< דברים 7 >
כי יביאך יהוה אלהיך אל הארץ אשר אתה בא שמה לרשתה ונשל גוים רבים מפניך החתי והגרגשי והאמרי והכנעני והפרזי והחוי והיבוסי--שבעה גוים רבים ועצומים ממך | 1 |
Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,
ונתנם יהוה אלהיך לפניך--והכיתם החרם תחרים אתם לא תכרת להם ברית ולא תחנם | 2 |
Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa.
ולא תתחתן בם בתך לא תתן לבנו ובתו לא תקח לבנך | 3 |
Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo.
כי יסיר את בנך מאחרי ועבדו אלהים אחרים וחרה אף יהוה בכם והשמידך מהר | 4 |
Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu.
כי אם כה תעשו להם--מזבחתיהם תתצו ומצבתם תשברו ואשירהם תגדעון ופסיליהם תשרפון באש | 5 |
Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.
כי עם קדוש אתה ליהוה אלהיך בך בחר יהוה אלהיך להיות לו לעם סגלה מכל העמים אשר על פני האדמה | 6 |
Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.
לא מרבכם מכל העמים חשק יהוה בכם--ויבחר בכם כי אתם המעט מכל העמים | 7 |
Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna.
כי מאהבת יהוה אתכם ומשמרו את השבעה אשר נשבע לאבתיכם הוציא יהוה אתכם ביד חזקה ויפדך מבית עבדים מיד פרעה מלך מצרים | 8 |
Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri.
וידעת כי יהוה אלהיך הוא האלהים האל הנאמן--שמר הברית והחסד לאהביו ולשמרי מצותו לאלף דור | 9 |
Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi.
ומשלם לשנאיו אל פניו להאבידו לא יאחר לשנאו אל פניו ישלם לו | 10 |
Naye abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa; tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.
ושמרת את המצוה ואת החקים ואת המשפטים אשר אנכי מצוך היום--לעשותם | 11 |
Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.
והיה עקב תשמעון את המשפטים האלה ושמרתם ועשיתם אתם--ושמר יהוה אלהיך לך את הברית ואת החסד אשר נשבע לאבתיך | 12 |
Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.
ואהבך וברכך והרבך וברך פרי בטנך ופרי אדמתך דגנך ותירשך ויצהרך שגר אלפיך ועשתרת צאנך על האדמה אשר נשבע לאבתיך לתת לך | 13 |
Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa.
ברוך תהיה מכל העמים לא יהיה בך עקר ועקרה ובבהמתך | 14 |
Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga.
והסיר יהוה ממך כל חלי וכל מדוי מצרים הרעים אשר ידעת לא ישימם בך ונתנם בכל שנאיך | 15 |
Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa.
ואכלת את כל העמים אשר יהוה אלהיך נתן לך--לא תחוס עינך עליהם ולא תעבד את אלהיהם כי מוקש הוא לך | 16 |
Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda b’anaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.
כי תאמר בלבבך רבים הגוים האלה ממני איכה אוכל להורישם | 17 |
Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?”
לא תירא מהם זכר תזכר את אשר עשה יהוה אלהיך לפרעה ולכל מצרים | 18 |
Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna.
המסת הגדלת אשר ראו עיניך והאתת והמפתים והיד החזקה והזרע הנטויה אשר הוצאך יהוה אלהיך כן יעשה יהוה אלהיך לכל העמים אשר אתה ירא מפניהם | 19 |
Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya.
וגם את הצרעה ישלח יהוה אלהיך בם עד אבד הנשארים והנסתרים--מפניך | 20 |
Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala.
לא תערץ מפניהם כי יהוה אלהיך בקרבך אל גדול ונורא | 21 |
Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa.
ונשל יהוה אלהיך את הגוים האל מפניך--מעט מעט לא תוכל כלתם מהר פן תרבה עליך חית השדה | 22 |
Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi.
ונתנם יהוה אלהיך לפניך והמם מהומה גדלה עד השמדם | 23 |
Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga.
ונתן מלכיהם בידך והאבדת את שמם מתחת השמים לא יתיצב איש בפניך עד השמדך אתם | 24 |
Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza.
פסילי אלהיהם תשרפון באש לא תחמד כסף וזהב עליהם ולקחת לך--פן תוקש בו כי תועבת יהוה אלהיך הוא | 25 |
Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.
ולא תביא תועבה אל ביתך והיית חרם כמהו שקץ תשקצנו ותעב תתעבנו כי חרם הוא | 26 |
Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.