< ירמיה 48 >

למואב כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הוי אל נבו כי שדדה הבישה נלכדה קריתים הבישה המשגב וחתה 1
Ebikwata ku Mowaabu: Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa, Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe, ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
אין עוד תהלת מואב--בחשבון חשבו עליה רעה לכו ונכריתנה מגוי גם מדמן תדמי אחריך תלך חרב 2
Mowaabu taddeyo kutenderezebwa; mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti, ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’ Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa, n’ekitala kirikugoberera.
קול צעקה מחרונים--שד ושבר גדול 3
Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu, okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
נשברה מואב השמיעו זעקה צעוריה (צעיריה) 4
Mowaabu alimenyebwa; abawere ne bakaaba.
כי מעלה הלחות (הלחית) בבכי יעלה בכי כי במורד חורנים צרי צעקת שבר שמעו 5
Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi, nga bwe bakungubaga ku luguudo olugenda e Kolonayimu, emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
נסו מלטו נפשכם ותהיינה כערוער במדבר 6
Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe; mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
כי יען בטחך במעשיך ובאוצרותיך גם את תלכדי ויצא כמיש (כמוש) בגולה כהניו ושריו יחד (יחדו) 7
Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe, nammwe mulitwalibwa ng’abaddu, ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse awamu ne bakabona be n’abakungu be.
ויבא שדד אל כל עיר ועיר לא תמלט ואבד העמק ונשמד המישר--אשר אמר יהוה 8
Omuzikiriza alirumba buli kibuga, era tewali kibuga kiriwona. Ekiwonvu kiryonoonebwa n’olusenyu luzikirizibwe kubanga Mukama ayogedde.
תנו ציץ למואב כי נצא תצא ועריה לשמה תהיינה מאין יושב בהן 9
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende kubanga alifuuka matongo, ebibuga bye birizikirizibwa, nga tewali abibeeramu.
ארור עשה מלאכת יהוה--רמיה וארור מנע חרבו מדם 10
“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda. Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
שאנן מואב מנעוריו ושקט הוא אל שמריו ולא הורק מכלי אל כלי ובגולה לא הלך על כן עמד טעמו בו וריחו לא נמר 11
“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe, nga wayini gwe batasengezze, gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala, tagenzeko mu buwaŋŋanguse. Kale awooma ng’edda, n’akawoowo ke tekakyukanga.
לכן הנה ימים באים נאם יהוה ושלחתי לו צעים וצעהו וכליו יריקו ונבליהם ינפצו 12
Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya, era balimuyiwa ebweru; balittulula ensuwa ze baase n’ebibya bye.
ובש מואב מכמוש כאשר בשו בית ישראל מבית אל מבטחם 13
Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi, ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala bwe yeesiga Beseri.
איך תאמרו גבורים אנחנו ואנשי חיל למלחמה 14
“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi, abasajja abazira mu ntalo?’
שדד מואב ועריה עלה ומבחר בחוריו ירדו לטבח נאם המלך--יהוה צבאות שמו 15
Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa; abavubuka be abato bagende battibwe,” bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
קרוב איד מואב לבוא ורעתו מהרה מאד 16
“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde; akabi katuuse.
נדו לו כל סביביו וכל ידעי שמו אמרו איכה נשבר מטה עז--מקל תפארה 17
Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde, mwenna abamanyi ettutumu lye; mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese, ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’
רדי מכבוד ישבי (ושבי) בצמא ישבת בת דיבון כי שדד מואב עלה בך שחת מבצריך 18
“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe mutuule ku ttaka, mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni, kubanga oyo azikiriza Mowaabu alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
אל דרך עמדי וצפי יושבת ערוער שאלי נס ונמלטה אמרי מה נהיתה 19
Muyimirire ku luguudo mulabe, mmwe ababeera mu Aloweri. Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka, mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
הביש מואב כי חתה הילילי (הילילו) וזעקי (וזעקו) הגידו בארנון כי שדד מואב 20
Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese. Mukaabe muleekaane! Mulangiririre mu Alunoni nti Mowaabu kizikiridde.
ומשפט בא אל ארץ המישר--אל חלון ואל יהצה ועל מופעת (מיפעת) 21
Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
ועל דיבון ועל נבו ועל בית דבלתים 22
ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
ועל קריתים ועל בית גמול ועל בית מעון 23
ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
ועל קריות ועל בצרה ועל כל ערי ארץ מואב--הרחקות והקרבות 24
ne ku Keriyoosi ne ku Bozula ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
נגדעה קרן מואב וזרעו נשברה--נאם יהוה 25
Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n’omukono gwe gumenyese,” bw’ayogera Mukama Katonda.
