< הושע 11 >
כי נער ישראל ואהבהו וממצרים קראתי לבני | 1 |
“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri.
קראו להם כן הלכו מפניהם--לבעלים יזבחו ולפסלים יקטרון | 2 |
Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
ואנכי תרגלתי לאפרים קחם על זרועתיו ולא ידעו כי רפאתים | 3 |
Nze nayigiriza Efulayimu okutambula, nga mbakwata ku mukono; naye tebategeera nga nze nabawonya.
בחבלי אדם אמשכם בעבתות אהבה ואהיה להם כמרימי על על לחיהם ואט אליו אוכיל | 4 |
Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu, n’ebisiba eby’okwagala. Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe ne neetoowaza ne mbaliisa.
לא ישוב אל ארץ מצרים ואשור הוא מלכו כי מאנו לשוב | 5 |
“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri, era Obwasuli tebulibafuga kubanga baagaana okwenenya?
וחלה חרב בעריו וכלתה בדיו ואכלה--ממעצותיהם | 6 |
Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe, ne kikomya enteekateeka zaabwe.
ועמי תלואים למשובתי ואל על יקראהו--יחד לא ירומם | 7 |
Abantu bange bamaliridde okunvaako. Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo, taabagulumize.
איך אתנך אפרים אמגנך ישראל--איך אתנך כאדמה אשימך כצבאים נהפך עלי לבי יחד נכמרו נחומי | 8 |
“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri? Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma? Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu? Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
לא אעשה חרון אפי לא אשוב לשחת אפרים כי אל אנכי ולא איש--בקרבך קדוש ולא אבוא בעיר | 9 |
Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula ndi Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu.
אחרי יהוה ילכו כאריה ישאג כי הוא ישאג ויחרדו בנים מים | 10 |
Baligoberera Mukama; era aliwuluguma ng’empologoma. Bw’aliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
יחרדו כצפור ממצרים וכיונה מארץ אשור והושבתים על בתיהם נאם יהוה | 11 |
Balijja nga bakankana ng’ebinyonyi ebiva e Misiri, era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli. Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,” bw’ayogera Mukama.
סבבני בכחש אפרים ובמרמה בית ישראל ויהודה עד רד עם אל ועם קדושים נאמן | 12 |
Efulayimu aneebunguluzza obulimba, n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa, ne Yuda ajeemedde Katonda, ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.