< ישעה 63 >
מי זה בא מאדום חמוץ בגדים מבצרה זה הדור בלבושו צעה ברב כחו אני מדבר בצדקה רב להושיע | 1 |
Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula anekaanekanye mu ngoye emyufu. Ani ono ali mu ngoye za bakabaka akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye? “Ye nze alangirira obutuukirivu, ow’amaanyi okulokola.”
מדוע אדם ללבושך ובגדיך כדרך בגת | 2 |
Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
פורה דרכתי לבדי ומעמים אין איש אתי ואדרכם באפי וארמסם בחמתי ויז נצחם על בגדי וכל מלבושי אגאלתי | 3 |
“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, tewali n’omu yajja kunnyambako. Nabalinnyiririra mu busungu era omusaayi gwabwe ne gusammukira ku ngoye zange, era guyiise ku byambalo byange.
כי יום נקם בלבי ושנת גאולי באה | 4 |
Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse, olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
ואביט ואין עזר ואשתומם ואין סומך ותושע לי זרעי וחמתי היא סמכתני | 5 |
Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba, newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako. Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, era obusungu bwange ne bunnyweza.
ואבוס עמים באפי ואשכרם בחמתי ואוריד לארץ נצחם | 6 |
Mu busungu bwange nalinnyirira abantu, mu kiruyi kyange ne mbatamiiza, omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
חסדי יהוה אזכיר תהלת יהוה כעל כל אשר גמלנו יהוה ורב טוב לבית ישראל אשר גמלם כרחמיו וכרב חסדיו | 7 |
Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde; weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
ויאמר אך עמי המה בנים לא ישקרו ויהי להם למושיע | 8 |
Yagamba nti, “Ddala bantu bange, abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
בכל צרתם לא (לו) צר ומלאך פניו הושיעם--באהבתו ובחמלתו הוא גאלם וינטלם וינשאם כל ימי עולם | 9 |
Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya. Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula; yabayimusa n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
והמה מרו ועצבו את רוח קדשו ויהפך להם לאויב הוא נלחם בם | 10 |
Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe era ye kennyini n’abalwanyisa.
ויזכר ימי עולם משה עמו איה המעלם מים את רעי צאנו--איה השם בקרבו את רוח קדשו | 11 |
Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda, ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be; aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye. Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
מוליך לימין משה זרוע תפארתו בוקע מים מפניהם לעשות לו שם עולם | 12 |
eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
מוליכם בתהמות כסוס במדבר לא יכשלו | 13 |
Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba? Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
כבהמה בבקעה תרד רוח יהוה תניחנו--כן נהגת עמך לעשות לך שם תפארת | 14 |
Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde, Omwoyo wa Mukama yabawummuza. Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo okwekolera erinnya ery’ettendo.
הבט משמים וראה מזבל קדשך ותפארתך איה קנאתך וגבורתך המון מעיך ורחמיך אלי התאפקו | 15 |
Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe, ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu. Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa? Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
כי אתה אבינו--כי אברהם לא ידענו וישראל לא יכירנו אתה יהוה אבינו גאלנו מעולם שמך | 16 |
Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda n’edda lye linnya lyo.
למה תתענו יהוה מדרכיך תקשיח לבנו מיראתך שוב למען עבדיך שבטי נחלתך | 17 |
Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo amawanga g’omugabo gwo.
למצער ירשו עם קדשך צרינו בוססו מקדשך | 18 |
Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
היינו מעולם לא משלת בם--לא נקרא שמך עליהם לוא קרעת שמים ירדת מפניך הרים נזלו | 19 |
Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda; naye bo tobafuganga, tebayitibwanga linnya lyo.