< שמות 6 >

ויאמר יהוה אל משה עתה תראה אשר אעשה לפרעה כי ביד חזקה ישלחם וביד חזקה יגרשם מארצו 1
Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”
וידבר אלהים אל משה ויאמר אליו אני יהוה 2
Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama.
וארא אל אברהם אל יצחק ואל יעקב--באל שדי ושמי יהוה לא נודעתי להם 3
Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama.
וגם הקמתי את בריתי אתם לתת להם את ארץ כנען--את ארץ מגריהם אשר גרו בה 4
Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze.
וגם אני שמעתי את נאקת בני ישראל אשר מצרים מעבדים אתם ואזכר את בריתי 5
Kaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.
לכן אמר לבני ישראל אני יהוה והוצאתי אתכם מתחת סבלת מצרים והצלתי אתכם מעבדתם וגאלתי אתכם בזרוע נטויה ובשפטים גדלים 6
“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.
ולקחתי אתכם לי לעם והייתי לכם לאלהים וידעתם כי אני יהוה אלהיכם המוציא אתכם מתחת סבלות מצרים 7
Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri.
והבאתי אתכם אל הארץ אשר נשאתי את ידי לתת אתה לאברהם ליצחק וליעקב ונתתי אתה לכם מורשה אני יהוה 8
Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’”
וידבר משה כן אל בני ישראל ולא שמעו אל משה מקצר רוח ומעבדה קשה 9
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.
וידבר יהוה אל משה לאמר 10
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
בא דבר אל פרעה מלך מצרים וישלח את בני ישראל מארצו 11
“Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”
וידבר משה לפני יהוה לאמר הן בני ישראל לא שמעו אלי ואיך ישמעני פרעה ואני ערל שפתים 12
Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?”
וידבר יהוה אל משה ואל אהרן ויצום אל בני ישראל ואל פרעה מלך מצרים--להוציא את בני ישראל מארץ מצרים 13
Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.
אלה ראשי בית אבתם בני ראובן בכר ישראל חנוך ופלוא חצרן וכרמי--אלה משפחת ראובן 14
Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe: Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.
ובני שמעון ימואל וימין ואהד ויכין וצחר ושאול בן הכנענית אלה משפחת שמעון 15
Batabani ba Simyoni: Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani). Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.
ואלה שמות בני לוי לתלדתם--גרשון וקהת ומררי ושני חיי לוי שבע ושלשים ומאת שנה 16
Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri: Gerusoni ne Kokasi ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
בני גרשון לבני ושמעי למשפחתם 17
Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe: Libuni ne Simeeyi.
ובני קהת--עמרם ויצהר וחברון ועזיאל ושני חיי קהת שלש ושלשים ומאת שנה 18
Bano be batabani ba Kokasi: Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
ובני מררי מחלי ומושי אלה משפחת הלוי לתלדתם 19
Bano be batabani ba Merali: Makuli ne Musi. Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.
ויקח עמרם את יוכבד דדתו לו לאשה ותלד לו את אהרן ואת משה ושני חיי עמרם שבע ושלשים ומאת שנה 20
Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa. Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
ובני יצהר--קרח ונפג וזכרי 21
Bano be baana ba Izukali: Koola ne Nefega ne Zikiri.
ובני עזיאל--מישאל ואלצפן וסתרי 22
Abaana ba Wuziyeeri be bano: Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.
ויקח אהרן את אלישבע בת עמינדב אחות נחשון--לו לאשה ותלד לו את נדב ואת אביהוא את אלעזר ואת איתמר 23
Alooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
ובני קרח אסיר ואלקנה ואביאסף אלה משפחת הקרחי 24
Bano be baana ba Koola: Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu. Abo be b’omu kika kya Abakoola.
ואלעזר בן אהרן לקח לו מבנות פוטיאל לו לאשה ותלד לו את פינחס אלה ראשי אבות הלוים--למשפחתם 25
Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi. Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.
הוא אהרן ומשה--אשר אמר יהוה להם הוציאו את בני ישראל מארץ מצרים על צבאתם 26
Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.”
הם המדברים אל פרעה מלך מצרים להוציא את בני ישראל ממצרים הוא משה ואהרן 27
Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.
ויהי ביום דבר יהוה אל משה--בארץ מצרים 28
Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri,
וידבר יהוה אל משה לאמר אני יהוה דבר אל פרעה מלך מצרים את כל אשר אני דבר אליך 29
Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.”
ויאמר משה לפני יהוה הן אני ערל שפתים ואיך ישמע אלי פרעה 30
Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”

< שמות 6 >