< ישעה 61 >
רוח אדני יהוה עלי--יען משח יהוה אתי לבשר ענוים שלחני לחבש לנשברי לב לקרא לשבוים דרור ולאסורים פקח קוח | 1 |
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
לקרא שנת רצון ליהוה ויום נקם לאלהינו לנחם כל אבלים | 2 |
Okulangirira omwaka gwa Mukama ogw’okulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
לשום לאבלי ציון לתת להם פאר תחת אפר שמן ששון תחת אבל--מעטה תהלה תחת רוח כהה וקרא להם אילי הצדק מטע יהוה להתפאר | 3 |
Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.
ובנו חרבות עולם שממות ראשנים יקוממו וחדשו ערי חרב שממות דור ודור | 4 |
Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
ועמדו זרים ורעו צאנכם ובני נכר אכריכם וכרמיכם | 5 |
Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
ואתם כהני יהוה תקראו--משרתי אלהינו יאמר לכם חיל גוים תאכלו ובכבודם תתימרו | 6 |
Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
תחת בשתכם משנה וכלמה ירנו חלקם לכן בארצם משנה יירשו שמחת עולם תהיה להם | 7 |
Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
כי אני יהוה אהב משפט שנא גזל בעולה ונתתי פעלתם באמת וברית עולם אכרות להם | 8 |
“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
ונודע בגוים זרעם וצאצאיהם בתוך העמים כל ראיהם יכירום כי הם זרע ברך יהוה | 9 |
N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga n’abaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
שוש אשיש ביהוה תגל נפשי באלהי--כי הלבישני בגדי ישע מעיל צדקה יעטני כחתן יכהן פאר וככלה תעדה כליה | 10 |
Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
כי כארץ תוציא צמחה וכגנה זרועיה תצמיח--כן אדני יהוה יצמיח צדקה ותהלה נגד כל הגוים | 11 |
Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.