< קֹהֶלֶת 10 >
זבובי מות יבאיש יביע שמן רוקח יקר מחכמה מכבוד סכלות מעט | 1 |
Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi, bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
לב חכם לימינו ולב כסיל לשמאלו | 2 |
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu, naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
וגם בדרך כשהסכל (כשסכל) הלך לבו חסר ואמר לכל סכל הוא | 3 |
Ne bw’aba ng’atambula, amanyibwa nga talina magezi, era buli amulaba agamba nti musirusiru.
אם רוח המושל תעלה עליך מקומך אל תנח כי מרפא יניח חטאים גדולים | 4 |
Mukama wo bw’akunyiigiranga, tomulaganga busungu; okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
יש רעה ראיתי תחת השמש--כשגגה שיצא מלפני השליט | 5 |
Ekibi ekirala kye nalaba, kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
נתן הסכל במרומים רבים ועשירים בשפל ישבו | 6 |
nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava, naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
ראיתי עבדים על סוסים ושרים הלכים כעבדים על הארץ | 7 |
Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi, songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
חפר גומץ בו יפול ופרץ גדר ישכנו נחש | 8 |
Asima ekinnya alikigwamu, n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
מסיע אבנים יעצב בהם בוקע עצים יסכן בם | 9 |
Oyo ayasa amayinja gamulumya, n’oyo ayasa enku zimulumya.
אם קהה הברזל והוא לא פנים קלקל וחילים יגבר ויתרון הכשיר חכמה | 10 |
Embazzi bwe tebaako bwogi, n’etewagalwa, agitemya ateekwa okufuba ennyo, naye obumanyirivu bwe buwangula.
אם ישך הנחש בלוא לחש ואין יתרון לבעל הלשון | 11 |
Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa, omufuusa talina kyafunamu.
דברי פי חכם חן ושפתות כסיל תבלענו | 12 |
Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira, naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
תחלת דברי פיהו סכלות ואחרית פיהו הוללות רעה | 13 |
Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa, ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
והסכל ירבה דברים לא ידע האדם מה שיהיה ואשר יהיה מאחריו מי יגיד לו | 14 |
Omusirusiru asavuwaza ebigambo. Tewali amanyi birijja, kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
עמל הכסילים תיגענו--אשר לא ידע ללכת אל עיר | 15 |
Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi, n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
אי לך ארץ שמלכך נער ושריך בבקר יאכלו | 16 |
Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu, nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
אשריך ארץ שמלכך בן חורים ושריך בעת יאכלו בגבורה ולא בשתי | 17 |
Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira, ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu, olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
בעצלתים ימך המקרה ובשפלות ידים ידלף הבית | 18 |
Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya, n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
לשחוק עשים לחם ויין ישמח חיים והכסף יענה את הכל | 19 |
Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka, ne wayini yeeyagaza obulamu, naye ensimbi y’esobola byonna.
גם במדעך מלך אל תקלל ובחדרי משכבך אל תקלל עשיר כי עוף השמים יוליך את הקול ובעל הכנפים (כנפים) יגיד דבר | 20 |
Tokolimira kabaka mu mutima gwo newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo, kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.