< ישעה 42 >
הן עבדי אתמך בו בחירי רצתה נפשי נתתי רוחי עליו משפט לגוים יוציא | 1 |
Laba omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.
לא יצעק ולא ישא ולא ישמיע בחוץ קולו | 2 |
Talireekaana wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
קנה רצוץ לא ישבור ופשתה כהה לא יכבנה לאמת יוציא משפט | 3 |
Talimenya lumuli lubetentefu oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo; mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
לא יכהה ולא ירוץ עד ישים בארץ משפט ולתורתו איים ייחלו | 4 |
Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi. N’ebizinga eby’ewala biririndirira amateeka ge.
כה אמר האל יהוה בורא השמים ונוטיהם רקע הארץ וצאצאיה נתן נשמה לעם עליה ורוח להלכים בה | 5 |
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu n’alibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
אני יהוה קראתיך בצדק ואחזק בידך ואצרך ואתנך לברית עם--לאור גוים | 6 |
“Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, era omusana eri bannamawanga.
לפקח עינים עורות להוציא ממסגר אסיר מבית כלא ישבי חשך | 7 |
Okuzibula amaaso g’abazibe, okuta abasibe okuva mu makomera n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
אני יהוה הוא שמי וכבודי לאחר לא אתן ותהלתי לפסילים | 8 |
“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
הראשנות הנה באו וחדשות אני מגיד בטרם תצמחנה אשמיע אתכם | 9 |
Laba, ebyo bye nagamba nti biribaawo bituuse, kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
שירו ליהוה שיר חדש תהלתו מקצה הארץ יורדי הים ומלאו איים וישביהם | 10 |
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi! Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
ישאו מדבר ועריו חצרים תשב קדר ירנו ישבי סלע מראש הרים יצוחו | 11 |
Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo, ebyalo Kedali mw’atuula. Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu. Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
ישימו ליהוה כבוד ותהלתו באיים יגידו | 12 |
Leka Mukama bamuwe ekitiibwa era balangirire ettendo lye mu bizinga.
יהוה כגבור יצא כאיש מלחמות יעיר קנאה יריע אף יצריח--על איביו יתגבר | 13 |
Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi, era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta, n’okuleekaana ng’alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
החשיתי מעולם--אחריש אתאפק כיולדה אפעה אשם ואשאף יחד | 14 |
“Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba, nga nsirise neekuumye. Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala, nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
אחריב הרים וגבעות וכל עשבם אוביש ושמתי נהרות לאיים ואגמים אוביש | 15 |
Ndizikiriza ensozi n’obusozi, egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa. Era ndikaza ebinywa byabwe byonna n’emigga ndigifuula ebizinga.
והולכתי עורים בדרך לא ידעו--בנתיבות לא ידעו אדריכם אשים מחשך לפניהם לאור ומעקשים למישור--אלה הדברים עשיתם ולא עזבתים | 16 |
Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa. Ebyo by’ebintu bye ndikola, sirireka bantu bange.
נסגו אחור יבשו בשת הבטחים בפסל האמרים למסכה אתם אלהינו | 17 |
Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
החרשים שמעו והעורים הביטו לראות | 18 |
“Muwulire mmwe bakiggala, mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
מי עור כי אם עבדי וחרש כמלאכי אשלח מי עור כמשלם ועור כעבד יהוה | 19 |
Ani muzibe okuggyako omuweereza wange, oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma? Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi, oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
ראית (ראות) רבות ולא תשמר פקוח אזנים ולא ישמע | 20 |
Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko, amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
יהוה חפץ למען צדקו יגדיל תורה ויאדיר | 21 |
Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe okukuza amateeka ge n’okugassaamu ekitiibwa.
והוא עם בזוז ושסוי הפח בחורים כלם ובבתי כלאים החבאו היו לבז ואין מציל משסה ואין אמר השב | 22 |
Naye bano, bantu be, ababbibwa ne banyagibwa bonna ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera. Bafuuka munyago nga tewali n’omu abanunula, bafuuliddwa abanyage nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
מי בכם יאזין זאת יקשב וישמע לאחור | 23 |
Ani ku mmwe anaawuliriza kino, oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
מי נתן למשוסה (למשסה) יעקב וישראל לבזזים הלוא יהוה זו חטאנו לו ולא אבו בדרכיו הלוך ולא שמעו בתורתו | 24 |
Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago ne Isirayiri eri abanyazi? Teyali Mukama gwe twayonoona? Ekyo yakikola kubanga tebaagoberera makubo ge. Tebaagondera mateeka ge.
וישפך עליו חמה אפו ועזוז מלחמה ותלהטהו מסביב ולא ידע ותבער בו ולא ישים על לב | 25 |
Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka n’obulumi bw’entalo. Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera. Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.