< ישעה 26 >
ביום ההוא יושר השיר הזה בארץ יהודה עיר עז לנו ישועה ישית חומות וחל | 1 |
Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Tulina ekibuga eky’amaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
פתחו שערים ויבא גוי צדיק שמר אמנים | 2 |
Ggulawo wankaaki, eggwanga ettukuvu liyingire, eggwanga erikuuma okukkiriza.
יצר סמוך תצר שלום שלום כי בך בטוח | 3 |
Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
בטחו ביהוה עדי עד כי ביה יהוה צור עולמים | 4 |
Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
כי השח ישבי מרום קריה נשגבה ישפילנה ישפילה עד ארץ יגיענה עד עפר | 5 |
Mukama lwe lwazi olutaggwaawo, akkakkanya ekibuga eky’amalala, akissa wansi ku ttaka, n’akisuula mu nfuufu.
תרמסנה רגל רגלי עני פעמי דלים | 6 |
Kirinnyirirwa ebigere by’abanyigirizibwa, n’ebisinde by’abaavu.
ארח לצדיק מישרים ישר מעגל צדיק תפלס | 7 |
Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu; Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
אף ארח משפטיך יהוה קוינוך--לשמך ולזכרך תאות נפש | 8 |
Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
נפשי אויתך בלילה אף רוחי בקרבי אשחרך כי כאשר משפטיך לארץ--צדק למדו ישבי תבל | 9 |
Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bw’osalira ensi omusango, abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
יחן רשע בל למד צדק בארץ נכחות יעול ובל יראה גאות יהוה | 10 |
Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
יהוה רמה ידך בל יחזיון יחזו ויבשו קנאת עם אף אש צריך תאכלם | 11 |
Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, naye tebagulaba. Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
יהוה תשפת שלום לנו כי גם כל מעשינו פעלת לנו | 12 |
Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe, n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
יהוה אלהינו בעלונו אדנים זולתך לבד בך נזכיר שמך | 13 |
Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
מתים בל יחיו--רפאים בל יקמו לכן פקדת ותשמידם ותאבד כל זכר למו | 14 |
Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza n’obazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
יספת לגוי יהוה יספת לגוי נכבדת רחקת כל קצוי ארץ | 15 |
Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda ogaziyizza eggwanga. Weefunidde ekitiibwa, era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.
יהוה בצר פקדוך צקון לחש מוסרך למו | 16 |
Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe, bwe wabakangavvula, tebaasobola na kukusaba mu kaama.
כמו הרה תקריב ללדת תחיל תזעק בחבליה--כן היינו מפניך יהוה | 17 |
Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala, bw’alumwa n’akaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
הרינו חלנו כמו ילדנו רוח ישועת בל נעשה ארץ ובל יפלו ישבי תבל | 18 |
Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi.
יחיו מתיך נבלתי יקומון הקיצו ורננו שכני עפר כי טל אורת טלך וארץ רפאים תפיל | 19 |
Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olw’essanyu. Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya, ensi erizaala abafudde.
לך עמי בא בחדריך וסגר דלתיך (דלתך) בעדך חבי כמעט רגע עד יעבור (יעבר) זעם | 20 |
Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe muggalewo enzigi zammwe. Mwekweke okumala akabanga katono, okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
כי הנה יהוה יצא ממקומו לפקד עון ישב הארץ עליו וגלתה הארץ את דמיה ולא תכסה עוד על הרוגיה | 21 |
Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.