< איוב 34 >

ויען אליהוא ויאמר 1
Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
שמעו חכמים מלי וידעים האזינו לי 2
“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi; mumpulirize mmwe abayivu.
כי-אזן מלין תבחן וחך יטעם לאכל 3
Kubanga okutu kugezesa ebigambo ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
משפט נבחרה-לנו נדעה בינינו מה-טוב 4
Leka twesalirewo ekituufu; muleke tulondewo ekisaanidde.
כי-אמר איוב צדקתי ואל הסיר משפטי 5
“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango, naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
על-משפטי אכזב אנוש חצי בלי-פשע 6
Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
מי-גבר כאיוב ישתה-לעג כמים 7
Musajja ki ali nga Yobu, anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
וארח לחברה עם-פעלי און וללכת עם-אנשי-רשע 8
Atambula n’abakozi b’ebibi, mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
כי-אמר לא יסכן-גבר-- ברצתו עם-אלהים 9
Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
לכן אנשי לבב-- שמעו-לי חללה לאל מרשע ושדי מעול 10
Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
כי פעל אדם ישלם-לו וכארח איש ימצאנו 11
Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze; n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
אף-אמנם אל לא-ירשיע ושדי לא-יעות משפט 12
Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya. Ayinzabyonna tasaliriza musango.
מי-פקד עליו ארצה ומי שם תבל כלה 13
Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
אם-ישים אליו לבו רוחו ונשמתו אליו יאסף 14
Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu awamu n’omukka gwe,
יגוע כל-בשר יחד ואדם על-עפר ישוב 15
abantu bonna bandizikiriridde wamu, era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
ואם-בינה שמעה-זאת האזינה לקול מלי 16
“Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino; wuliriza kye ŋŋamba.
האף שונא משפט יחבוש ואם-צדיק כביר תרשיע 17
Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
האמר למלך בליעל-- רשע אל-נדיבים 18
Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
אשר לא-נשא פני שרים ולא נכר-שוע לפני-דל כי-מעשה ידיו כלם 19
atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
רגע ימתו-- וחצות לילה יגעשו עם ויעברו ויסירו אביר לא ביד 20
Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi. Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo. Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.
כי-עיניו על-דרכי-איש וכל-צעדיו יראה 21
“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu; atunuulira buli kigere kye batambula.
אין-חשך ואין צלמות-- להסתר שם פעלי און 22
Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi, ababi gye bayinza okwekweka.
כי לא על-איש ישים עוד-- להלך אל-אל במשפט 23
Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
ירע כבירים לא-חקר ויעמד אחרים תחתם 24
Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
לכן--יכיר מעבדיהם והפך לילה וידכאו 25
Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
תחת-רשעים ספקם-- במקום ראים 26
Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi abantu bonna nga balaba,
אשר על-כן סרו מאחריו וכל-דרכיו לא השכילו 27
kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
להביא עליו צעקת-דל וצעקת עניים ישמע 28
Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
והוא ישקט ומי ירשע-- ויסתר פנים ומי ישורנו ועל-גוי ועל-אדם יחד 29
Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
ממלך אדם חנף-- ממקשי עם 30
aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga, aleme okutega abantu emitego.
כי-אל-אל האמר נשאתי-- לא אחבל 31
“Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
בלעדי אחזה אתה הרני אם-עול פעלתי לא אסיף 32
kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
המעמך ישלמנה כי-מאסת--כי-אתה תבחר ולא-אני ומה-ידעת דבר 33
olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala, akuleke ng’ogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
אנשי לבב יאמרו לי וגבר חכם שמע לי 34
“Abantu abalina okutegeera mumbuulire, abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
איוב לא-בדעת ידבר ודבריו לא בהשכיל 35
‘Yobu ayogeza butamanya ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
אבי--יבחן איוב עד-נצח על-תשבת באנשי-און 36
Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
כי יסיף על-חטאתו פשע בינינו יספוק וירב אמריו לאל 37
Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, n’akuba mu ngalo wakati mu ffe, n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”

< איוב 34 >