< ירמיה 49 >

לבני עמון כה אמר יהוה הבנים אין לישראל אם יורש אין לו--מדוע ירש מלכם את גד ועמו בעריו ישב 1
Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Isirayiri terina baana balenzi? Terina basika? Lwaki Malukamu atutte Gaadi? Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
לכן הנה ימים באים נאם יהוה והשמעתי אל רבת בני עמון תרועת מלחמה והיתה לתל שממה ובנתיה באש תצתנה וירש ישראל את ירשיו אמר יהוה 2
Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo ku Labba eky’abawala ba Amoni. Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu, n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro. Isirayiri eryoke egobere ebweru abo abagigoba,” bw’ayogera Mukama Katonda.
הילילי חשבון כי שדדה עי צעקנה בנות רבה--חגרנה שקים ספדנה והתשוטטנה בגדרות כי מלכם בגולה ילך כהניו ושריו יחדיו 3
“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde! Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba! Mwesibe ebibukutu mukungubage. Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga, kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona n’abakungu.
מה תתהללי בעמקים--זב עמקך הבת השובבה הבטחה באצרתיה מי יבוא אלי 4
Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo n’ogamba nti, ‘Ani alinnumba?’
הנני מביא עליך פחד נאם אדני יהוה צבאות--מכל סביביך ונדחתם איש לפניו ואין מקבץ לנדד 5
Ndikuleetako entiisa, okuva mu abo bonna abakwetoolodde,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye. “Buli omu ku mmwe aligobebwa, era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.
ואחרי כן אשיב את שבות בני עמון--נאם יהוה 6
“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,” bw’ayogera Mukama Katonda.
לאדום כה אמר יהוה צבאות האין עוד חכמה בתימן אבדה עצה מבנים נסרחה חכמתם 7
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Tewakyali magezi mu Temani? Abeegendereza babuliddwa okutegeera? Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
נסו הפנו העמיקו לשבת ישבי דדן כי איד עשו הבאתי עליו עת פקדתיו 8
Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala mmwe abatuuze b’e Dedani, kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu, mu kiseera bwe ndimubonerereza.
אם בצרים באו לך לא ישארו עוללות אם גנבים בלילה השחיתו דים 9
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli, tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi? Singa ababbi bazze ekiro, tebandibbye byonna bye beetaaga?
כי אני חשפתי את עשו גליתי את מסתריו ונחבה לא יוכל שדד זרעו ואחיו ושכניו ואיננו 10
Naye ndyambula Esawu mwerule; ndizuula ebifo bye mwe yeekweka, aleme kwekweka. Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira, era wa kuggwaawo.
עזבה יתמיך אני אחיה ואלמנותיך עלי תבטחו 11
Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira. Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
כי כה אמר יהוה הנה אשר אין משפטם לשתות הכוס שתו ישתו ואתה הוא נקה תנקה לא תנקה כי שתה תשתה 12
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa.
כי בי נשבעתי נאם יהוה כי לשמה לחרפה לחרב ולקללה תהיה בצרה וכל עריה תהיינה לחרבות עולם 13
Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”
שמועה שמעתי מאת יהוה וציר בגוים שלוח התקבצו ובאו עליה וקומו למלחמה 14
Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda. Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti, “Mwekuŋŋaanye mukirumbe! Mugolokoke mukole olutalo!”
כי הנה קטן נתתיך בגוים--בזוי באדם 15
“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, abanyoomebwa mu bantu.
תפלצתך השיא אתך זדון לבך שכני בחגוי הסלע תפשי מרום גבעה כי תגביה כנשר קנך משם אורידך נאם יהוה 16
Entiisa gy’oleeta n’amalala g’omutima gwo bikulimbye, mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja, mmwe ababeera waggulu mu nsozi. Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיתה אדום לשמה כל עבר עליה ישם וישרק על כל מכותה 17
“Edomu kirifuuka kyerolerwa, abo bonna abayitawo balyewuunya batye olw’ebiwundu bye byonna.
כמהפכת סדם ועמרה ושכניה--אמר יהוה לא ישב שם איש ולא יגור בה בן אדם 18
Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa, wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “tewaliba n’omu abibeeramu; tewali musajja alikituulamu.
