< ירמיה 15 >

ויאמר יהוה אלי אם יעמד משה ושמואל לפני אין נפשי אל העם הזה שלח מעל פני ויצאו 1
Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.
והיה כי יאמרו אליך אנה נצא ואמרת אליהם כה אמר יהוה אשר למות למות ואשר לחרב לחרב ואשר לרעב לרעב ואשר לשבי לשבי 2
Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’ “Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa, n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala, n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
ופקדתי עליהם ארבע משפחות נאם יהוה את החרב להרג ואת הכלבים לסחב ואת עוף השמים ואת בהמת הארץ לאכל ולהשחית 3
“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.
ונתתים לזועה (לזעוה) לכל ממלכות הארץ--בגלל מנשה בן יחזקיהו מלך יהודה על אשר עשה בירושלם 4
Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
כי מי יחמל עליך ירושלם ומי ינוד לך ומי יסור לשאל לשלם לך 5
“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
את נטשת אתי נאם יהוה אחור תלכי ואט את ידי עליך ואשחיתך נלאיתי הנחם 6
Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama. “Temutya kudda nnyuma. Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange ne mbazikiriza. Sikyasobola kukukwatirwa kisa.
ואזרם במזרה בשערי הארץ שכלתי אבדתי את עמי מדרכיהם לוא שבו 7
Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi. Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
עצמו לי אלמנותו מחול ימים הבאתי להם על אם בחור שדד בצהרים הפלתי עליה פתאם עיר ובהלות 8
Bannamwandu beeyongedde obungi okusinga n’omusenyu gw’ennyanja. Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza amalewo ababazaalira abalenzi abato. Mbakubiddewo obubalagaze n’entiisa.
אמללה ילדת השבעה נפחה נפשה באה (בא) שמשה בעד יומם--בושה וחפרה ושאריתם לחרב אתן לפני איביהם--נאם יהוה 9
Eyazaala omusanvu ayongobedde, awejjawejja. Enjuba ye egudde nga bukyali misana, amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde. N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala, mu maaso ga balabe baabwe,” bwayogera Mukama.
אוי לי אמי--כי ילדתני איש ריב ואיש מדון לכל הארץ לא נשיתי ולא נשו בי כלה מקללוני 10
Zinsanze, mmange lwaki wanzaala omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya? Siwolanga wadde okweyazika, kyokka buli muntu ankolimira.
אמר יהוה אם לא שרותך (שריתיך) לטוב אם לוא הפגעתי בך בעת רעה ובעת צרה--את האיב 11
Mukama agamba nti, “Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi, ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira, mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
הירע ברזל ברזל מצפון ונחשת 12
“Omusajja ayinza okumenya ekikomo oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
חילך ואוצרותיך לבז אתן לא במחיר ובכל חטאותיך ובכל גבוליך 13
“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olw’ebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
והעברתי את איביך בארץ לא ידעת כי אש קדחה באפי עליכם תוקד 14
Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe mu ggwanga lye mutamanyi, kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro ogunaabookya gubamalewo.”
אתה ידעת יהוה זכרני ופקדני והנקם לי מרדפי--אל לארך אפך תקחני דע שאתי עליך חרפה 15
Ayi Mukama ggwe omanyi byonna. Nzijukira ondabirire. Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya. Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala. Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
נמצאו דבריך ואכלם ויהי דבריך (דברך) לי לששון ולשמחת לבבי כי נקרא שמך עלי יהוה אלהי צבאות 16
Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
לא ישבתי בסוד משחקים ואעלז מפני ידך בדד ישבתי כי זעם מלאתני 17
Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu era sibeerangako mu biduula nabo. Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo, era wandeetera okwekyawa.
למה היה כאבי נצח ומכתי אנושה מאנה הרפא--היו תהיה לי כמו אכזב מים לא נאמנו 18
Lwaki okulumwa kwange tekukoma era n’ekiwundu kyange ne kitawona? Onomberera ng’akagga akalimbalimba ng’ensulo ekalira?
לכן כה אמר יהוה אם תשוב ואשיבך לפני תעמד ואם תוציא יקר מזולל כפי תהיה ישבו המה אליך ואתה לא תשוב אליהם 19
Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti, “Bwe muneenenya, ndibakomyawo musobole okumpeereza; bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde, mulibeera boogezi bange. Leka abantu bano be baba bajja gy’oli, so si ggwe okugenda gye bali.
ונתתיך לעם הזה לחומת נחשת בצורה ונלחמו אליך ולא יוכלו לך כי אתך אני להושיעך ולהצילך נאם יהוה 20
Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, n’okukulokola,” bw’ayogera Mukama.
והצלתיך מיד רעים ופדתיך מכף ערצים 21
“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.

< ירמיה 15 >