< ירמיה 19 >
כה אמר יהוה הלך וקנית בקבק יוצר חרש ומזקני העם ומזקני הכהנים | 1 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona,
ויצאת אל גיא בן הנם אשר פתח שער החרסות (החרסית) וקראת שם את הדברים אשר אדבר אליך | 2 |
ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza.
ואמרת שמעו דבר יהוה מלכי יהודה וישבי ירושלם כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הנני מביא רעה על המקום הזה אשר כל שמעה תצלנה אזניו | 3 |
Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu.
יען אשר עזבני וינכרו את המקום הזה ויקטרו בו לאלהים אחרים אשר לא ידעום המה ואבותיהם ומלכי יהודה ומלאו את המקום הזה דם נקים | 4 |
Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango.
ובנו את במות הבעל לשרף את בניהם באש--עלות לבעל אשר לא צויתי ולא דברתי ולא עלתה על לבי | 5 |
Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako.
לכן הנה ימים באים נאם יהוה ולא יקרא למקום הזה עוד התפת וגיא בן הנם--כי אם גיא ההרגה | 6 |
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
ובקתי את עצת יהודה וירושלם במקום הזה והפלתים בחרב לפני איביהם וביד מבקשי נפשם ונתתי את נבלתם למאכל לעוף השמים ולבהמת הארץ | 7 |
“‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.
ושמתי את העיר הזאת לשמה ולשרקה כל עבר עליה ישם וישרק על כל מכתה | 8 |
Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna.
והאכלתים את בשר בניהם ואת בשר בנתיהם ואיש בשר רעהו יאכלו במצור ובמצוק אשר יציקו להם איביהם ומבקשי נפשם | 9 |
Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
ושברת הבקבק--לעיני האנשים ההלכים אותך | 10 |
“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba,
ואמרת אליהם כה אמר יהוה צבאות ככה אשבר את העם הזה ואת העיר הזאת כאשר ישבר את כלי היוצר אשר לא יוכל להרפה עוד ובתפת יקברו מאין מקום לקבור | 11 |
obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.
כן אעשה למקום הזה נאם יהוה--וליושביו ולתת את העיר הזאת כתפת | 12 |
Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi.
והיו בתי ירושלם ובתי מלכי יהודה כמקום התפת הטמאים--לכל הבתים אשר קטרו על גגתיהם לכל צבא השמים והסך נסכים לאלהים אחרים | 13 |
Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’”
ויבא ירמיהו מהתפת אשר שלחו יהוה שם להנבא ויעמד בחצר בית יהוה ויאמר אל כל העם | 14 |
Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti,
כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הנני מבי אל העיר הזאת ועל כל עריה את כל הרעה אשר דברתי עליה כי הקשו את ערפם לבלתי שמוע את דברי | 15 |
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’”