< דברים 16 >

שמור את חדש האביב ועשית פסח ליהוה אלהיך כי בחדש האביב הוציאך יהוה אלהיך ממצרים--לילה 1
Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri.
וזבחת פסח ליהוה אלהיך צאן ובקר במקום אשר יבחר יהוה לשכן שמו שם 2
Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye.
לא תאכל עליו חמץ שבעת ימים תאכל עליו מצות לחם עני כי בחפזון יצאת מארץ מצרים--למען תזכר את יום צאתך מארץ מצרים כל ימי חייך 3
Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
ולא יראה לך שאר בכל גבלך שבעת ימים ולא ילין מן הבשר אשר תזבח בערב ביום הראשון--לבקר 4
Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.
לא תוכל לזבח את הפסח באחד שעריך אשר יהוה אלהיך נתן לך 5
Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako,
כי אם אל המקום אשר יבחר יהוה אלהיך לשכן שמו--שם תזבח את הפסח בערב כבוא השמש מועד צאתך ממצרים 6
wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
ובשלת ואכלת במקום אשר יבחר יהוה אלהיך בו ופנית בבקר והלכת לאהליך 7
Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo.
ששת ימים תאכל מצות וביום השביעי עצרת ליהוה אלהיך--לא תעשה מלאכה 8
Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
שבעה שבעת תספר לך מהחל חרמש בקמה תחל לספר שבעה שבעות 9
Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka.
ועשית חג שבעות ליהוה אלהיך--מסת נדבת ידך אשר תתן כאשר יברכך יהוה אלהיך 10
Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
ושמחת לפני יהוה אלהיך אתה ובנך ובתך ועבדך ואמתך והלוי אשר בשעריך והגר והיתום והאלמנה אשר בקרבך--במקום אשר יבחר יהוה אלהיך לשכן שמו שם 11
Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe.
וזכרת כי עבד היית במצרים ושמרת ועשית את החקים האלה 12
Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza.
חג הסכת תעשה לך שבעת ימים באספך--מגרנך ומיקבך 13
Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo.
ושמחת בחגך אתה ובנך ובתך ועבדך ואמתך והלוי והגר והיתום והאלמנה אשר בשעריך 14
Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo.
שבעת ימים תחג ליהוה אלהיך במקום אשר יבחר יהוה כי יברכך יהוה אלהיך בכל תבואתך ובכל מעשה ידיך והיית אך שמח 15
Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.
שלוש פעמים בשנה יראה כל זכורך את פני יהוה אלהיך במקום אשר יבחר--בחג המצות ובחג השבעות ובחג הסכות ולא יראה את פני יהוה ריקם 16
Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama.
איש כמתנת ידו כברכת יהוה אלהיך אשר נתן לך 17
Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
שפטים ושטרים תתן לך בכל שעריך אשר יהוה אלהיך נתן לך לשבטיך ושפטו את העם משפט צדק 18
Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza.
לא תטה משפט לא תכיר פנים ולא תקח שחד--כי השחד יעור עיני חכמים ויסלף דברי צדיקם 19
Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu.
צדק צדק תרדף--למען תחיה וירשת את הארץ אשר יהוה אלהיך נתן לך 20
Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
לא תטע לך אשרה כל עץ אצל מזבח יהוה אלהיך--אשר תעשה לך 21
Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo;
ולא תקים לך מצבה אשר שנא יהוה אלהיך 22
wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.

< דברים 16 >