< דניאל 1 >
בשנת שלוש למלכות יהויקים מלך יהודה--בא נבוכדנאצר מלך בבל ירושלם ויצר עליה | 1 |
Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi.
ויתן אדני בידו את יהויקים מלך יהודה ומקצת כלי בית האלהים ויביאם ארץ שנער בית אלהיו ואת הכלים הביא בית אוצר אלהיו | 2 |
Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.
ויאמר המלך לאשפנז רב סריסיו להביא מבני ישראל ומזרע המלוכה--ומן הפרתמים | 3 |
Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu,
ילדים אשר אין בהם כל מאום וטובי מראה ומשכלים בכל חכמה וידעי דעת ומביני מדע ואשר כח בהם לעמד בהיכל המלך וללמדם ספר ולשון כשדים | 4 |
abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe.
וימן להם המלך דבר יום ביומו מפת בג המלך ומיין משתיו ולגדלם שנים שלוש ומקצתם--יעמדו לפני המלך | 5 |
Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.
ויהי בהם מבני יהודה--דניאל חנניה מישאל ועזריה | 6 |
Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya.
וישם להם שר הסריסים שמות וישם לדניאל בלטשאצר ולחנניה שדרך ולמישאל מישך ולעזריה עבד נגו | 7 |
Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.
וישם דניאל על לבו אשר לא יתגאל בפת בג המלך וביין משתיו ויבקש משר הסריסים אשר לא יתגאל | 8 |
Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa.
ויתן האלהים את דניאל לחסד ולרחמים לפני שר הסריסים | 9 |
Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri.
ויאמר שר הסריסים לדניאל--ירא אני את אדני המלך אשר מנה את מאכלכם ואת משתיכם אשר למה יראה את פניכם זעפים מן הילדים אשר כגילכם וחיבתם את ראשי למלך | 10 |
Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.”
ויאמר דניאל אל המלצר--אשר מנה שר הסריסים על דניאל חנניה מישאל ועזריה | 11 |
Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti,
נס נא את עבדיך ימים עשרה ויתנו לנו מן הזרעים ונאכלה--ומים ונשתה | 12 |
“Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa.
ויראו לפניך מראינו ומראה הילדים האכלים את פת בג המלך וכאשר תראה עשה עם עבדיך | 13 |
N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.”
וישמע להם לדבר הזה וינסם ימים עשרה | 14 |
N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi.
ומקצת ימים עשרה נראה מראיהם טוב ובריאי בשר מן כל הילדים--האכלים את פת בג המלך | 15 |
Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka.
ויהי המלצר נשא את פת בגם ויין משתיהם ונתן להם זרענים | 16 |
Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.
והילדים האלה ארבעתם נתן להם האלהים מדע והשכל בכל ספר וחכמה ודניאל הבין בכל חזון וחלמות | 17 |
Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
ולמקצת הימים אשר אמר המלך להביאם ויביאם שר הסריסים לפני נבכדנצר | 18 |
Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza.
וידבר אתם המלך ולא נמצא מכלם כדניאל חנניה מישאל ועזריה ויעמדו לפני המלך | 19 |
Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka.
וכל דבר חכמת בינה אשר בקש מהם המלך--וימצאם עשר ידות על כל החרטמים האשפים אשר בכל מלכותו | 20 |
Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.
ויהי דניאל עד שנת אחת לכורש המלך | 21 |
Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.