< הושע 10 >
גפן בוקק ישראל פרי ישוה לו כרב לפריו הרבה למזבחות--כטוב לארצו היטיבו מצבות | 1 |
Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
חלק לבם עתה יאשמו הוא יערף מזבחותם ישדד מצבותם | 2 |
Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.
כי עתה יאמרו אין מלך לנו כי לא יראנו את יהוה והמלך מה יעשה לנו | 3 |
Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka kubanga tetwatya Mukama. Naye ne bwe twandibadde ne kabaka, yanditukoleddeyo ki?”
דברו דברים אלות שוא כרת ברית ופרח כראש משפט על תלמי שדי | 4 |
Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
לעגלות בית און יגורו שכן שמרון כי אבל עליו עמו וכמריו עליו יגילו--על כבודו כי גלה ממנו | 5 |
Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
גם אותו לאשור יובל מנחה למלך ירב בשנה אפרים יקח ויבוש ישראל מעצתו | 6 |
Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
נדמה שמרון מלכה כקצף על פני מים | 7 |
Samaliya ne kabaka we balitwalibwa ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
ונשמדו במות און חטאת ישראל--קוץ ודרדר יעלה על מזבחותם ואמרו להרים כסונו ולגבעות נפלו עלינו | 8 |
Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n’obusozi nti, “Mutugweko.”
מימי הגבעה חטאת ישראל שם עמדו לא תשיגם בגבעה מלחמה על בני עלוה | 9 |
Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
באותי ואסרם ואספו עליהם עמים באסרם לשתי עינתם (עונותם) | 10 |
Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza; amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo, ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
ואפרים עגלה מלמדה אהבתי לדוש ואני עברתי על טוב צוארה ארכיב אפרים יחרוש יהודה ישדד לו יעקב | 11 |
Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.
זרעו לכם לצדקה קצרו לפי חסד נירו לכם ניר ועת לדרוש את יהוה עד יבוא וירה צדק לכם | 12 |
Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alidda n’abafukako obutuukirivu.
חרשתם רשע עולתה קצרתם אכלתם פרי כחש--כי בטחת בדרכך ברב גבוריך | 13 |
Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala eby’obulimba. Olw’okwesiga amaanyi go, n’abalwanyi bo abangi,
וקאם שאון בעמך וכל מבצריך יושד כשד שלמן בית ארבאל ביום מלחמה אם על בנים רטשה | 14 |
olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
ככה עשה לכם בית אל מפני רעת רעתכם בשחר נדמה נדמה מלך ישראל | 15 |
Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.