< קֹהֶלֶת 4 >
ושבתי אני ואראה את כל העשקים אשר נעשים תחת השמש והנה דמעת העשקים ואין להם מנחם ומיד עשקיהם כח ואין להם מנחם | 1 |
Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba. Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa, era nga tebalina wakugabasangulako! Ababanyigiriza baalina obuyinza, kyokka nga tewali asobola kubagambako.
ושבח אני את המתים שכבר מתו--מן החיים אשר המה חיים עדנה | 2 |
Ne ndowooza ku abo abaafa, nga baali ba mukisa okusinga abo abakyali abalamu;
וטוב משניהם--את אשר עדן לא היה אשר לא ראה את המעשה הרע אשר נעשה תחת השמש | 3 |
naye abasinga abo, y’oyo atannaba kuzaalibwa, atannalaba bibi obukolebwa wansi w’enjuba.
וראיתי אני את כל עמל ואת כל כשרון המעשה--כי היא קנאת איש מרעהו גם זה הבל ורעות רוח | 4 |
Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.
הכסיל חבק את ידיו ואכל את בשרו | 5 |
Omusirusiru awumba emikono gye, ne yeezikiriza yekka.
טוב מלא כף נחת--ממלא חפנים עמל ורעות רוח | 6 |
Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu okusinga okujjula okubonaabona n’okugoberera empewo.
ושבתי אני ואראה הבל תחת השמש | 7 |
Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:
יש אחד ואין שני גם בן ואח אין לו ואין קץ לכל עמלו--גם עיניו (עינו) לא תשבע עשר ולמי אני עמל ומחסר את נפשי מטובה--גם זה הבל וענין רע הוא | 8 |
nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina, nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe, ne yeebuuza nti, “Nteganira ani ne neefiiriza essanyu? Kino nakyo butaliimu, era tekiriiko kye kigasa.”
טובים השנים מן האחד אשר יש להם שכר טוב בעמלם | 9 |
Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
כי אם יפלו האחד יקים את חברו ואילו האחד שיפול ואין שני להקימו | 10 |
Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa.
גם אם ישכבו שנים וחם להם ולאחד איך יחם | 11 |
Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
ואם יתקפו האחד--השנים יעמדו נגדו והחוט המשלש לא במהרה ינתק | 12 |
Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
טוב ילד מסכן וחכם--ממלך זקן וכסיל אשר לא ידע להזהר עוד | 13 |
Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa.
כי מבית הסורים יצא למלך כי גם במלכותו נולד רש | 14 |
Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu.
ראיתי את כל החיים המהלכים תחת השמש--עם הילד השני אשר יעמד תחתיו | 15 |
Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka.
אין קץ לכל העם לכל אשר היה לפניהם--גם האחרונים לא ישמחו בו כי גם זה הבל ורעיון רוח | 16 |
Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.