< ישעה 17 >

משא דמשק הנה דמשק מוסר מעיר והיתה מעי מפלה 1
“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.
עזבות ערי ערער לעדרים תהיינה ורבצו ואין מחריד 2
Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.
ונשבת מבצר מאפרים וממלכה מדמשק ושאר ארם ככבוד בני ישראל יהיו נאם יהוה צבאות 3
Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
והיה ביום ההוא ידל כבוד יעקב ומשמן בשרו ירזה 4
“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.
והיה כאסף קציר קמה וזרעו שבלים יקצור והיה כמלקט שבלים בעמק רפאים 5
Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, n’omukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.
ונשאר בו עוללת כנקף זית שנים שלשה גרגרים בראש אמיר ארבעה חמשה בסעפיה פריה--נאם יהוה אלהי ישראל 6
Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
ביום ההוא ישעה האדם על עשהו ועיניו אל קדוש ישראל תראינה 7
Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
ולא ישעה אל המזבחות מעשה ידיו ואשר עשו אצבעתיו לא יראה והאשרים והחמנים 8
So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera, oba empagi za katonda wa Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
ביום ההוא יהיו ערי מעוזו כעזובת החרש והאמיר אשר עזבו מפני בני ישראל והיתה שממה 9
Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
כי שכחת אלהי ישעך וצור מעזך לא זכרת על כן תטעי נטעי נעמנים וזמרת זר תזרענו 10
Weerabidde Katonda Omulokozi wo, so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
ביום נטעך תשגשגי ובבקר זרעך תפריחי נד קציר ביום נחלה וכאב אנוש 11
Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
הוי המון עמים רבים כהמות ימים יהמיון ושאון לאמים כשאון מים כבירים ישאון 12
Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi, bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse! Okuwuluguma kw’abantu, bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
לאמים כשאון מים רבים ישאון וגער בו ונס ממרחק ורדף כמץ הרים לפני רוח וכגלגל לפני סופה 13
Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
לעת ערב והנה בלהה בטרם בקר איננו זה חלק שוסינו וגורל לבזזינו 14
Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.

< ישעה 17 >