< ירמיה 50 >
הדבר אשר דבר יהוה אל בבל--אל ארץ כשדים ביד ירמיהו הנביא | 1 |
Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
הגידו בגוים והשמיעו ושאו נס השמיעו אל תכחדו אמרו נלכדה בבל הביש בל חת מרדך הבישו עצביה חתו גלוליה | 2 |
“Buulira mu mawanga era olangirire, yimusa bendera olangirire, tolekaayo kintu kyonna ogambe nti, ‘Babulooni eriwambibwa; Beri kiswale, ne Meroddaaki kijjule entiisa. Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala era bitye.’
כי עלה עליה גוי מצפון הוא ישית את ארצה לשמה ולא יהיה יושב בה מאדם ועד בהמה נדו הלכו | 3 |
Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba lyonoone ensi y’Abakaludaaya. Tewali muntu alisigalamu; abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
בימים ההמה ובעת ההיא נאם יהוה יבאו בני ישראל המה ובני יהודה יחדו הלוך ובכו ילכו ואת יהוה אלהיהם יבקשו | 4 |
“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama, “abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
ציון ישאלו דרך הנה פניהם באו ונלוו אל יהוה ברית עולם לא תשכח | 5 |
Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti, Mujje twesibe ku Mukama Katonda mu ndagaano ey’emirembe gyonna etegenda kwerabirwa.
צאן אבדות היה (היו) עמי--רעיהם התעום הרים שובבים (שובבום) מהר אל גבעה הלכו שכחו רבצם | 6 |
“Abantu bange babadde ndiga ezibuze; abasumba baabwe babawabizza ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi. Baava ku lusozi ne badda ku kasozi ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
כל מוצאיהם אכלום וצריהם אמרו לא נאשם תחת אשר חטאו ליהוה נוה צדק ומקוה אבותיהם יהוה | 7 |
Buli eyabasanganga nga abatulugunya; abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza, kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala, ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
נדו מתוך בבל ומארץ כשדים יצאו (צאו) והיו כעתודים לפני צאן | 8 |
“Mudduke okuva e Babulooni; muleke ensi y’Abakaludaaya, mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
כי הנה אנכי מעיר ומעלה על בבל קהל גוים גדלים מארץ צפון וערכו לה משם תלכד חציו כגבור משכיל לא ישוב ריקם | 9 |
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni. Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe, bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono. Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu, abataddira awo ngalo nsa.
והיתה כשדים לשלל כל שלליה ישבעו נאם יהוה | 10 |
Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa; abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
כי תשמחי (תשמחו) כי תעלזי (תעלזו) שסי נחלתי כי תפושי (תפושו) כעגלה דשה ותצהלי (ותצהלו) כאברים | 11 |
“Kubanga musanyuka ne mujaguza, mmwe abaanyaga omugabo gwabwe, kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke, ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
בושה אמכם מאד חפרה יולדתכם הנה אחרית גוים מדבר ציה וערבה | 12 |
nnyammwe alikwatibwa ensonyi; oyo eyakuzaala aliswazibwa. Aliba ensi esemberayo ddala, ensiko, ensi enkalu, eddungu.
מקצף יהוה לא תשב והיתה שממה כלה כל עבר על בבל ישם וישרק על כל מכותיה | 13 |
Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu, naye alisigala matongo. Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze olw’ebiwundu bye byonna.
ערכו על בבל סביב כל דרכי קשת ידו אליה אל תחמלו אל חץ כי ליהוה חטאה | 14 |
“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni, mwenna abanaanuula omutego. Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu, kubanga yajeemera Mukama Katonda.
הריעו עליה סביב נתנה ידה נפלו אשויתיה (אשיותיה) נהרסו חומותיה כי נקמת יהוה היא הנקמו בה כאשר עשתה עשו לה | 15 |
Mumukube olube ku buli ludda. Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa, n’ebisenge bye bimenyeddwa. Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda, mumwesasuzeeko; mumukole nga bw’akoze abalala.
כרתו זורע מבבל ותפש מגל בעת קציר--מפני חרב היונה איש אל עמו יפנו ואיש לארצו ינסו | 16 |
Asiga mumuggye mu Babulooni, n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula. Olw’ekitala ky’omujoozi, leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe, buli muntu adde eri abantu be.
שה פזורה ישראל אריות הדיחו הראשון אכלו מלך אשור וזה האחרון עצמו נבוכדראצר מלך בבל | 17 |
“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye, empologoma kye zigobye. Eyasooka okumulya yali kabaka wa Bwasuli; eyasembayo okumenya amagumba ge yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
לכן כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הנני פקד אל מלך בבל ואל ארצו--כאשר פקדתי אל מלך אשור | 18 |
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
ושבבתי את ישראל אל נוהו ורעה הכרמל והבשן ובהר אפרים והגלעד תשבע נפשו | 19 |
Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye era aliriira ku Kalumeeri ne Basani; alikuttira ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
בימים ההם ובעת ההיא נאם יהוה יבקש את עון ישראל ואיננו ואת חטאת יהודה ולא תמצאינה כי אסלח לאשר אשאיר | 20 |
Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
על הארץ מרתים עלה עליה ואל יושבי פקוד חרב והחרם אחריהם נאם יהוה ועשה ככל אשר צויתיך | 21 |
“Mulumbe ensi ye Merasayimu n’abo abali mu Pekodi. Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Mukole byonna bye mbalagidde.