הנה כאריה יעלה מגאון הירדן אל נוה איתן--כי ארגיעה אריצנו מעליה ומי בחור אליה אפקד כי מי כמוני ומי יעידני ומי זה רעה אשר יעמד לפני 19
“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani okugenda mu muddo omugimu, ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro. Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino? Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza? Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
לכן שמעו עצת יהוה אשר יעץ אל אדום ומחשבותיו אשר חשב אל ישבי תימן אם לוא יסחבום צעירי הצאן אם לא ישים עליהם נוהם 20
Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu, kyategekedde abo abatuula mu Temani. Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa, alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
מקול נפלם רעשה הארץ צעקה בים סוף נשמע קולה 21
Bwe baligwa ensi erikankana, emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
הנה כנשר יעלה וידאה ויפרש כנפיו על בצרה והיה לב גבורי אדום ביום ההוא כלב אשה מצרה 22
Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira, n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
לדמשק בושה חמת וארפד--כי שמעה רעה שמעו נמגו בים דאגה השקט לא יוכל 23
Ebikwata ku Damasiko: “Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi, kubanga biwulidde amawulire amabi. Bakeŋŋentereddwa, batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
רפתה דמשק הפנתה לנוס ורטט החזיקה צרה וחבלים אחזתה כיולדה 24
Ddamasiko ayongobedde, akyuse adduke era okutya kumukutte; obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza, obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
איך לא עזבה עיר תהלה (תהלת)--קרית משושי 25
Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse, ekibuga mwe nsanyukira?
לכן יפלו בחוריה ברחבתיה וכל אנשי המלחמה ידמו ביום ההוא נאם יהוה צבאות 26
Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo, n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
והצתי אש בחומת דמשק ואכלה ארמנות בן הדד 27
“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro; gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
לקדר ולממלכות חצור אשר הכה נבוכדראצור (נבוכדראצר) מלך בבל--כה אמר יהוה קומו עלו אל קדר ושדדו את בני קדם 28
Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Golokoka, olumbe Kedali ozikirize abantu be bugwanjuba.
אהליהם וצאנם יקחו יריעותיהם וכל כליהם וגמליהם ישאו להם וקראו עליהם מגור מסביב 29
Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa; enju zaabwe ziryetikkibwa n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe. Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti, ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’
נסו נדו מאד העמיקו לשבת ישבי חצור--נאם יהוה כי יעץ עליכם נבוכדראצר מלך בבל עצה וחשב עליהם (עליכם) מחשבה 30
“Mudduke mwekukume mangu! Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe; ategese okubalumba.
קומו עלו אל גוי שליו יושב לבטח--נאם יהוה לא דלתים ולא בריח לו בדד ישכנו 31
“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo, eriri mu kweyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda, “eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma; abantu baalyo babeera awo bokka.
והיו גמליהם לבז והמון מקניהם לשלל וזרתים לכל רוח קצוצי פאה ומכל עבריו אביא את אידם נאם יהוה 32
Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa, n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe. Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala, mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיתה חצור למעון תנים שממה--עד עולם לא ישב שם איש ולא יגור בה בן אדם 33
“Kazoli alifuuka kifo kya bibe, ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe. Tewali alikibeeramu; tewali muntu alikituulamu.”
אשר היה דבר יהוה אל ירמיהו הנביא אל עילם בראשית מלכות צדקיה מלך יהודה--לאמר 34
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.
כה אמר יהוה צבאות הנני שבר את קשת עילם ראשית גבורתם 35
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
והבאתי אל עילם ארבע רוחות מארבע קצות השמים וזרתים לכל הרחות האלה ולא יהיה הגוי אשר לא יבוא שם נדחי עולם (עילם) 36
Era ndireeta ku Eramu empewo ennya, okuva mu bitundu ebina eby’eggulu; ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya, era tewaliba nsi n’emu abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
והחתתי את עילם לפני איביהם ולפני מבקשי נפשם והבאתי עליהם רעה את חרון אפי--נאם יהוה ושלחתי אחריהם את החרב עד כלותי אותם 37
Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be, mu maaso gaabo abamunoonya okumutta; ndibatuusaako ekikangabwa, n’obusungu bwange obungi ennyo,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ndibawondera n’ekitala okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
ושמתי כסאי בעילם והאבדתי משם מלך ושרים נאם יהוה 38
Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu era nzikirize kabaka we n’abakungu be,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיה באחרית הימים אשוב (אשיב) את שבית (שבות) עילם--נאם יהוה 39
“Wabula ekiseera kijja, lwe ndiddiramu Eramu,” bw’ayogera Mukama Katonda.

< ירמיה 49 >