< ישעה 11 >

ויצא חטר מגזע ישי ונצר משרשיו יפרה 1
Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese, ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
ונחה עליו רוח יהוה--רוח חכמה ובינה רוח עצה וגבורה רוח דעת ויראת יהוה 2
Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
והריחו ביראת יהוה ולא למראה עיניו ישפוט ולא למשמע אזניו יוכיח 3
Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda. Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba, oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
ושפט בצדק דלים והוכיח במישור לענוי ארץ והכה ארץ בשבט פיו וברוח שפתיו ימית רשע 4
naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
והיה צדק אזור מתניו והאמונה אזור חלציו 5
Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya, n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
וגר זאב עם כבש ונמר עם גדי ירבץ ועגל וכפיר ומריא יחדו ונער קטן נהג בם 6
Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi; era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu; era omwana omuto yalizirabirira.
ופרה ודב תרעינה יחדו ירבצו ילדיהן ואריה כבקר יאכל תבן 7
Ente n’eddubu biririira wamu, abaana baazo banaagalamiranga wamu. Empologoma erirya omuddo ng’ente.
ושעשע יונק על חר פתן ועל מאורת צפעוני גמול ידו הדה 8
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera, n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
לא ירעו ולא ישחיתו בכל הר קדשי כי מלאה הארץ דעה את יהוה כמים לים מכסים 9
Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
והיה ביום ההוא שרש ישי אשר עמד לנס עמים אליו גוים ידרשו והיתה מנחתו כבוד 10
Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
והיה ביום ההוא יוסיף אדני שנית ידו לקנות את שאר עמו--אשר ישאר מאשור וממצרים ומפתרוס ומכוש ומעילם ומשנער ומחמת ומאיי הים 11
Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.
ונשא נס לגוים ואסף נדחי ישראל ונפצות יהודה יקבץ מארבע כנפות הארץ 12
Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri; aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
וסרה קנאת אפרים וצררי יהודה יכרתו אפרים לא יקנא את יהודה ויהודה לא יצר את אפרים 13
Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo, n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
ועפו בכתף פלשתים ימה יחדו יבזו את בני קדם אדום ומואב משלוח ידם ובני עמון משמעתם 14
Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba; era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba. Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n’abaana ba Amoni balibagondera.
והחרים יהוה את לשון ים מצרים והניף ידו על הנהר בעים רוחו והכהו לשבעה נחלים והדריך בנעלים 15
Era Mukama Katonda alikaliza omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri; era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati ne guleetawo omuyaga ogukaza, agwawulemu ebitundu musanvu abantu bye banaasomokanga ku bigere.
והיתה מסלה--לשאר עמו אשר ישאר מאשור כאשר היתה לישראל ביום עלתו מארץ מצרים 16
Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga eryasigala ku Bwasuli nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku lwe baaviirako mu Misiri.

< ישעה 11 >