< שמות 32 >
וירא העם כי בשש משה לרדת מן ההר ויקהל העם על אהרן ויאמרו אליו קום עשה לנו אלהים אשר ילכו לפנינו--כי זה משה האיש אשר העלנו מארץ מצרים לא ידענו מה היה לו | 1 |
Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”
ויאמר אלהם אהרן פרקו נזמי הזהב אשר באזני נשיכם בניכם ובנתיכם והביאו אלי | 2 |
Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.”
ויתפרקו כל העם את נזמי הזהב אשר באזניהם ויביאו אל אהרן | 3 |
Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni.
ויקח מידם ויצר אתו בחרט ויעשהו עגל מסכה ויאמרו--אלה אלהיך ישראל אשר העלוך מארץ מצרים | 4 |
Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”
וירא אהרן ויבן מזבח לפניו ויקרא אהרן ויאמר חג ליהוה מחר | 5 |
Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.”
וישכימו ממחרת ויעלו עלת ויגשו שלמים וישב העם לאכל ושתו ויקמו לצחק | 6 |
Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.
וידבר יהוה אל משה לך רד--כי שחת עמך אשר העלית מארץ מצרים | 7 |
Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye;
סרו מהר מן הדרך אשר צויתם--עשו להם עגל מסכה וישתחוו לו ויזבחו לו ויאמרו אלה אלהיך ישראל אשר העלוך מארץ מצרים | 8 |
bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’”
ויאמר יהוה אל משה ראיתי את העם הזה והנה עם קשה ערף הוא | 9 |
Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu.
ועתה הניחה לי ויחר אפי בהם ואכלם ואעשה אותך לגוי גדול | 10 |
Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”
ויחל משה את פני יהוה אלהיו ויאמר למה יהוה יחרה אפך בעמך אשר הוצאת מארץ מצרים בכח גדול וביד חזקה | 11 |
Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi?
למה יאמרו מצרים לאמר ברעה הוציאם להרג אתם בהרים ולכלתם מעל פני האדמה שוב מחרון אפך והנחם על הרעה לעמך | 12 |
Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.
זכר לאברהם ליצחק ולישראל עבדיך אשר נשבעת להם בך ותדבר אלהם ארבה את זרעכם ככוכבי השמים וכל הארץ הזאת אשר אמרתי אתן לזרעכם ונחלו לעלם | 13 |
Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’”
וינחם יהוה על הרעה אשר דבר לעשות לעמו | 14 |
Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.
ויפן וירד משה מן ההר ושני לחת העדת בידו לחת כתבים משני עבריהם--מזה ומזה הם כתבים | 15 |
Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi.
והלחת--מעשה אלהים המה והמכתב מכתב אלהים הוא--חרות על הלחת | 16 |
Ebipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.
וישמע יהושע את קול העם ברעה ויאמר אל משה קול מלחמה במחנה | 17 |
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”
ויאמר אין קול ענות גבורה ואין קול ענות חלושה קול ענות אנכי שמע | 18 |
Naye n’amuddamu nti, “Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi, oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa, naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”
ויהי כאשר קרב אל המחנה וירא את העגל ומחלת ויחר אף משה וישלך מידו את הלחת וישבר אתם תחת ההר | 19 |
Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi.
ויקח את העגל אשר עשו וישרף באש ויטחן עד אשר דק ויזר על פני המים וישק את בני ישראל | 20 |
N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.
ויאמר משה אל אהרן מה עשה לך העם הזה כי הבאת עליו חטאה גדלה | 21 |
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”
ויאמר אהרן אל יחר אף אדני אתה ידעת את העם כי ברע הוא | 22 |
Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona.
ויאמרו לי--עשה לנו אלהים אשר ילכו לפנינו כי זה משה האיש אשר העלנו מארץ מצרים--לא ידענו מה היה לו | 23 |
Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’
ואמר להם למי זהב התפרקו ויתנו לי ואשלכהו באש ויצא העגל הזה | 24 |
Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”
וירא משה את העם כי פרע הוא כי פרעה אהרן לשמצה בקמיהם | 25 |
Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera,
ויעמד משה בשער המחנה ויאמר מי ליהוה אלי ויאספו אליו כל בני לוי | 26 |
n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali.
ויאמר להם כה אמר יהוה אלהי ישראל שימו איש חרבו על ירכו עברו ושובו משער לשער במחנה והרגו איש את אחיו ואיש את רעהו ואיש את קרבו | 27 |
N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’”
ויעשו בני לוי כדבר משה ויפל מן העם ביום ההוא כשלשת אלפי איש | 28 |
Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa.
ויאמר משה מלאו ידכם היום ליהוה כי איש בבנו ובאחיו--ולתת עליכם היום ברכה | 29 |
Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”
ויהי ממחרת ויאמר משה אל העם אתם חטאתם חטאה גדלה ועתה אעלה אל יהוה אולי אכפרה בעד חטאתכם | 30 |
Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.”
וישב משה אל יהוה ויאמר אנא חטא העם הזה חטאה גדלה ויעשו להם אלהי זהב | 31 |
Bw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu!
ועתה אם תשא חטאתם ואם אין--מחני נא מספרך אשר כתבת | 32 |
Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”
ויאמר יהוה אל משה מי אשר חטא לי אמחנו מספרי | 33 |
Naye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange.
ועתה לך נחה את העם אל אשר דברתי לך--הנה מלאכי ילך לפניך וביום פקדי ופקדתי עלהם חטאתם | 34 |
Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”
ויגף יהוה את העם על אשר עשו את העגל אשר עשה אהרן | 35 |
Awo Mukama n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.