< ישעה 8 >
ויאמר יהוה אלי קח לך גליון גדול וכתב עליו בחרט אנוש למהר שלל חש בז | 1 |
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.”
ואעידה לי עדים נאמנים--את אוריה הכהן ואת זכריהו בן יברכיהו | 2 |
Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
ואקרב אל הנביאה ותהר ותלד בן ויאמר יהוה אלי קרא שמו מהר שלל חש בז | 3 |
Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi.
כי בטרם ידע הנער קרא אבי ואמי--ישא את חיל דמשק ואת שלל שמרון לפני מלך אשור | 4 |
Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
ויסף יהוה דבר אלי עוד לאמר | 5 |
Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
יען כי מאס העם הזה את מי השלח ההלכים לאט ומשוש את רצין ובן רמליהו | 6 |
“Kubanga abantu bano bagaanye amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola, ne bajaguza olwa Lezini ne mutabani wa Lemaliya,
ולכן הנה אדני מעלה עליהם את מי הנהר העצומים והרבים--את מלך אשור ואת כל כבודו ועלה על כל אפיקיו והלך על כל גדותיו | 7 |
kale nno Mukama anaatera okubaleetako amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu, ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna; galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
וחלף ביהודה שטף ועבר עד צואר יגיע והיה מטות כנפיו מלא רחב ארצך עמנו אל | 8 |
Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda, galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago, n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo, ggwe Emmanweri.”
רעו עמים וחתו והאזינו כל מרחקי ארץ התאזרו וחתו התאזרו וחתו | 9 |
Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire. Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala; mwenyweze naye mwekaabire; mwenyweze naye mwekaabire.
עצו עצה ותפר דברו דבר ולא יקום כי עמנו אל | 10 |
Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka, mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
כי כה אמר יהוה אלי כחזקת היד ויסרני מלכת בדרך העם הזה לאמר | 11 |
Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
לא תאמרון קשר לכל אשר יאמר העם הזה קשר ואת מוראו לא תיראו ולא תעריצו | 12 |
“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe, temubiyita nkwe, era temutya bye batya, wadde okutekemuka omutima.
את יהוה צבאות אתו תקדישו והוא מוראכם והוא מערצכם | 13 |
Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera.
והיה למקדש ולאבן נגף ולצור מכשול לשני בתי ישראל לפח ולמוקש--ליושב ירושלם | 14 |
Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
וכשלו בם רבים ונפלו ונשברו ונוקשו ונלכדו | 15 |
Era bangi abaliryesittalako, bagwe, bamenyeke, bategebwe bakwatibwe.”
צור תעודה חתום תורה בלמדי | 16 |
Nyweza obujulirwa okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
וחכיתי ליהוה המסתיר פניו מבית יעקב וקויתי לו | 17 |
Nange nnaalindirira Mukama Katonda akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo, mmunoonye n’essuubi.
הנה אנכי והילדים אשר נתן לי יהוה לאתות ולמופתים בישראל--מעם יהוה צבאות השכן בהר ציון | 18 |
Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
וכי יאמרו אליכם דרשו אל האבות ואל הידענים המצפצפים והמהגים הלוא עם אל אלהיו ידרש בעד החיים אל המתים | 19 |
Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
לתורה ולתעודה אם לא יאמרו כדבר הזה אשר אין לו שחר | 20 |
Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
ועבר בה נקשה ורעב והיה כי ירעב והתקצף וקלל במלכו ובאלהיו--ופנה למעלה | 21 |
Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
ואל ארץ יביט והנה צרה וחשכה מעוף צוקה ואפלה מנדח | 22 |
Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.