מציל | 4 |
Abaana baabwe tebalina bukuumi, babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
אשר קצירו רעב יאכל--ואל-מצנים יקחהו ושאף צמים חילם | 5 |
Omuyala alya amakungula gaabwe era atwala n’ag’omu maggwa era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
כי לא-יצא מעפר און ומאדמה לא-יצמח עמל | 6 |
Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi, wadde obuzibu okuva mu ttaka,
כי-אדם לעמל יולד ובני-רשף יגביהו עוף | 7 |
wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku, ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
אולם--אני אדרש אל-אל ואל-אלהים אשים דברתי | 8 |
Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange.
עשה גדלות ואין חקר נפלאות עד-אין מספר | 9 |
Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika.
הנתן מטר על-פני-ארץ ושלח מים על-פני חוצות | 10 |
Atonnyesa enkuba ku nsi, n’aweereza amazzi mu byalo.
לשום שפלים למרום וקדרים שגבו ישע | 11 |
Ayimusa abo abanyigirizibwa n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
מפר מחשבות ערומים ולא-תעשנה ידיהם תשיה | 12 |
Aziyiza enkwe z’ababi, emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
לכד חכמים בערמם ועצת נפתלים נמהרה | 13 |
Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe, n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
יומם יפגשו-חשך וכלילה ימששו בצהרים | 14 |
Ekizikiza kibabuutikira emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
וישע מחרב מפיהם ומיד חזק אביון | 15 |
Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi, n’abawonya ekitala kyabwe.
ותהי לדל תקוה ועלתה קפצה פיה | 16 |
Abaavu ne balyoka baba n’essuubi, n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.
הנה אשרי אנוש יוכחנו אלוה ומוסר שדי אל-תמאס | 17 |
“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
כי הוא יכאיב ויחבש ימחץ וידו תרפינה | 18 |
Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga, y’alumya era y’awonya.
בשש צרות יצילך ובשבע לא-יגע בך רע | 19 |
Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga. Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
ברעב פדך ממות ובמלחמה מידי חרב | 20 |
Mu njala alikuwonya okufa, era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
בשוט לשון תחבא ולא-תירא משד כי יבוא | 21 |
Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe, era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
לשד ולכפן תשחק ומחית הארץ אל-תירא | 22 |
Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze, era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
כי עם-אבני השדה בריתך וחית השדה השלמה-לך | 23 |
Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro, era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
וידעת כי-שלום אהלך ופקדת נוך ולא תחטא | 24 |
Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe; era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
וידעת כי-רב זרעך וצאצאיך כעשב הארץ | 25 |
Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene, ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
תבוא בכלח אלי-קבר כעלות גדיש בעתו | 26 |
Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala, ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
הנה-זאת חקרנוה כן-היא שמענה ואתה דע-לך | 27 |
“Ekyo twakyekenneenya, kituufu. Kimanye nga kikwata ku ggwe.”