< ירמיה 46 >

אשר היה דבר יהוה אל ירמיהו הנביא על הגוים 1
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:
למצרים על חיל פרעה נכו מלך מצרים אשר היה על נהר פרת בכרכמש--אשר הכה נבוכדראצר מלך בבל בשנת הרביעית ליהויקים בן יאשיהו מלך יהודה 2
Ebikwata ku Misiri: Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.
ערכו מגן וצנה וגשו למלחמה 3
“Mutegeke engabo zammwe, ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
אסרו הסוסים ועלו הפרשים והתיצבו בכובעים מרקו הרמחים לבשו הסרינת 4
Mutegeke embalaasi muzeebagale! Muyimirire mu bifo byammwe n’esseppeewo zammwe! Muzigule amafumu, mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
מדוע ראיתי המה חתים נסגים אחור וגבוריהם יכתו ומנוס נסו ולא הפנו--מגור מסביב נאם יהוה 5
Kiki kye ndaba? Batidde, badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa. Badduka mu bwangu awatali kutunula mabega, era waliwo okufa ku buli luuyi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
אל ינוס הקל ואל ימלט הגבור צפונה על יד נהר פרת כשלו ונפלו 6
“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya. Beesittala ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.
מי זה כיאר יעלה כנהרות יתגעשו מימיו 7
“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira, ng’emigga egy’amazzi agabimba?
מצרים כיאר יעלה וכנהרות יתגעשו מים ויאמר אעלה אכסה ארץ אבידה עיר וישבי בה 8
Misiri eyimuka nga Kiyira, ng’emigga egy’amazzi agabimba. Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna. Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
עלו הסוסים והתהללו הרכב ויצאו הגבורים--כוש ופוט תפשי מגן ולודים תפשי דרכי קשת 9
Mulumbe, mmwe embalaasi! Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi! Mukumbe mmwe abalwanyi, abasajja b’e Kuusi ne Puuti abeettika engabo, abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
והיום ההוא לאדני יהוה צבאות יום נקמה להנקם מצריו ואכלה חרב ושבעה ורותה מדמם כי זבח לאדני יהוה צבאות בארץ צפון--אל נהר פרת 10
Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango. Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa, okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi. Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
עלי גלעד וקחי צרי בתולת בת מצרים לשוא הרביתי (הרבית) רפאות תעלה אין לך 11
“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba, ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri. Naye mwongerera bwereere obujjanjabi; temujja kuwonyezebwa.
שמעו גוים קלונך וצוחתך מלאה הארץ כי גבור בגבור כשלו יחדיו נפלו שניהם 12
Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe; emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi. Omulwanyi omu alitomera omulala bombi ne bagwa.”
הדבר אשר דבר יהוה אל ירמיהו הנביא--לבוא נבוכדראצר מלך בבל להכות את ארץ מצרים 13
Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:
הגידו במצרים והשמיעו במגדול והשמיעו בנף ובתחפנחס אמרו התיצב והכן לך--כי אכלה חרב סביביך 14
“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli; kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
מדוע נסחף אביריך לא עמד כי יהוה הדפו 15
Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi? Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
הרבה כושל גם נפל איש אל רעהו ויאמרו קומה ונשבה אל עמנו ואל ארץ מולדתנו מפני חרב היונה 16
Balyesittala emirundi egiwera; baligwiragana. Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo eri abantu baffe era n’ensi zaffe, tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
קראו שם פרעה מלך מצרים שאון העביר המועד 17
Eyo gye baliwowogganira nti, ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi afiiriddwa omukisa gwe.’
חי אני נאם המלך--יהוה צבאות שמו כי כתבור בהרים וככרמל בים יבוא 18
“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, “Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi, nga Kulumeeri ku nnyanja.
כלי גולה עשי לך יושבת בת מצרים כי נף לשמה תהיה ונצתה מאין יושב 19
Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke, mmwe abali mu Misiri kubanga Noofu kirifuuka matongo, ekiryaawo omutali bantu.
עגלה יפה פיה מצרים קרץ מצפון בא בא 20
“Misiri nte nduusi nnungi nnyo, naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
גם שכריה בקרבה כעגלי מרבק כי גם המה הפנו נסו יחדיו לא עמדו כי יום אידם בא עליהם עת פקדתם 21
N’abajaasi be abapangise bagezze ng’ennyana. Nabo bajja kukyuka badduke, tebaasobole kuyimirirawo, kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira, ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
קולה כנחש ילך כי בחיל ילכו--ובקרדמות באו לה כחטבי עצים 22
Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka, omulabe alimulumba mu maanyi, amujjire n’embazzi, ng’abatemi b’emiti.
כרתו יערה נאם יהוה כי לא יחקר כי רבו מארבה ואין להם מספר 23
Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda, “newaakubadde nga kikutte nnyo. Bangi n’okusinga enzige, tebasobola kubalika.
הבישה בת מצרים נתנה ביד עם צפון 24
Muwala wa Misiri aliswazibwa, aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”
אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הנני פוקד אל אמון מנא ועל פרעה ועל מצרים ועל אלהיה ועל מלכיה ועל פרעה--ועל הבטחים בו 25
Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo.
ונתתים ביד מבקשי נפשם וביד נבוכדראצר מלך בבל וביד עבדיו ואחרי כן תשכן כימי קדם נאם יהוה 26
Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
ואתה אל תירא עבדי יעקב ואל תחת ישראל--כי הנני מושעך מרחוק ואת זרעך מארץ שבים ושב יעקוב ושקט ושאנן ואין מחריד 27
“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri. Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala, n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo. Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera, era tewali alimutiisa.
אתה אל תירא עבדי יעקב נאם יהוה--כי אתך אני כי אעשה כלה בכל הגוים אשר הדחתיך שמה ואתך לא אעשה כלה ויסרתיך למשפט ונקה לא אנקך 28
Totya, ggwe Yakobo omuddu wange, kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama. “Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna gye nabasaasaanyiza, naye mmwe siribazikiririza ddala. Ndibabonereza naye mu bwenkanya; siribaleka nga temubonerezebbwa.”

< ירמיה 46 >