קול מלחמה בארץ--ושבר גדול | 22 |
Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga, eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
איך נגדע וישבר פטיש כל הארץ איך היתה לשמה בבל בגוים | 23 |
Ennyondo y’ensi yonna ng’ekubiddwa n’emenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
יקשתי לך וגם נלכדת בבל ואת לא ידעת נמצאת וגם נתפשת--כי ביהוה התגרית | 24 |
Nakutegera omutego, ggwe Babulooni, babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde, baakukwata ne bakuwamba kubanga wawakanya Mukama.
פתח יהוה את אוצרו ויוצא את כלי זעמו כי מלאכה היא לאדני יהוה צבאות--בארץ כשדים | 25 |
Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola mu nsi y’Abakaludaaya.
באו לה מקץ פתחו מאבסיה סלוה כמו ערמים והחרימוה אל תהי לה שארית | 26 |
Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda, mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke, mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke. Mumuzikiririze ddala; waleme kusigalawo n’omu ku bo.
חרבו כל פריה ירדו לטבח הוי עליהם כי בא יומם עת פקדתם | 27 |
Mutte ennume zaabwe zonna, muzitwale zittibwe. Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse, kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
קול נסים ופלטים מארץ בבל להגיד בציון את נקמת יהוה אלהינו--נקמת היכלו | 28 |
Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni nga balangirira mu Sayuuni engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza, gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
השמיעו אל בבל רבים כל דרכי קשת חנו עליה סביב אל יהי (לה) פליטה שלמו לה כפעלה ככל אשר עשתה עשו לה כי אל יהוה זדה אל קדוש ישראל | 29 |
“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni, ne bonna abanaanuula omutego. Mumwetooloole yenna; tewaba n’omu awona. Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna; mumukole nga bwe yakola banne. Kubanga yanyooma Mukama, Omutukuvu wa Isirayiri.
לכן יפלו בחוריה ברחבתיה וכל אנשי מלחמתה ידמו ביום ההוא נאם יהוה | 30 |
Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo; abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda.
הנני אליך זדון נאם אדני יהוה צבאות כי בא יומך עת פקדתיך | 31 |
“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, “Kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
וכשל זדון ונפל ואין לו מקים והצתי אש בעריו ואכלה כל סביבתיו | 32 |
Oyo ow’amalala alyesittala agwe era teri n’omu alimuyamba kuyimuka; Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
כה אמר יהוה צבאות עשוקים בני ישראל ובני יהודה יחדו וכל שביהם החזיקו בם מאנו שלחם | 33 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa awamu n’abantu ba Yuda; Bonna ababawambye babanywezezza, bagaanye okubata.
גאלם חזק יהוה צבאות שמו--ריב יריב את ריבם למען הרגיע את הארץ והרגיז לישבי בבל | 34 |
Omununuzi waabwe w’amaanyi, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa, alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe; wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
חרב על כשדים נאם יהוה ואל ישבי בבל ואל שריה ואל חכמיה | 35 |
“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,” bw’ayogera Mukama, “n’eri abo ababeera mu Babulooni, n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
חרב אל הבדים ונאלו חרב אל גבוריה וחתו | 36 |
Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba! Balifuuka balisiriwala, ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe. Balijjula entiisa.
חרב אל סוסיו ואל רכבו ואל כל הערב אשר בתוכה--והיו לנשים חרב אל אוצרתיה ובזזו | 37 |
Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali n’abagwira bonna abamubeeramu! Balifuuka banafu ng’abakazi. Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe! Birinyagibwa!
חרב אל מימיה ויבשו כי ארץ פסלים היא ובאימים יתהללו | 38 |
Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu! Galikalira. Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi, ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
לכן ישבו ציים את איים וישבו בה בנות יענה ולא תשב עוד לנצח ולא תשכון עד דור ודר | 39 |
“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi, era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera. Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
כמהפכת אלהים את סדם ואת עמרה ואת שכניה--נאם יהוה לא ישב שם איש ולא יגור בה בן אדם | 40 |
Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama, “bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu; tewaliba n’omu alikisigalamu.
הנה עם בא מצפון וגוי גדול ומלכים רבים יערו מירכתי ארץ | 41 |
“Laba, eggye liva mu bukiikakkono; ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi, bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
קשת וכידן יחזיקו אכזרי המה ולא ירחמו--קולם כים יהמה ועל סוסים ירכבו ערוך כאיש למלחמה עליך בת בבל | 42 |
Balina obusaale n’amafumu, bakambwe si ba kisa. Beebagadde embalaasi zaabwe ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja; bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
שמע מלך בבל את שמעם ורפו ידיו צרה החזיקתהו--חיל כיולדה | 43 |
Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako, n’emikono gye girebedde. Entiisa emugwiridde, ng’omukazi alumwa okuzaala.
הנה כאריה יעלה מגאון הירדן אל נוה איתן--כי ארגעה ארוצם (אריצם) מעליה ומי בחור אליה אפקד כי מי כמוני ומי יועדני ומי זה רעה אשר יעמד לפני | 44 |
Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani okugenda mu ddundiro eggimu, Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe. Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino? Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza? Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
לכן שמעו עצת יהוה אשר יעץ אל בבל ומחשבותיו אשר חשב אל ארץ כשדים אם לא יסחבום צעירי הצאן אם לא ישים עליהם נוה | 45 |
Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni, ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya. Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa, alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
מקול נתפשה בבל נרעשה הארץ וזעקה בגוים נשמע | 46 |
Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana; okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.