< איוב 20 >

ויען צפר הנעמתי ויאמר 1
Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,
לכן שעפי ישיבוני ובעבור חושי בי 2
“Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu kubanga nteganyizibbwa nnyo.
מוסר כלמתי אשמע ורוח מבינתי יענני 3
Mpulidde nga nswadde olw’okunenya, okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.
הזאת ידעת מני-עד מני שים אדם עלי-ארץ 4
“Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
כי רננת רשעים מקרוב ושמחת חנף עדי-רגע 5
nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono, era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
אם-יעלה לשמים שיאו וראשו לעב יגיע 6
Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
כגללו לנצח יאבד ראיו יאמרו איו 7
alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye: abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
כחלום יעוף ולא ימצאהו וידד כחזיון לילה 8
Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika; abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
עין שזפתו ולא תוסיף ולא-עוד תשורנו מקומו 9
Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba, taliddayo kulaba kifo kye nate.
בניו ירצו דלים וידיו תשבנה אונו 10
Abaana be basaana bakolagane n’abaavu, emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
עצמותיו מלאו עלומו ועמו על-עפר תשכב 11
Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge, ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.
אם-תמתיק בפיו רעה-- יכחידנה תחת לשנו 12
“Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke era akukweka wansi w’olulimi lwe,
יחמל עליה ולא יעזבנה וימנענה בתוך חכו 13
tayagala kukuleka, wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
לחמו במעיו נהפך מרורת פתנים בקרבו 14
Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda, era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
חיל בלע ויקאנו מבטנו ירשנו אל 15
Aliwandula eby’obugagga bye yamira; Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
ראש-פתנים יינק תהרגהו לשון אפעה 16
Alinywa obutwa bw’ensweera; amannyo g’essalambwa galimutta.
אל-ירא בפלגות-- נהרי נחלי דבש וחמאה 17
Alisubwa obugga, n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
משיב יגע ולא יבלע כחיל תמורתו ולא יעלס 18
Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde; talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
כי-רצץ עזב דלים בית גזל ולא יבנהו 19
kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba, yawamba amayumba g’ataazimba.
כי לא-ידע שלו בבטנו בחמודו לא ימלט 20
“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe, wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
אין-שריד לאכלו על-כן לא-יחיל טובו 21
Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya; obugagga bwe tebujja kusigalawo.
במלאות שפקו יצר לו כל-יד עמל תבאנו 22
Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira; alibonaabonera ddala nnyo.
יהי למלא בטנו--ישלח-בו חרון אפו וימטר עלימו בלחומו 23
Ng’amaze okujjuza olubuto lwe, Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
יברח מנשק ברזל תחלפהו קשת נחושה 24
Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma, akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
שלף ויצא מגוה וברק ממררתו יהלך עליו אמים 25
Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe, omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba. Entiisa erimujjira.
כל-חשך טמון לצפוניו תאכלהו אש לא-נפח ירע שריד באהלו 26
Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe. Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo, gwokye ebisigadde mu weema ye.
יגלו שמים עונו וארץ מתקוממה לו 27
Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe; ensi erimusitukirako n’emujeemera.
יגל יבול ביתו נגרות ביום אפו 28
Ebintu by’ennyumba biritwalibwa, biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
זה חלק-אדם רשע--מאלהים ונחלת אמרו מאל 29
Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi, nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”

< איוב 20 >