< ירמיה 2 >

ויהי דבר יהוה אלי לאמר 1
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti,
הלך וקראת באזני ירושלם לאמר כה אמר יהוה זכרתי לך חסד נעוריך אהבת כלולתיך--לכתך אחרי במדבר בארץ לא זרועה 2
“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto, engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa, wangoberera mu ddungu mu nsi etali nnime.
קדש ישראל ליהוה ראשית תבואתה כל אכליו יאשמו רעה תבא אליהם נאם יהוה 3
Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama, ebibala ebibereberye ebyamakungula ge; bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango, akabi nga kabatuukako,’” bw’ayogera Mukama Katonda.
שמעו דבר יהוה בית יעקב וכל משפחות בית ישראל 4
Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo, era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
כה אמר יהוה מה מצאו אבותיכם בי עול--כי רחקו מעלי וילכו אחרי ההבל ויהבלו 5
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako ne bagenda ewala ennyo bwe batyo? Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
ולא אמרו--איה יהוה המעלה אתנו מארץ מצרים המוליך אתנו במדבר בארץ ערבה ושוחה בארץ ציה וצלמות--בארץ לא עבר בה איש ולא ישב אדם שם 6
Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa, mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
ואביא אתכם אל ארץ הכרמל לאכל פריה וטובה ותבאו ותטמאו את ארצי ונחלתי שמתם לתועבה 7
Ne mbaleeta mu nsi engimu, mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi. Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange, ne mufuula omugabo gwange ekivume.
הכהנים לא אמרו איה יהוה ותפשי התורה לא ידעוני והרעים פשעו בי והנבאים נבאו בבעל ואחרי לא יועלו הלכו 8
Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?” Abo abakola ku mateeka tebammanya. Abakulembeze ne banjeemera. Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
לכן עד אריב אתכם--נאם יהוה ואת בני בניכם אריב 9
“Kyenva nnyongera okubalumiriza,” bw’ayogera Mukama, “Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
כי עברו איי כתיים וראו וקדר שלחו והתבוננו מאד וראו הן היתה כזאת 10
Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; era mutume e Kedali, mwetegereze. Mujja kulaba nga tekibangawo.
ההימיר גוי אלהים והמה לא אלהים ועמי המיר כבודו בלוא יועיל 11
Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo, wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe n’ebitagasa.
שמו שמים על זאת ושערו חרבו מאד נאם יהוה 12
Wewuunye ggwe eggulu, era okankane n’entiisa ey’amaanyi,” bw’ayogera Mukama.
כי שתים רעות עשה עמי אתי עזבו מקור מים חיים לחצב להם בארות--בארת נשברים אשר לא יכלו המים 13
“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri, banvuddeko nze ensulo ey’amazzi amalamu ne beesimira ettanka ez’omu ttaka, ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”
העבד ישראל--אם יליד בית הוא מדוע היה לבז 14
“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale? Kale lwaki afuuse omuyiggo?
עליו ישאגו כפרים נתנו קולם וישיתו ארצו לשמה עריו נצתה (נצתו) מבלי ישב 15
Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma, abalabe bawulugumye nnyo. Ensi ye efuuse matongo, ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
גם בני נף ותחפנס (ותחפנחס) ירעוך קדקד 16
Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
הלוא זאת תעשה לך עזבך את יהוה אלהיך בעת מולכך בדרך 17
Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo, eyakukulemberanga akulage ekkubo?
ועתה מה לך לדרך מצרים לשתות מי שחור ומה לך לדרך אשור לשתות מי נהר 18
Kaakano olowooza onooganyulwamu ki okugenda okukolagana ne Misiri? Olowooza kiki ky’onoganyulwa bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
תיסרך רעתך ומשבותיך תוכחך ודעי וראי כי רע ומר עזבך את יהוה אלהיך ולא פחדתי אליך נאם אדני יהוה צבאות 19
Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo, n’oba nga tokyantya,” bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
כי מעולם שברתי עלך נתקתי מוסרותיך ותאמרי לא אעבוד (אעבור) כי על כל גבעה גבהה ותחת כל עץ רענן את צעה זנה 20
Mukama ow’eggye agamba nti, “Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange, n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’ Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde wakuba obwamalaaya ng’ovuunamira bakatonda abalala.
