< ירמיה 6 >
העזו בני בנימן מקרב ירושלם ובתקוע תקעו שופר ועל בית הכרם שאו משאת כי רעה נשקפה מצפון ושבר גדול | 1 |
Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini! Mmudduke muve mu Yerusaalemi. Fuuwa ekkondeere mu Tekowa, era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu: kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono, okuzikirira okw’entiisa.
הנוה והמענגה דמיתי בת ציון | 2 |
Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni, omulungi oyo omubalagavu.
אליה יבאו רעים ועדריהם תקעו עליה אהלים סביב רעו איש את ידו | 3 |
Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe. Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna, buli omu yeezimbire w’ayagala.
קדשו עליה מלחמה קומו ונעלה בצהרים אוי לנו כי פנה היום כי ינטו צללי ערב | 4 |
“Mwetegeke mumulwanyise! Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu! Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo, n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
קומו ונעלה בלילה ונשחיתה ארמנותיה | 5 |
Tugende, tulumbe kiro tuzikirize amayumba ge.”
כי כה אמר יהוה צבאות כרתו עצה ושפכו על ירושלם סללה היא העיר הפקד כלה עשק בקרבה | 6 |
Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti, “Muteme emiti mukole entuumo muzingize Yerusaalemi. Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna, kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
כהקיר בור (ביר) מימיה כן הקרה רעתה חמס ושד ישמע בה על פני תמיד--חלי ומכה | 7 |
Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo, entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo. Obulwadde n’ebiwundu bye ndaba buli bbanga.
הוסרי ירושלם--פן תקע נפשי ממך פן אשימך שממה ארץ לוא נושבה | 8 |
Nkulabula, ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe, si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
כה אמר יהוה צבאות עולל יעוללו כגפן שארית ישראל השב ידך כבוצר על סלסלות | 9 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Balisusumbulira ddala n’abo abatono abaliba basigaddewo mu Isirayiri. Ddamu oyise omukono mu matabi ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
על מי אדברה ואעידה וישמעו--הנה ערלה אזנם ולא יוכלו להקשיב הנה דבר יהוה היה להם לחרפה--לא יחפצו בו | 10 |
Ndyogera eri ani gwe ndirabula? Ani alimpuliriza? Amatu gaabwe gagaddwa ne batasobola kuwulira. Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali, tebakisanyukira n’akamu.
ואת חמת יהוה מלאתי נלאיתי הכיל--שפך על עולל בחוץ ועל סוד בחורים יחדו כי גם איש עם אשה ילכדו זקן עם מלא ימים | 11 |
Kyenva nzijula ekiruyi sikyasobola kukizibiikiriza. “Kiyiwe ku baana abali mu luguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; abaami awamu n’abakazi n’abakadde abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
ונסבו בתיהם לאחרים שדות ונשים יחדו כי אטה את ידי על ישבי הארץ נאם יהוה | 12 |
Enju zaabwe ziritwalibwa abalala, n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe; kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,” bw’ayogera Mukama.
כי מקטנם ועד גדולם כלו בוצע בצע ומנביא ועד כהן--כלו עשה שקר | 13 |
“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera eby’obulimba.
וירפאו את שבר עמי על נקלה--לאמר שלום שלום ואין שלום | 14 |
Ekiwundu ky’abantu bange bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi. Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’ So nga tewali mirembe.
הבישו כי תועבה עשו גם בוש לא יבושו גם הכלים לא ידעו--לכן יפלו בנפלים בעת פקדתים יכשלו אמר יהוה | 15 |
Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi n’akatono. Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa; balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,” bw’ayogera Mukama.
כה אמר יהוה עמדו על דרכים וראו ושאלו לנתבות עולם אי זה דרך הטוב ולכו בה ומצאו מרגוע לנפשכם ויאמרו לא נלך | 16 |
Kino Mukama ky’agamba nti, “Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo. Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
והקמתי עליכם צפים הקשיבו לקול שופר ויאמרו לא נקשיב | 17 |
Nabateerawo abakuumi babategeeze nti, Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere, naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
לכן שמעו הגוים ודעי עדה את אשר בם | 18 |
Kale muwulire, mmwe amawanga era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
שמעי הארץ--הנה אנכי מביא רעה אל העם הזה פרי מחשבותם כי על דברי לא הקשיבו ותורתי וימאסו בה | 19 |
Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, by’ebibala by’enkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange n’etteeka lyange baligaanye.
למה זה לי לבונה משבא תבוא וקנה הטוב מארץ מרחק עלותיכם לא לרצון וזבחיכם לא ערבו לי | 20 |
Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki? Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala? Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza, n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
לכן כה אמר יהוה הנני נתן אל העם הזה מכשלים וכשלו בם אבות ובנים יחדו שכן ורעו--יאבדו (ואבדו) | 21 |
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano; bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko. Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
כה אמר יהוה הנה עם בא מארץ צפון וגוי גדול יעור מירכתי ארץ | 22 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti, “Laba, eggye lijja eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono, eggwanga ery’amaanyi liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
קשת וכידון יחזיקו אכזרי הוא ולא ירחמו קולם כים יהמה ועל סוסים ירכבו ערוך כאיש למלחמה עליך בת ציון | 23 |
Bakutte omutego n’effumu, abakambwe abatalina kusaasira. Bawulikika ng’ennyanja ewuuma, nga beebagadde embalaasi zaabwe: bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
שמענו את שמעו רפו ידינו צרה החזקתנו--חיל כיולדה | 24 |
Tuwulidde ettutumu lyabwe; era emikono gyaffe giweddemu amaanyi okulumwa okunene kutukutte n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
אל תצאי (תצאו) השדה ובדרך אל תלכי (תלכו) כי חרב לאיב מגור מסביב | 25 |
Togeza kugenda mu nnimiro newaakubadde okutambulira mu kkubo; kubanga omulabe abunye wonna wonna n’entiisa ejjudde mu bantu.
בת עמי חגרי שק והתפלשי באפר--אבל יחיד עשי לך מספד תמרורים כי פתאם יבא השדד עלינו | 26 |
Kale nno mmwe abantu, mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu; mukungubage ng’abakaabira omwana owoobulenzi omu yekka. Kubanga oyo agenda okuzikiriza ajja kutugwako mavumbavumba.
בחון נתתיך בעמי מבצר ותדע ובחנת את דרכם | 27 |
“Nkufudde ekigezesa abantu bange n’ekyuma, osobole okulaba n’okugezesa amakubo gaabwe.
כלם סרי סוררים הלכי רכיל נחשת וברזל כלם משחיתים המה | 28 |
Bonna bakyewaggula abakakanyavu abagenda bawaayiriza, bikomo era kyuma, bonna boonoonefu.
נחר מפח מאשתם (מאש תם) עפרת--לשוא צרף צרוף ורעים לא נתקו | 29 |
Emivubo bagifukuta n’amaanyi, omuliro gumalawo essasi, naye balongoosereza bwereere kubanga ababi tebaggyibwamu.
כסף נמאס קראו להם כי מאס יהוה בהם | 30 |
Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abalese.”