< איוב 35 >
Eriku n’ayongera okwogera nti,
הזאת חשבת למשפט אמרת צדקי מאל | 2 |
“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango. Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
כי-תאמר מה-יסכן-לך מה-אעיל מחטאתי | 3 |
Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?
אני אשיבך מלין-- ואת-רעיך עמך | 4 |
“Nandyagadde okukuddamu ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
הבט שמים וראה ושור שחקים גבהו ממך | 5 |
Tunula eri eggulu olabe; tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
אם-חטאת מה-תפעל-בו ורבו פשעיך מה-תעשה-לו | 6 |
Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya? Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
אם-צדקת מה-תתן-לו או מה-מידך יקח | 7 |
Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde, oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
לאיש-כמוך רשעך ולבן-אדם צדקתך | 8 |
Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe, era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
מרב עשוקים יזעיקו ישועו מזרוע רבים | 9 |
Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi, balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
ולא-אמר--איה אלוה עשי נתן זמרות בלילה | 10 |
Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange atuwa ennyimba ekiro,
מלפנו מבהמות ארץ ומעוף השמים יחכמנו | 11 |
atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko, era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
שם יצעקו ולא יענה-- מפני גאון רעים | 12 |
Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
אך-שוא לא-ישמע אל ושדי לא ישורנה | 13 |
Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako.
אף כי-תאמר לא תשורנו דין לפניו ותחולל לו | 14 |
Kale kiba kitya bw’ogamba nti tomulaba, era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge era oteekwa okumulindirira;
ועתה--כי-אין פקד אפו ולא-ידע בפש מאד | 15 |
oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
ואיוב הבל יפצה-פיהו בבלי-דעת מלין יכבר | 16 |
Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”