< קֹהֶלֶת 7 >
טוב שם משמן טוב ויום המות מיום הולדו | 1 |
Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi; n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
טוב ללכת אל בית אבל מלכת אל בית משתה--באשר הוא סוף כל האדם והחי יתן אל לבו | 2 |
Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
טוב כעס משחוק כי ברע פנים ייטב לב | 3 |
Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
לב חכמים בבית אבל ולב כסילים בבית שמחה | 4 |
Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku; naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
טוב לשמע גערת חכם--מאיש שמע שיר כסילים | 5 |
Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
כי כקול הסירים תחת הסיר כן שחק הכסיל וגם זה הבל | 6 |
Okuseka kw’abasirusiru kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu; na kino nakyo butaliimu.
כי העשק יהולל חכם ויאבד את לב מתנה | 7 |
Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru, n’enguzi efaafaaganya okutegeera.
טוב אחרית דבר מראשיתו טוב ארך רוח מגבה רוח | 8 |
Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo, n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
אל תבהל ברוחך לכעוס כי כעס בחיק כסילים ינוח | 9 |
Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.
אל תאמר מה היה--שהימים הראשנים היו טובים מאלה כי לא מחכמה שאלת על זה | 10 |
Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?” Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
טובה חכמה עם נחלה ויתר לראי השמש | 11 |
Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika, era kigasa abo abakyalaba enjuba.
כי בצל החכמה בצל הכסף ויתרון דעת החכמה תחיה בעליה | 12 |
Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
ראה את מעשה האלהים כי מי יוכל לתקן את אשר עותו | 13 |
Lowooza ku Katonda ky’akoze: ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
ביום טובה היה בטוב וביום רעה ראה גם את זה לעמת זה עשה האלהים על דברת שלא ימצא האדם אחריו מאומה | 14 |
Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ez’omu maaso.
את הכל ראיתי בימי הבלי יש צדיק אבד בצדקו ויש רשע מאריך ברעתו | 15 |
Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
אל תהי צדיק הרבה ואל תתחכם יותר למה תשומם | 16 |
Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo; oleme okwezikiriza.
אל תרשע הרבה ואל תהי סכל למה תמות בלא עתך | 17 |
Tobanga mwonoonyi kakuzzi wadde okuba omusirusiru; oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
טוב אשר תאחז בזה וגם מזה אל תנח את ידך כי ירא אלהים יצא את כלם | 18 |
Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso, kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
החכמה תעז לחכם--מעשרה שליטים אשר היו בעיר | 19 |
Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga, aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.
כי אדם אין צדיק בארץ--אשר יעשה טוב ולא יחטא | 20 |
Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.
גם לכל הדברים אשר ידברו אל תתן לבך אשר לא תשמע את עבדך מקללך | 21 |
Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera, si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
כי גם פעמים רבות ידע לבך אשר גם את (אתה) קללת אחרים | 22 |
kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo, ng’emirundi mingi okolimidde abalala.
כל זה נסיתי בחכמה אמרתי אחכמה והיא רחוקה ממני | 23 |
Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala.
רחוק מה שהיה ועמק עמק מי ימצאנו | 24 |
Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka, kale ani ayinza okugavumbula?
סבותי אני ולבי לדעת ולתור ובקש חכמה וחשבון ולדעת רשע כסל והסכלות הוללות | 25 |
Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera, nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri, n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi: n’eddalu ery’obusirusiru.
ומוצא אני מר ממות את האשה אשר היא מצודים וחרמים לבה--אסורים ידיה טוב לפני האלהים ימלט ממנה וחוטא ילכד בה | 26 |
Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa, ye mukazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ng’enjegere. Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
ראה זה מצאתי אמרה קהלת אחת לאחת למצא חשבון | 27 |
Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde: “Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
אשר עוד בקשה נפשי ולא מצאתי אדם אחד מאלף מצאתי--ואשה בכל אלה לא מצאתי | 28 |
bwe nnali nga nkyanoonyereza nabulako kye nzuula, okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi, kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
לבד ראה זה מצאתי אשר עשה האלהים את האדם ישר והמה בקשו חשבנות רבים | 29 |
Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu, naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”