< יחזקאל 39 >
ואתה בן אדם הנבא על גוג ואמרת כה אמר אדני יהוה הנני אליך גוג--נשיא ראש משך ותבל | 1 |
“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali.
ושבבתיך וששאתיך והעליתיך מירכתי צפון והבאותך על הרי ישראל | 2 |
Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri.
והכיתי קשתך מיד שמאולך וחציך מיד ימינך אפיל | 3 |
Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; n’obusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza.
על הרי ישראל תפול אתה וכל אגפיך ועמים אשר אתך לעיט צפור כל כנף וחית השדה נתתיך לאכלה | 4 |
Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo.
על פני השדה תפול כי אני דברתי נאם אדני יהוה | 5 |
Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.
ושלחתי אש במגוג ובישבי האיים לבטח וידעו כי אני יהוה | 6 |
Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lw’ennyanja; balyoke bamanye nga nze Mukama.
ואת שם קדשי אודיע בתוך עמי ישראל ולא אחל את שם קדשי עוד וידעו הגוים כי אני יהוה קדוש בישראל | 7 |
“‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri.
הנה באה ונהיתה נאם אדני יהוה הוא היום אשר דברתי | 8 |
Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.
ויצאו ישבי ערי ישראל ובערו והשיקו בנשק ומגן וצנה בקשת ובחצים ובמקל יד וברמח ובערו בהם אש שבע שנים | 9 |
“‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu.
ולא ישאו עצים מן השדה ולא יחטבו מן היערים--כי בנשק יבערו אש ושללו את שלליהם ובזזו את בזזיהם--נאם אדני יהוה | 10 |
Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera Mukama Katonda.
והיה ביום ההוא אתן לגוג מקום שם קבר בישראל גי העברים קדמת הים וחסמת היא את העברים וקברו שם את גוג ואת כל המונה וקראו גיא המון גוג | 11 |
“‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo. Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi.
וקברום בית ישראל למען טהר את הארץ שבעה חדשים | 12 |
“‘Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi.
וקברו כל עם הארץ והיה להם לשם--יום הכבדי נאם אדני יהוה | 13 |
Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda.
ואנשי תמיד יבדילו עברים בארץ מקברים את העברים את הנותרים על פני הארץ לטהרה--מקצה שבעה חדשים יחקרו | 14 |
Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu. “‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa.
ועברו העברים בארץ וראה עצם אדם ובנה אצלו ציון--עד קברו אתו המקברים אל גיא המון גוג | 15 |
Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi.
וגם שם עיר המונה וטהרו הארץ | 16 |
(Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’
ואתה בן אדם כה אמר אדני יהוה אמר לצפור כל כנף ולכל חית השדה הקבצו ובאו האספו מסביב על זבחי אשר אני זבח לכם זבח גדול על הרי ישראל ואכלתם בשר ושתיתם דם | 17 |
“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi.
בשר גבורים תאכלו ודם נשיאי הארץ תשתו אילים כרים ועתודים פרים מריאי בשן כלם | 18 |
Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani.
ואכלתם חלב לשבעה ושתיתם דם לשכרון מזבחי אשר זבחתי לכם | 19 |
Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera.
ושבעתם על שלחני סוס ורכב גבור וכל איש מלחמה--נאם אדני יהוה | 20 |
Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.
ונתתי את כבודי בגוים וראו כל הגוים את משפטי אשר עשיתי ואת ידי אשר שמתי בהם | 21 |
“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako.
וידעו בית ישראל כי אני יהוה אלהיהם מן היום ההוא והלאה | 22 |
Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.
וידעו הגוים כי בעונם גלו בית ישראל על אשר מעלו בי ואסתר פני מהם ואתנם ביד צריהם ויפלו בחרב כלם | 23 |
N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala.
כטמאתם וכפשעיהם עשיתי אתם ואסתר פני מהם | 24 |
Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.
לכן כה אמר אדני יהוה עתה אשיב את שבית (שבות) יעקב ורחמתי כל בית ישראל וקנאתי לשם קדשי | 25 |
“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu.
ונשו את כלמתם ואת כל מעלם אשר מעלו בי--בשבתם על אדמתם לבטח ואין מחריד | 26 |
Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa.
בשובבי אותם מן העמים וקבצתי אתם מארצות איביהם ונקדשתי בם לעיני הגוים רבים | 27 |
Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi.
וידעו כי אני יהוה אלהיהם בהגלותי אתם אל הגוים וכנסתים על אדמתם ולא אותיר עוד מהם שם | 28 |
Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu.
ולא אסתיר עוד פני מהם אשר שפכתי את רוחי על בית ישראל נאם אדני יהוה | 29 |
Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”