< ירמיה 5 >

שוטטו בחוצות ירושלם וראו נא ודעו ובקשו ברחובותיה אם תמצאו איש אם יש עשה משפט מבקש אמונה--ואסלח לה 1
“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi, tunulatunula olabe, noonya wonna we bakuŋŋaanira, bw’onoosanga omuntu omu bw’ati omwesimbu ow’amazima, nnaasonyiwa ekibuga kino.
ואם חי יהוה יאמרו לכן לשקר ישבעו 2
Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’ baba balayirira bwereere.”
יהוה עיניך הלוא לאמונה--הכיתה אתם ולא חלו כליתם מאנו קחת מוסר חזקו פניהם מסלע מאנו לשוב 3
Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima? Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta, naye ne bagaana okukangavvulwa. Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja; era bagaanyi okwenenya.
ואני אמרתי אך דלים הם נואלו--כי לא ידעו דרך יהוה משפט אלהיהם 4
Ne njogera nti, “Bano baavu abasirusiru. Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.
אלכה לי אל הגדלים ואדברה אותם--כי המה ידעו דרך יהוה משפט אלהיהם אך המה יחדו שברו על נתקו מוסרות 5
Kale ndigenda eri abakulembeze njogere nabo; Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.” Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo nga baakutula ebisiba.
על כן הכם אריה מיער זאב ערבות ישדדם--נמר שקד על עריהם כל היוצא מהנה יטרף כי רבו פשעיהם עצמו משבותיהם 6
Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya, n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo. Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe, buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe; Kubanga ebibi byabwe bingi, okudda ennyuma kunene.
אי לזאת אסלוח (אסלח) לך--בניך עזבוני וישבעו בלא אלהים ואשבע אותם וינאפו ובית זונה יתגודדו 7
“Mbasonyiwe ntya? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda. Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda, ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
סוסים מיזנים משכים היו איש אל אשת רעהו יצהלו 8
Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye, buli muntu ng’akaayanira muka munne.
העל אלה לוא אפקד נאם יהוה ואם בגוי אשר כזה לא תתנקם נפשי 9
Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo? bw’ayogera Mukama, Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi efaanana bw’etyo?”
עלו בשרותיה ושחתו וכלה אל תעשו הסירו נטישותיה כי לוא ליהוה המה 10
“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone, naye togimalirawo ddala. Giggyeeko amatabi gaagyo, kubanga si bantu ba Mukama.
כי בגוד בגדו בי בית ישראל ובית יהודה--נאם יהוה 11
Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
כחשו ביהוה ויאמרו לוא הוא ולא תבוא עלינו רעה וחרב ורעב לוא נראה 12
Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti, “Talina kyajja kukola, tewali kabi kanaatugwako, era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
והנביאים יהיו לרוח והדבר אין בהם כה יעשה להם 13
Bannabbi mpewo buwewo era ekigambo tekibaliimu; noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”
לכן כה אמר יהוה אלהי צבאות יען דברכם את הדבר הזה הנני נתן דברי בפיך לאש והעם הזה עצים--ואכלתם 14
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga abantu boogedde ebigambo bino, ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro, n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
הנני מביא עליכם גוי ממרחק בית ישראל נאם יהוה גוי איתן הוא גוי מעולם הוא--גוי לא תדע לשנו ולא תשמע מה ידבר 15
Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama. Ensi eyaguma ey’edda, abantu ab’olulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera
אשפתו כקבר פתוח כלם גבורים 16
omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde, bonna balwanyi nnamige.
ואכל קצירך ולחמך יאכלו בניך ובנותיך--יאכל צאנך ובקרך יאכל גפנך ותאנתך ירשש ערי מבצריך אשר אתה בטח בהנה--בחרב 17
Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe; balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe; balye emizabbibu n’emitiini gyammwe, ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.
וגם בימים ההמה נאם יהוה לא אעשה אתכם כלה 18
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo.
והיה כי תאמרו תחת מה עשה יהוה אלהינו לנו את כל אלה ואמרת אליהם כאשר עזבתם אותי ותעבדו אלהי נכר בארצכם--כן תעבדו זרים בארץ לא לכם 19
Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
הגידו זאת בבית יעקב והשמיעוה ביהודה לאמר 20
“Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo, kirangirire mu Yuda.
שמעו נא זאת עם סכל ואין לב עינים להם ולא יראו אזנים להם ולא ישמעו 21
Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera, abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
האותי לא תיראו נאם יהוה אם מפני לא תחילו אשר שמתי חול גבול לים חק עולם ולא יעברנהו ויתגעשו ולא יוכלו והמו גליו ולא יעברנהו 22
Temuntya?” bw’ayogera Mukama; “temunkankanira? Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja, olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka; wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza, gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
ולעם הזה היה לב סורר ומורה סרו וילכו 23
Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu. Bajeemye banvuddeko.
ולוא אמרו בלבבם נירא נא את יהוה אלהינו הנתן גשם וירה (יורה) ומלקוש בעתו שבעת חקות קציר ישמר לנו 24
Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba, eya ddumbi n’eya ttoggo, mu ntuuko zaayo; atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’”
עונותיכם הטו אלה וחטאותיכם מנעו הטוב מכם 25
Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
כי נמצאו בעמי רשעים ישור כשך יקושים הציבו משחית אנשים ילכדו 26
“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange; abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi. Batega abantu omutego.
ככלוב מלא עוף כן בתיהם מלאים מרמה על כן גדלו ויעשירו 27
Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi, enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe. Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga, ne bagejja era ne banyirira.
שמנו עשתו גם עברו דברי רע--דין לא דנו דין יתום ויצליחו ומשפט אביונים לא שפטו 28
Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya, abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango, era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
העל אלה לא אפקד נאם יהוה אם בגוי אשר כזה לא תתנקם נפשי 29
Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?” bw’ayogera Mukama. “Nneme okwesasuza ku ggwanga eriri nga eryo?
שמה ושערורה נהיתה בארץ 30
“Ekigambo eky’ekitalo era eky’ekivve kigudde mu nsi:
הנבאים נבאו בשקר והכהנים ירדו על ידיהם ועמי אהבו כן ומה תעשו לאחריתה 31
Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba, bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?”

< ירמיה 5 >