< ירמיה 21 >
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה--בשלח אליו המלך צדקיהו את פשחור בן מלכיה ואת צפניה בן מעשיה הכהן לאמר | 1 |
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti,
דרש נא בעדנו את יהוה כי נבוכדראצר מלך בבל נלחם עלינו אולי יעשה יהוה אותנו ככל נפלאתיו ויעלה מעלינו | 2 |
“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”
ויאמר ירמיהו אליהם כה תאמרן אל צדקיהו | 3 |
Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti,
כה אמר יהוה אלהי ישראל הנני מסב את כלי המלחמה אשר בידכם אשר אתם נלחמים בם את מלך בבל ואת הכשדים הצרים עליכם מחוץ לחומה ואספתי אותם אל תוך העיר הזאת | 4 |
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino.
ונלחמתי אני אתכם ביד נטויה ובזרוע חזקה ובאף ובחמה ובקצף גדול | 5 |
Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi.
והכיתי את יושבי העיר הזאת ואת האדם ואת הבהמה בדבר גדול ימתו | 6 |
Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino.
ואחרי כן נאם יהוה אתן את צדקיהו מלך יהודה ואת עבדיו ואת העם ואת הנשארים בעיר הזאת מן הדבר מן החרב ומן הרעב ביד נבוכדראצר מלך בבל וביד איביהם וביד מבקשי נפשם והכם לפי חרב--לא יחוס עליהם ולא יחמל ולא ירחם | 7 |
Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
ואל העם הזה תאמר כה אמר יהוה הנני נתן לפניכם את דרך החיים ואת דרך המות | 8 |
“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa.
הישב בעיר הזאת ימות בחרב וברעב ובדבר והיוצא ונפל על הכשדים הצרים עליכם יחיה (וחיה) והיתה לו נפשו לשלל | 9 |
Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.
כי שמתי פני בעיר הזאת לרעה ולא לטובה--נאם יהוה ביד מלך בבל תנתן ושרפה באש | 10 |
Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
ולבית מלך יהודה שמעו דבר יהוה | 11 |
“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama;
בית דוד כה אמר יהוה דינו לבקר משפט והצילו גזול מיד עושק פן תצא כאש חמתי ובערה ואין מכבה מפני רע מעלליהם (מעלליכם) | 12 |
ggwe ennyumba ya Dawudi, “‘kino Mukama ky’agamba: Musale emisango mu bwenkanya, mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza, obusungu bwange buleme kuvaayo bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze, nga tewakyali n’omu abuziyiza.
הנני אליך ישבת העמק צור המישר--נאם יהוה האמרים מי יחת עלינו ומי יבוא במעונותינו | 13 |
Laba nkugguddeko olutalo, ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu, ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama, mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba? Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
ופקדתי עליכם כפרי מעלליכם נאם יהוה והצתי אש ביערה ואכלה כל סביביה | 14 |
Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri, era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe, gwokye byonna ebikyetoolodde,’” bw’ayogera Mukama.