השכירהו כי על יהוה הגדיל וספק מואב בקיאו והיה לשחק גם הוא 26
“Mumutamiize; kubanga ajeemedde Mukama. Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye, era asekererwe.
ואם לוא השחק היה לך ישראל אם בגנבים נמצאה (נמצא) כי מדי דבריך בו תתנודד 27
Isirayiri tewagisekereranga? Baali bamukutte mu bubbi, olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera buli lw’omwogerako?
עזבו ערים ושכנו בסלע ישבי מואב והיו כיונה תקנן בעברי פי פחת 28
Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi, mmwe ababeera mu Mowaabu. Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo ku mumwa gw’empuku.
שמענו גאון מואב גאה מאד גבהו וגאונו וגאותו ורם לבו 29
“Tuwulidde amalala ga Mowaabu amalala ge agayitiridde n’okwemanya, okwewulira kwe era n’okweyisa kwe era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
אני ידעתי נאם יהוה עברתו ולא כן בדיו לא כן עשו 30
Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
על כן על מואב איליל ולמואב כלה אזעק אל אנשי קיר חרש יהגה 31
Noolwekyo nkaabirira Mowaabu, olwa Mowaabu yenna nkaaba, nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
מבכי יעזר אבכה לך הגפן שבמה נטישתיך עברו ים עד ים יעזר נגעו--על קיצך ועל בצירך שדד נפל 32
Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba, ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna. Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja; gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri. Omuzikiriza agudde ku bibala byo ebyengedde era n’emizabbibu.
ונאספה שמחה וגיל מכרמל ומארץ מואב ויין מיקבים השבתי--לא ידרך הידד הידד לא הידד 33
Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro ne ku bibanja bya Mowaabu. Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero; tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu. Newaakubadde nga waliyo okuleekaana, okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
מזעקת חשבון עד אלעלה עד יהץ נתנו קולם--מצער עד חרנים עגלת שלשיה כי גם מי נמרים למשמות יהיו 34
“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi. Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya, kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
והשבתי למואב נאם יהוה מעלה במה ומקטיר לאלהיו 35
Ndiggyawo abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu, ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
על כן לבי למואב כחללים יהמה ולבי אל אנשי קיר חרש כחלילים יהמה על כן יתרת עשה אבדו 36
“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere; gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi. Obugagga bwe baafuna buweddewo.
כי כל ראש קרחה וכל זקן גרעה על כל ידים גדדת ועל מתנים שק 37
Buli mutwe mumwe na buli kirevu kisaliddwako; buli mukono gutemeddwako na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
על כל גגות מואב וברחבתיה כלה מספד כי שברתי את מואב ככלי אין חפץ בו--נאם יהוה 38
Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu ne mu bifo awakuŋŋaanirwa, tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga, kubanga njasizzayasizza Mowaabu ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
איך חתה הילילו איך הפנה ערף מואב בוש והיה מואב לשחק ולמחתה לכל סביביו 39
“Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba! Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu! Mowaabu afuuse kyakusekererwa, ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
כי כה אמר יהוה הנה כנשר ידאה ופרש כנפיו אל מואב 40
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “Laba! Empungu ekka, ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
נלכדה הקריות והמצדות נתפשה והיה לב גבורי מואב ביום ההוא כלב אשה מצרה 41
Ebibuga birikwatibwa n’ebigo biwambibwe. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
ונשמד מואב מעם כי על יהוה הגדיל 42
Mowaabu alizikirizibwa, kubanga yajeemera Mukama.
פחד ופחת ופח--עליך יושב מואב נאם יהוה 43
Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu ba Mowaabu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
הניס (הנס) מפני הפחד יפל אל הפחת והעלה מן הפחת ילכד בפח כי אביא אליה אל מואב שנת פקדתם נאם יהוה 44
“Buli alidduka entiisa aligwa mu bunnya, n’oyo aliba avudde mu bunnya alikwatibwa omutego; kubanga ndireeta ku Mowaabu omwaka gw’okubonaabona kwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
בצל חשבון עמדו מכח נסים כי אש יצא מחשבון ולהבה מבין סיחון ותאכל פאת מואב וקדקד בני שאון 45
“Mu kisiikirize kya Kesuboni, abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni, era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu, n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
אוי לך מואב אבד עם כמוש כי לקחו בניך בשבי ובנתיך בשביה 46
Zikusanze ggwe, Mowaabu. Abantu b’e Kemosi bazikiridde, batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse ne bawala bammwe mu busibe.
ושבתי שבות מואב באחרית הימים נאם יהוה עד הנה משפט מואב 47
“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu mu nnaku ezijja,” bw’ayogera Mukama Katonda. Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

< ירמיה 48 >