< איוב 32 >

וישבתו שלשת האנשים האלה-- מענות את-איוב כי הוא צדיק בעיניו 1
Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu.
ויחר אף אליהוא בן-ברכאל הבוזי-- ממשפחת-רם באיוב חרה אפו-- על-צדקו נפשו מאלהים 2
Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda.
ובשלשת רעיו חרה אפו על אשר לא-מצאו מענה-- וירשיעו את-איוב 3
Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango.
ואליהו--חכה את-איוב בדברים כי זקנים-המה ממנו לימים 4
Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga.
וירא אליהוא--כי אין מענה בפי שלשת האנשים ויחר אפו 5
Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
ויען אליהוא בן ברכאל הבוזי-- ויאמר צעיר אני לימים ואתם ישישים על-כן זחלתי ואירא מחות דעי אתכם 6
Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza.
אמרתי ימים ידברו ורב שנים ידיעו חכמה 7
Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera, n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
אכן רוח-היא באנוש ונשמת שדי תבינם 8
Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
לא-רבים יחכמו וזקנים יבינו משפט 9
Abakadde si be bokka abalina amagezi, wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.
לכן אמרתי שמעה-לי אחוה דעי אף-אני 10
“Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize, nange mbabuulire kye mmanyi.
הן הוחלתי לדבריכם--אזין עד-תבונתיכם עד-תחקרון מלין 11
Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
ועדיכם אתבונן והנה אין לאיוב מוכיח--עונה אמריו מכם 12
Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu; tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
פן-תאמרו מצאנו חכמה אל ידפנו לא-איש 13
Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi; muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
ולא-ערך אלי מלין ובאמריכם לא אשיבנו 14
Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
חתו לא-ענו עוד העתיקו מהם מלים 15
“Basobeddwa, tebalina kya kwogera, ebigambo bibaweddeko.
והוחלתי כי-לא ידברו כי עמדו לא-ענו עוד 16
Kaakano nsirike busirisi, nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
אענה אף-אני חלקי אחוה דעי אף-אני 17
Nange nnina eky’okwogera, era nnaayogera kye mmanyi,
כי מלתי מלים הציקתני רוח בטני 18
kubanga nzijjudde ebigambo, era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
הנה-בטני--כיין לא-יפתח כאבות חדשים יבקע 19
Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
אדברה וירוח-לי אפתח שפתי ואענה 20
Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe, nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
אל-נא אשא פני-איש ואל-אדם לא אכנה 21
Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi, era sijja na kuwaana muntu yenna.
כי לא ידעתי אכנה כמעט ישאני עשני 22
Kubanga singa mpaaniriza, Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”

< איוב 32 >