ואנכי נטעתיך שורק כלה זרע אמת ואיך נהפכת לי סורי הגפן נכריה 21
Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi, ensigo eteriimu kikyamu n’akatono, naye ate lwaki oyonoonese n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
כי אם תכבסי בנתר ותרבי לך ברית--נכתם עונך לפני נאם אדני יהוה 22
Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,” bw’ayogera Mukama Katonda.
איך תאמרי לא נטמאתי אחרי הבעלים לא הלכתי--ראי דרכך בגיא דעי מה עשית בכרה קלה משרכת דרכיה 23
Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga, sigobereranga ba Baali?” Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu; tegeera kye wakola. Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro ngeraga eno n’eri,
פרה למד מדבר באות נפשו (נפשה) שאפה רוח--תאנתה מי ישיבנה כל מבקשיה לא ייעפו בחדשה ימצאונה 24
ng’endogoyi ey’omu nsiko eddukira mu ddungu mw’emanyidde, ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo, mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza? Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya; mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
מנעי רגלך מיחף וגורנך (וגרונך) מצמאה ותאמרי נואש--לוא כי אהבתי זרים ואחריהם אלך 25
Tokooya bigere byo, era tokaza mimiro gyo. Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere, sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala, nteekwa okubanoonya.”
כבשת גנב כי ימצא כן הבישו בית ישראל המה מלכיהם שריהם וכהניהם ונביאיהם 26
Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa, n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo, bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo, era ne bannabbi baayo,
אמרים לעץ אבי אתה ולאבן את ילדתני (ילדתנו) כי פנו אלי ערף ולא פנים ובעת רעתם יאמרו קומה והושיענו 27
nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
ואיה אלהיך אשר עשית לך--יקומו אם יושיעוך בעת רעתך כי מספר עריך היו אלהיך יהודה 28
Kale bakatonda be weekolera baluwa? Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana. Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
למה תריבו אלי כלכם פשעתם בי נאם יהוה 29
“Lwaki munneemulugunyiza? Mwenna mwanneeddiimira,” bw’ayogera Mukama.
לשוא הכיתי את בניכם מוסר לא לקחו אכלה חרבכם נביאיכם כאריה משחית 30
Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere, tebakkiriza kugololwa. Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe ng’empologoma bw’etta.
הדור אתם ראו דבר יהוה המדבר הייתי לישראל אם ארץ מאפליה מדוע אמרו עמי רדנו--לוא נבוא עוד אליך 31
Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda. Mbadde nga ddungu gye muli ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi? Kale lwaki abantu bange bagamba nti, “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
התשכח בתולה עדיה כלה קשריה ועמי שכחוני ימים אין מספר 32
Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo, oba omugole okwerabira ekyambalo kye? Naye ng’ate abantu bange Bannerabidde!
מה תיטבי דרכך לבקש אהבה לכן גם את הרעות למדתי (למדת) את דרכיך 33
Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala! N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
גם בכנפיך נמצאו דם נפשות אביונים נקיים לא במחתרת מצאתים כי על כל אלה 34
Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu n’abatalina musango, awatali kugamba nti bakwatibwa nga babba. Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
ותאמרי כי נקיתי אך שב אפו ממני הנני נשפט אותך על אמרך לא חטאתי 35
ogamba nti, “Sirina musango, ddala takyanninako busungu!” Laba, ŋŋenda kukusalira omusango olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
מה תזלי מאד לשנות את דרכך גם ממצרים תבשי כאשר בשת מאשור 36
Lwaki ogenda ng’okyusakyusa amakubo go! Misiri ejja kukuswaza nga Bwasuli bwe yakuswaza.
גם מאת זה תצאי וידיך על ראשך כי מאס יהוה במבטחיך ולא תצליחי להם 37
Era n’eyo olivaayo ng’emikono ogyetisse ku mutwe, kubanga Mukama agaanye abo be weesiga; tagenda kukuyamba.

< ירמיה 2 >