< ישעה 52 >
עורי עורי לבשי עזך ציון לבשי בגדי תפארתך ירושלם עיר הקדש--כי לא יוסיף יבא בך עוד ערל וטמא | 1 |
Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
התנערי מעפר קומי שבי ירושלם התפתחו (התפתחי) מוסרי צוארך שביה בת ציון | 2 |
Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi. Weesumulule enjegere mu bulago bwo, ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
כי כה אמר יהוה חנם נמכרתם ולא בכסף תגאלו | 3 |
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
כי כה אמר אדני יהוה מצרים ירד עמי בראשנה לגור שם ואשור באפס עשקו | 4 |
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
ועתה מה לי פה נאם יהוה כי לקח עמי חנם משלו יהילילו נאם יהוה ותמיד כל היום שמי מנאץ | 5 |
“Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna.
לכן ידע עמי שמי לכן ביום ההוא כי אני הוא המדבר הנני | 6 |
Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.”
מה נאוו על ההרים רגלי מבשר משמיע שלום מבשר טוב--משמיע ישועה אמר לציון מלך אלהיך | 7 |
Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
קול צפיך נשאו קול יחדו ירננו כי עין בעין יראו בשוב יהוה ציון | 8 |
Wuliriza! Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
פצחו רננו יחדו חרבות ירושלם כי נחם יהוה עמו גאל ירושלם | 9 |
Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
חשף יהוה את זרוע קדשו לעיני כל הגוים וראו כל אפסי ארץ את ישועת אלהינו | 10 |
Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero z’ensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
סורו סורו צאו משם טמא אל תגעו צאו מתוכה--הברו נשאי כלי יהוה | 11 |
Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
כי לא בחפזון תצאו ובמנוסה לא תלכון כי הלך לפניכם יהוה ומאספכם אלהי ישראל | 12 |
Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
הנה ישכיל עבדי ירום ונשא וגבה מאד | 13 |
Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
כאשר שממו עליך רבים כן משחת מאיש מראהו ותארו מבני אדם | 14 |
Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
כן יזה גוים רבים עליו יקפצו מלכים פיהם כי אשר לא ספר להם ראו ואשר לא שמעו התבוננו | 15 |
bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.