< קֹהֶלֶת 1 >
דברי קהלת בן דוד מלך בירושלם | 1 |
Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
הבל הבלים אמר קהלת הבל הבלים הכל הבל | 2 |
“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu.
מה יתרון לאדם בכל עמלו--שיעמל תחת השמש | 3 |
Omuntu afuna ki mu byonna by’akola, mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
דור הלך ודור בא והארץ לעולם עמדת | 4 |
Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja, naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
וזרח השמש ובא השמש ואל מקומו--שואף זורח הוא שם | 5 |
Enjuba evaayo era n’egwa, ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
הולך אל דרום וסובב אל צפון סובב סבב הולך הרוח ועל סביבתיו שב הרוח | 6 |
Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo, ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono; empewo yeetooloola ne yeetooloola, n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
כל הנחלים הלכים אל הים והים איננו מלא אל מקום שהנחלים הלכים--שם הם שבים ללכת | 7 |
Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; ekifo emigga gye gikulukutira era gye gyeyongera okukulukutira.
כל הדברים יגעים לא יוכל איש לדבר לא תשבע עין לראות ולא תמלא אזן משמע | 8 |
Ebintu byonna bijjudde obukoowu omuntu bw’atasobola kutenda! Eriiso terimatira kulaba, wadde okutu okukoowa okuwulira.
מה שהיה הוא שיהיה ומה שנעשה הוא שיעשה ואין כל חדש תחת השמש | 9 |
Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo, n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa; era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
יש דבר שיאמר ראה זה חדש הוא כבר היה לעלמים אשר היה מלפננו | 10 |
Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka?
אין זכרון לראשנים וגם לאחרנים שיהיו לא יהיה להם זכרון--עם שיהיו לאחרנה | 11 |
Tewali kujjukira bintu byasooka era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
אני קהלת הייתי מלך על ישראל--בירושלם | 12 |
Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.
ונתתי את לבי לדרוש ולתור בחכמה על כל אשר נעשה תחת השמים הוא ענין רע נתן אלהים לבני האדם--לענות בו | 13 |
Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.
ראיתי את כל המעשים שנעשו תחת השמש והנה הכל הבל ורעות רוח | 14 |
Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
מעות לא יוכל לתקן וחסרון לא יוכל להמנות | 15 |
Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa, n’ekibulako tekibalibwa.
דברתי אני עם לבי לאמר--אני הנה הגדלתי והוספתי חכמה על כל אשר היה לפני על ירושלם ולבי ראה הרבה חכמה ודעת | 16 |
Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”
ואתנה לבי לדעת חכמה ודעת הוללת ושכלות ידעתי שגם זה הוא רעיון רוח | 17 |
Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
כי ברב חכמה רב כעס ויוסיף דעת יוסיף מכאוב | 18 |
Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi; amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.