< איוב 36 >
Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
כתר-לי זעיר ואחוך כי עוד לאלוה מלים | 2 |
“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage, nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
אשא דעי למרחוק ולפעלי אתן-צדק | 3 |
Amagezi ge nnina gava wala, era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
כי-אמנם לא-שקר מלי תמים דעות עמך | 4 |
Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu, oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.
הן-אל כביר ולא ימאס כביר כח לב | 5 |
“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu; w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
לא-יחיה רשע ומשפט עניים יתן | 6 |
Talamya bakozi ba bibi, era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
לא-יגרע מצדיק עיניו ואת-מלכים לכסא וישיבם לנצח ויגבהו | 7 |
Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
ואם-אסורים בזקים ילכדון בחבלי-עני | 8 |
Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
ויגד להם פעלם ופשעיהם כי יתגברו | 9 |
n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe, nti, beewaggudde,
ויגל אזנם למוסר ויאמר כי-ישובון מאון | 10 |
aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
אם-ישמעו ויעבדו יכלו ימיהם בטוב ושניהם בנעימים | 11 |
Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
ואם-לא ישמעו בשלח יעברו ויגועו בבלי-דעת | 12 |
Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa n’ekitala, bafe nga tebalina magezi.
וחנפי-לב ישימו אף לא ישועו כי אסרם | 13 |
“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi. Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
תמת בנער נפשם וחיתם בקדשים | 14 |
Bafiira mu buvubuka bwabwe era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
יחלץ עני בעניו ויגל בלחץ אזנם | 15 |
Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
ואף הסיתך מפי-צר-- רחב לא-מוצק תחתיה ונחת שלחנך מלא דשן | 16 |
“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
ודין-רשע מלאת דין ומשפט יתמכו | 17 |
Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
כי-חמה פן-יסיתך בספק ורב-כפר אל-יטך | 18 |
Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa; obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
היערך שועך לא בצר וכל מאמצי-כח | 19 |
Obugagga bwo oba okufuba kwo kwonna binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
אל-תשאף הלילה-- לעלות עמים תחתם | 20 |
Teweegomba budde bwa kiro olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
השמר אל-תפן אל-און כי-על-זה בחרת מעני | 21 |
Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu, by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.
הן-אל ישגיב בכחו מי כמהו מורה | 22 |
“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye?
מי-פקד עליו דרכו ומי-אמר פעלת עולה | 23 |
Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
זכר כי-תשגיא פעלו-- אשר שררו אנשים | 24 |
Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba.
כל-אדם חזו-בו אנוש יביט מרחוק | 25 |
Abantu bonna baagiraba, omuntu agirengerera wala.
הן-אל שגיא ולא נדע מספר שניו ולא-חקר | 26 |
Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe; obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.
כי יגרע נטפי-מים יזקו מטר לאדו | 27 |
“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi, agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
אשר-יזלו שחקים ירעפו עלי אדם רב | 28 |
ebire bivaamu amazzi gaabyo, enkuba n’ekuba abantu.
אף אם-יבין מפרשי-עב תשאות סכתו | 29 |
Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire, okubwatuka okuva ku kituuti kye?
הן-פרש עליו אורו ושרשי הים כסה | 30 |
Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu, era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
כי-בם ידין עמים יתן-אכל למכביר | 31 |
Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga, n’agawa emmere mu bungi.
על-כפים כסה-אור ויצו עליה במפגיע | 32 |
Emikono gye agijjuza eraddu, n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
יגיד עליו רעו מקנה אף על-עולה | 33 |
Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”