< איוב 22 >

ויען אליפז התמני ויאמר 1
Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
הלאל יסכן-גבר-- כי-יסכן עלימו משכיל 2
“Omuntu ayinza okugasa Katonda? Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
החפץ לשדי כי תצדק ואם-בצע כי-תתם דרכיך 3
Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
המיראתך יכיחך יבוא עמך במשפט 4
“Akukangavvula lwa kumutya era kyava akuvunaana?
הלא רעתך רבה ואין-קץ לעונתיך 5
Okwonoona kwo si kunene nnyo? Ebibi byo si bingi nnyo?
כי-תחבל אחיך חנם ובגדי ערומים תפשיט 6
Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
לא-מים עיף תשקה ומרעב תמנע-לחם 7
Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere,
ואיש זרוע לו הארץ ונשוא פנים ישב בה 8
wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka, omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
אלמנות שלחת ריקם וזרעות יתמים ידכא 9
Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde; abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
על-כן סביבותיך פחים ויבהלך פחד פתאם 10
Emitego kyegivudde gikwetooloola. Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
או-חשך לא-תראה ושפעת-מים תכסך 11
Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako?
הלא-אלוה גבה שמים וראה ראש כוכבים כי-רמו 12
“Katonda tali waggulu mu ggulu? Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
ואמרת מה-ידע אל הבעד ערפל ישפוט 13
Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki? Ayinza okulamulira mu kizikiza?
עבים סתר-לו ולא יראה וחוג שמים יתהלך 14
Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
הארח עולם תשמור-- אשר דרכו מתי-און 15
Onoosigala mu kkubo ery’edda abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
אשר-קמטו ולא-עת נהר יוצק יסודם 16
Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka, emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
האמרים לאל סור ממנו ומה-יפעל שדי למו 17
Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
והוא מלא בתיהם טוב ועצת רשעים רחקה מני 18
Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi, noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
יראו צדיקים וישמחו ונקי ילעג-למו 19
Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza; abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
אם-לא נכחד קימנו ויתרם אכלה אש 20
‘Ddala abalabe baffe bazikiridde, era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
הסכן-נא עמו ושלם בהם תבואתך טובה 21
“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe; mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
קח-נא מפיו תורה ושים אמריו בלבבך 22
Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
אם-תשוב עד-שדי תבנה תרחיק עולה מאהלך 23
Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya, bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
ושית-על-עפר בצר ובצור נחלים אופיר 24
n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka, zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
והיה שדי בצריך וכסף תועפות לך 25
awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi.
כי-אז על-שדי תתענג ותשא אל-אלוה פניך 26
Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda.
תעתיר אליו וישמעך ונדריך תשלם 27
Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo.
ותגזר-אמר ויקם לך ועל-דרכיך נגה אור 28
Ky’olisalawo kirikolebwa, era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
כי-השפילו ותאמר גוה ושח עינים יושע 29
Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde.
ימלט אי-נקי ונמלט בבר כפיך 30
Alinunula n’oyo aliko omusango, alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”

< איוב 22 >